Bya Ronald Mukasa
Lubaga – Kyaddondo
Abakulembeze b’abavubuka mu Buganda basabye abavubuka okwewala abantu abeefunyiridde okutyoboola Nnamulondo nga beefuula abamanyi ebifa embuga olwo nebatandika okubitambuza ku mitimbagano naye ate nga basaasaanya bulimba bwereere.
Okulabula kuno kukoleddwa Ssentebe w’ Abavubuka mu Buganda, Omuk. Baker Ssejjengo n’abakulembeze b’abavubuka abalala mu lukung’aana lwa bannamawulire olutudde ku Pope Paul mu Lubaga ku Lwokuna.
Omuk. Ssejjengo agamba nti waliwo bannabyabufuzi abaagala okukozesa Obuganda basobole okufuna ettutumu nga beefuula abafaayo ennyo ku Nnamulondo naye nga ate bagivvoola.
Abavubuka bano baweze eri Nnamulondo nti bakukuuma n’okutaasa ekitiibwa Kya Buganda nga ssi bakuttira muntu yenna kuliiso singa kinazuulibwa nti bayisa olugaayu mu Nnamulondo.
Ssejjengo era akunze abavubuka mu Buganda obutacamukirira nabannabyabufuzi era obutawubisibwa mu ngeri zonna bannakigwanyizi abeesomye okulwanyisa Obwakabaka.
Ye Ssentebe wa Nkobazambogo ku ssettendekero e Makerere, Ssemujju Moses Mwanje agamba nti kyenyamiza nti waliwo nabatandise okutwala ebifaananyi bya bannabyabufuzi ku mikolo egy’enkinzo ng’okwanjula kyagamba nti kigendereddwamu kunafuya Nnamulondo.
Ate Ssentebe wa Kabaka Mwenyango Mbogoli Isma akunze abavubuka mu Buganda, okusengejja gyebajja amawulire agakwata ku bwakabaka nabasaba okwettanira emikuttu egimanyiddwa egy’Obwakabaka okugoberera ebiva embuga bave ku basseketerera Nnamulondo.
Ensisinkano eno yetabiddwamu abakulembeze b’abavubuka okuva mu bitundu bya Buganda ebyenjawulo namatendekero agawaggulu agatali gamu.