Obwakabaka busse omukago ne  ‘Duke of Edinburgh’ okutumbula Abavubuka

OMULANGIRA WA BUNGEREZA ‘PRINCE EDWARD OW’E EDINBURGH AKAYDDE EMBUGA

Obwakabaka busse omukago ne  ‘Duke of Edinburgh’ okutumbula Abavubuka

Obwakabaka bwa Buganda busse omukago n’Omulangira wa Bungereza, Prince Edward  okutumbula abavubuka n’okubakulaakulanya nga bavuganya mu ngule y’ensi yonna  eya ‘International Awards’ eyateekebwawo omulangira ono okubasigamu obukugu n’obuyiiya obw’enjawulo.

Omukolo guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu ng’era endagaano eno eteereddwako omukono, William Blick kulwa Prince Edward  ate Omuk. Roland Ssebuufu era Ssenkulu wa BICUL nateekako kulwa Buganda, era bino byonna bikoleddwa  mu maaso ga Kamalabyonna Charles Peter Mayiga n’ Omulangira Edward.

Kitegeerekese nti endagaano eno egenda kuvaamu enteekateeka ne Puloojekiti ez’enjawulo ezigenda okuwa abavubuka ba Buganda obukugu wamu n’okubakulaakulanya.

Bw’abadde ayogera ku mukago guno, Katikkiro Charles Peter Mayiga annyonnyodde nti  endagaano nnyingi ezizze zikolebwa wakati wa Buganda ne Bungereza era nga mukisa gwa njawulo kuba Obwakabaka bwa Buganda ne Bungereza bulina bingi byebufaanaganya era bwagezaako okukolaganira awamu.

 Katikkiro Mayiga agamba nti kino kyelaga mu bbaluwa Ssekabaka Muteesa I gyeyawandiikira Nnaabakyala wa Bungereza Victoria nga amusaba ajje ayigirize abantu be okusoma n’okuwandiika era wano wewasibuka Uganda eriwo kati.

Kamalabyonna Mayiga agasseeko nti  Beene omulembe gwe yaguwa bavubuka okwongera okulaba obukulu bwabwe okusobola okutereeza ebiseera bya Buganda ne Uganda eby’omu maaso kuba bano kwebiyimiridde.

Owek. Mayiga agamba nti endagaano eno ejja kuyamba okuwa abavubuka okugatta abavubuka n’okubawa obukugu awamu n’obumalirivu basobole okulaakulana kuba ebitundu 70 ku buli 100 ku bukadde 14 obuli mu Buganda bali wansi w’emyaka 30 ekitegeeza nti balina okubateekako essira.

Ono annyonnyodde nti tekikola makulu okweyita Ekkula ly’Afirika nga Winston Churchill bweyayita Uganda nga tebasobola kutereeza biseera bya bavubuka ba Uganda ne Buganda eby’omu maaso.

 Oluvannyuma lw’ endagaano eno, Katikkiro alambuza Omulangira Edward ebimu ku bifaananyi by’ ebyafaayo ebiri mu Bulange era namwanjulira abamu ku baminisita n’abakungu ab’enjawulo.

Ensisinkano eno yeetabiddwamu, Nnaalinnya Lubuga Agnes Nabaloga, Omulangira Crispin Jjunju, Omulangira David Wasajja ne baminisita ab’enjawulo.

 Aba I & M Bank bazizza buggya enkolagana yabwe n’Obwakabaka, beeyamye okwongera obuvujirizi

Bya Shafic Miiro

Bulange – Mmengo

Bbanka ya I & M bazizza buggya endagaano yabwe n’Obwakabaka bwa Buganda era nebeeyama okwongera okutumbula embeera z’abantu b’Omutanda nga bayita mu  kuvujjirira Emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka  n’enteekateeka endala.

Omukolo guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri nga Ssenkulu wa Majestic Brand, Omuk. Remmy Kisaakye,   yatadde omukono ku ndagaano ku lw’Obwakabaka ate Ssenkulu wa Bbanka eno, Robin Bairstow n’ateekako ku lwa I & M bank nga Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa abaddewo okujulira endagaano eno.

