Menu

April 13, 2018

Thousands of people have today thronged Villa Maria Catholic Parish to grace the 63rd Birthday of Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.

See news in Pictures:

 

Below, The Luganda version of Kabaka's speech.

Okuwamba abantu wamu n’okubatta kususe era nga abawamba basaba ensimbi nezibawebwa ate oluvanyuma nebatta bebaba bawambye. Ate abalala basula ebibaluwa ebitegezza nga bwebagenda okujja okubatema era nebamala nebakituukirizza era bangi batemuddwa ab’ebijambiya wano mu bitundu bya Buganda naddala mu Buddu. Waliwo akasela abantu bwebasulira ku nsiko era kati ekiseera kituuse abantu okwekolamu omulimu berwaneko okuziyiza abantu ab’ekikula ekyo.

Ssaabasajja era ategezeza nti mukaseera ng’olutalo olwa 1986 nga lwakaggwa watondebwaawo obukiiko bw’ekyaalo obwalondebwanga munkola eya demokurasiya era obukiiko buno bwayambanga abantu naddala mukukwasisa empisa, okukuuma wamu n’okutabaganya abantu wabula kati emyaka 15 giyiseewo nga obukiiko buno tebulondebwa ekireseewo obutali butebenkevu mu bitundu era wano Ssaabasajja wasinzidde n’alagira obukiiko obwo buddemu bulondebwe abantu baddemu okufuna emirembe.

Mu ngeri yeemu Ssaabasajja agambye nti waliwo MAP za UGANDA ezifulumiziddwa okuva mu gavumenti eyawakati (Central Government) nga ziraga ng’ekitundu kya Buganda bwekitaliiko kyokka nga ebitundu ebirala nga Busoga, Bunyoro, Acholi, Karamojja, Teso, Tooro, Ankole, Bugishu, n’ebirala nga kwebiri era neyebuuza ebigendererwa ebiri emabega waakino ekikolwa wabula agambye nti abakola bino babikozesa butamanya.