Bw’abadde ayogerera ku mukolo guno, Owek. Waggwa Nsibirwa,  yeebazizza bannamikago bano olw’okuwagira emirimu gy’Obwakabaka ate n’okufaayo mu kusitula omutindo gw’embeera z’abantu, bwatyo n’abakulisa n’okutuuka ku myaka ataano nga baweereza abantu.

Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone,  Owek. Robert Serwanga Ssaalongo, naye yeebaziza bannamukago aba I & M olw’okuvaayo okuwagira emisinde gy’omwaka guno, era ategeezeza nti kizzaamu amaanyi okulaba ng’abantu bategedde obukulu bw’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka naddala ku nsonga y’Ebyobulamu ng’okukwanyisa Mukenenya.

Ssenkulu wa I & M bank Omuk. Robin Bairstow agamba nti basanyufu nnyo okwegatta ku kaweefube w’okulwanyisa Mukenenya kubanga baagala abantu be baweereza babeere balamu, era basuubiza okwongera okuwagira emirimu gy’Obwakabaka emyaka emirala mingi.

Omukolo guno gujjuliddwa abantu abalala okubadde Oweek. Israel Kazibwe Kitooke Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Omuk. Rolland Ssebuufu, Ssenkulu wa BICUL ne Muky. Annet Nakiyaga kitunzi wa bbanka.

Ebbugumu lyeyongedde mu Kabaka Birthday Run 2024, Spice Diana n’Omuloodi Erias Lukwago baguze emijoozi

Bya Ronald Mukasa

Bulange – Mmengo

Omuyimbi  Namukwaya Hajarah abasinga gwebamanyi nga Spice Diana ataddewo ebbugumu mu nteekateeka y’emisinde gya Kabaka Birthday Run egy’omwaka 2024 bwaguze emijoozi egiwerako.

Namukwaya akunze emijoozi gya kakadde ka Uganda kalamba nakunga ne bannayuganda abalala okuvaayo bawagire enteekateeka eno.

Emijoozi gino gimukwasiddwa Minisita w’Olukiiko ne woofiisi ya Katikkiro, Owek. Noah Kiyimba naye asabye abantu okujjumbira enteekateeka eno.

 Mu ngeri yeemu Loodimmeeya Erias Lukwago naye aguze emijoozi egiwerako era naasaba abantu abalala okuwagira enteekateeka eno era beekuume akawuka akaleeta Mukenenya.

 Ye Minisita w’Abavubuka n’Emizannyo, Owek. Robert Sserwanga  yeebazizza nnyo Omuloodi  Erias Lukwago n’omuyimbi Spice Diana olwokuvaayo okuwagira enteekateeka eno bwatyo nakunga banna bitone bonna saako n’abantu ba Buganda okujja bagule emijoozi okusobola okwetaba mu misinde gino nga 7 omwezi ogw’okuna .

#KabakaBirthdayRun2024 : Aba Vision Group bawaddeyo bukadde

Bya Ronald Mukasa

Bulange – Mmengo

Minisita w’ Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek. Robert Sserwanga asisinkanye abakungu ba  Kampuni y’Amawulire eya Vision Group abagenyiwaddeko embuga okwanja ettu lya bukadde 130  eri enteekateeka y’ Emisinde gy’ Amazaalibwa ga Kabaka aga 2024.

Owek. Sserwanga bano bamusanze mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna era nabeebaza olw’obuwagizi bwabwe okutumbula embeera z’abantu ba Beene.

 Minisita Sserwanga agambye nti okuva Omutanda lweyakulemberamu olutalo ku Mukenenya mu Afirika, omuwendo gw’abantu  abakwatibwa akawuka kano guzze gukendeera bwatyo naasaba aba Vision Group okwongera okubunyisa enjiri eno.

Ono era akunze abantu ba Nnyinimu okujjumbira enteekateeka y’Emisinde gino nga bagula emijoozi wamu n’okudduka ku lunaku lwennyini okwongera amaanyi mu lutalo lw’okulwanyisa Mukenenya.

Akulembeddemu abakungu ba Vision Group,  Michael Mukasa Ssebbowa annyonnyodde nti baakusigala  nga bawagira enteekateeka zonna mu Bwakabaka kubanga bakimanyi nti Beene aba nensonga eyesimba buli lwabaako kyasoosowaza.

Ssebowa era ategeezeza nga bwebagenda okwetaba  butereevu mu misinde gino ssaako nokutuusa emijoozi gy’emisinde eri bannansi mubitundu gyebawangalira.

Bwatyo akunze abaganda okuddayo ku nkola ey’emirimu gya Beene nga buli maka mulimu olusuku lwa Kabaka okusobola okwongera okutumbula embeera za bantu mu Buganda n’okugoba obwavu.

Ensisinkano eno yetabiddwamu Minisita w’ Amawulire n’ Okukunga Abantu, Owek.  Israel kazibwe Kitooke n’abakungu abalala okuva mu Vision Group

KABAKA BIRTHDAY RUN 2024

Aba I Dental Clinic baguze emijoozi gya Kabaka Birthday Run 2024

Bya Ronald Mukasa

Bulange -Mmengo

Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek. Robert Sserwanga yeebazizza nnyo abasawo b’amannyo okuva mu I Dental Care clinic, abakyadde embuga enkya ya leero okuwagira enteekateeka z’emisinde gy’ amazalibwa ga Kabaka egy’okubeerawo nga 7 omwezi ogw’okuna.

Owek Sserwanga agamba nti ekikolwa kyabwe kibeere eky’okulabirako eri banaabwe bwebakola emirimu gy’ebyobulamu kubanga ffena tuvunaanyizibwa okubaako kyetukola okuza Buganda kuntiko.

Minisita era akunze obuganda okuwagiranga abantu bavuddeyo okuwa obuwaguzi enteekateeka z’embuga kubanga kyebakola kyoleka obuwulize eri Nnamulondo.

 Dr Musis Ibrahim akulembeddemu aba I Dental care hospital, akunze obuganda okujja mubungi okwetaba butelevu mumisinde gino kulw’obulamu obulungi nga Nnyinimu bwaze akubiriza abantu be.

Bano baguze emijoozi gya bukadde bw’ensimbi 2 era nebeeyama okwetaba mumisinde gino.

The Kabaka Birthday Run launched on 27th February 2024

The run is scheduled on Sunday 7th April 2024, under the theme “Men are stars in the fight against HIV/AIDS to save the Girl Child”. The ceremony was graced by Katikkiro Charles Peter Mayiga, Kabaka’s Minister’s, Kingdom partners headed by Airtel Uganda, and other Kingdom Subjects.

Katikkiro launched the Birthday Run Committee that is chaired by Oweek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, the first deputy Katikkiro who is deputized by Oweek. Robert Serwanga Ssaalongo, the Minister of Youths, Sports and Arts.

This year marks the second year on the block of three years that the run is focused on the fight against HIV/AIDS. Each Kit will cost 20,000 Ugandan Shillings.

QzxBoczVErUnEZ54nWHtcQQ3Z7OqQgiveIZcfQZB

KASUBI TOMBS RE-OPENING; OMUWENDO GW’ABALAMBUZI MU UGANDA GWA KULINNYA.

“Mu kiseera kino Amasiro tegannagulwawo eri Abalambuzi, wabula tulina essuubi nti okuggulwawo kw’ago kugenda kwongera ku muwendo gw’abalambuzi abajja mu Uganda”

Oweek. Dr. Anthony Wamala, Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda asisinkanye bannamawulire olwaleero oluvannyuma lw’Amasiro ge Kasubi okuggyibwa ku lukalala lw’ebifo eby’enkizo ebiri mu katyabaga. Ategeezeza nti wakyaliwo ebintu ebimalirizibwa ku Masiro, wabula omulimu weguli guwa essuubi nti mu bbanga eritali lye wala, Amasiro gajja kuggulibwawo era Abantu baddemu okugalambula

Minisita agamba nti Omulimu gw’okuddaabiriza Amasiro ekigukeereyeseza kwe kugoberera ennono n’obuwangwa eby’etoolorera ku nzimba yaago wabula kati ebisigadde bitono nnyo.
Minisita ayongeddeko nti Amasiro ge Kasubi kifo kya muwendo nnyo eri Buganda, Uganda n’Ensi yonna, era ennyumba Muzibu-Azaala-Mpanga mu nsi yonna tolina wooyinza kugisanga olw’Obuwangwa, ebyafaayo n’engeri gye yawundibwamu.

Oweek. Wamala akubiriza abantu okukuuma ebifo eby’Obulambuzi nga biri mu mbeera nnungi kubanga bisobolera ddala okuleeta ensimbi nnyingi eri Buganda ne Uganda yonna. Yeebaziza nnyo Ssaabasajja Kabaka olw’okulambikanga ebbanga lyonna ku birina okukolebwa, ne yeebaza ne Kamalabyonna olw’obukulembeze bwe n’okulafuubana okulaba nga omulimu guno gugguka.

Minisita akomekkereza ng’asaba Obuganda, Uganda n’Ensi yonna okufuba okulaba ng’Amasiro gakuumibwa ku mutindo gw’Ensi yonna.

Gr52hC6zk0PMOgIbn3ET0dm3vdQA0hCa082lnvHY

BULEMEEZI EWANGUDDE AMASAZA AMALALA.

Essaza Bulemeezi lye lisukulumye ku Masaza amalala mu nkola y’emirimu nga bwegirambikibwa Minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu.Essaza Bulemeezi lye lisukulumye ku Masaza amalala mu nkola y’emirimu nga bwegirambikibwa Minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu.

Katikkiro Oweek. Charles Peter Mayiga yaalangiridde bino enkya ya leero ku Bulange e Mengo. Essaza Bulemeezi lisukulumye ku malala n’obubonero 75, ne liddirirwa Buddu, Mawokota, Kyaddondo n’amalala olwo lyo Essaza Mawogola ne likwebera n’obubonero 22. Ate mu Magombolola, Eggombolola Mutuba IV Kawuga, Kyaggwe lye liwangudde amalala.

Katikkiro ayozaayozeza Abaami b’Amasaza n’amagombolola abawangudde n’abakuutira okwongera amaanyi mu nkola y’emirimu okusobola okweddiza obuwanguzi n’okwekuumira ku ntikko.

Oweek. Mayiga asabye ab’Abaami b’Amasaza n’amagombolola agatakoze bulungi okwekebera mu nkola y’emirimu era yeebaziza nnyo ab’eggombolola ya Mutuba IV Kawuga olw’okola ennyo n’ebedfiza obuwanguzi bwebatuukako n’omwaka oguwedde


Katikkiro akuutidde Abaami okugoberera enteekateeka ezibalambikibwa okuva embuga, okukuuma ebiwandiiko, okugabana emirimu egikolebwa mu masaza kino kibayambe okusitula omutindo gw’obuweereza bwaabwe. Ayongedde okubakuutira okukola ennyo okuzza Buganda ku ntikko nga baluubirira okusitula omutindo gw’embeera z’Abantu ba Ssaabasajja Kabaka.

Oweek. Joseph Kawuki, Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu alambise enteekateeka eziyitiddwamu okusala empaka zino, okufuna omuwanguzi mu nkola y’emirimu gy’agambye nti yatandika omwaka oguwedde nga 15, Ntenvu. Wano Abaami balambikibwa ebimu kw’ebyo ebyayitiddwamu okupima enkola y’emirimu okuli entambuza y’obukulembeze n’emirimu, obuwulize n’obujjumbize ku bikwata ku Nnamulondo, obuyiiya ne tekinologiya n’entambuza ku Masaza ne mu Magombolola.

Yeebaziza nnyo bonna abakoze obutaweera okulaba ng’empaka zino zisalibwa bulungi, nga munno mwe muli abaseesa, abalezi wamu n’akakiiko akaakulemberwa Mw. Godfrey Male Busuulwa Ssentebe ng’amyukibwa Mw. Ssali Damascus.

Oweek. Kawuki asiimye nnyo Abaami olw’omulimu gw’okuddaabiriza embuga z’Amasaza n’okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo.

Kangaawo Oweek. Ronald Mulondo yeebaziza nnyo Abalyannaka bonna olw’obuwanguzi bwebatuusseko bw’agamba nti bwesigamye ku bumu n’okukolera awamu kwebateaddewo mu Ssaza Bulemeezi.

Enteekateeka eno ey’okulangirira yeetabiddwako Oweek. Israel Kazibwe, Oweek. Mariam Mayanja, Abaami ba Kabaka ab’Amasaza n’Amagombolola n’abaweereza ba Kabaka abalala.

UT1ZZ9gnTGWmsd5HuIQ7tJRPF5ixJ9JZmcGD8aLa

BUGANDA BUYS SHARES IN THE AIRTEL IPO

26 Mutunda 2023
Bulange,

Obwakabaka buguze emigabo obukadde bubiri (2m shares ), nga gibalirirwamu obukadde 200, mu Kampuni ya Airtel_Ug.

“Bangi balowooza nti okusiga ensimbi kuteeka mu nnyumba zabapangisa, saloon, oba taxi, tuyige okusuubula emigabo kubanga tolina kyeweeraliikirira nti oba onafiirizibwa”-Katikkiro

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Minisita webyensimbi n’okuteekerateekera Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, agambye nti omukago gw’obwakabaka ne Airtel guvuddemu emiganyulo mingi omuli nokutumbula eby’obulamu nga bayita mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka.

Ssenkulu wa Airtel Uganda, Manoj Murali, ategeezezza nti obuwumbi 8 obw’emigabo bwebuteereddwawo ku katale, buli mugabo gwa shs100

mjZDQdoHJVTUC59eDigi4n7K6jyVsJ24qq5JsTAB

BUGANDA DAY 2023 SCANDINAVIA

28 Mutunda 2023 Scandinavia, Abantu ba Ssaabasajja abawangalira mu mawanga akola e Ssaza Scandinavia bakuzizza olunaku lwa Buganda lwebatuumye, “Buganda day” 2023. 

Omukolo guno gubadde ku Folkets Husby Stockholm mu Sweden, wansi w’Omulwamwa “Omukyala mpagi mu kukulaakulanya Buganda”. Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Ssaza Scandinavia, Oweek. Nelson Mugenyi y’abadde omugenyi omukulu. Ab’ekitiibwa n’Abakungu ba Kabaka ab’enjawulo beetabye ku mukolo guno, Omubaka wa Ssaabasajja mu Netherlands Owek. Sam Ssekajugo Musoke n’Omumyuka we Oweek Linda Ssekayita, Omukungu Baker Kabugo William owa Sweden, Omuk. Martin Kalule owa Seattle USA, Omuk. Kaggwa Edward Ndagala Ssenkulu wa Kabaka Foundation, n’Omuk. Godfrey Sseruwu, Ssenkulu omuggya owa Kabaka Foundation mu Ssaza Scandinavia. 

Omukiise w’Abakyala ku lukiiko lw’Omubaka e Scandinavia, Olivia Nankya, ye yakulembeddemu enteekateeka. Enteekateeka zaakulembeddwamu emisomo egy’enjawulo nga gitambulira ku miramwa egiwerako, era abasomesa abatali bamu baabangudde abantu ba Kabaka ku miramwa gino egyasimbye essira ku kukuuma obuwangwa n’ennono. 1. Omukyala n’obufumbo ne (Omuk. Linda Kayita). 2. Omukyala ow’Omulembe Omutebi ne (Muky. Leah Mutaawe). 3. Okwekulaakulanya nga tuyita mukukolera awamu (Muky. Namuddu Janet Magato). 4. Abawala abato abaakulira mu Sweden okukuuma obuwangwa n’e nnono (Musawo Aisha Nalusiba). 5. Amazzi mu nkulaakulanya y’Amaka (Hajjati Mary Luyombya). 6. BiKi byebasobola okuyiga okuva mu Sweden. 

Oluvannyuma wabaddewo okusanyusibwamu n’amazina amaganda, katemba n’okuyimba, abayimbi okuli Julie Heartbeat okuva e Netherlands, Jose Pro ne Big Solo Sweden, be baakulembeddemu eby’ensanyusa.