Abeesimbyewo kubwa Nnalulungi beesunga kuwangula Kapyata, Obuganda busabiddwa okwetabamu okumulonda

Bya Ronald Mukasa

Mmengo –  Kyaddondo

Empaka z’obwa Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda zongeddwamu ebirungo nga ku mulundi guno omuwanguzi agenda kusitukira mu mmotoka kapyata wamu n’ebirabo ebirala.

Ekirabo kino kyanjuddwa Minisita w’Ebyobuwangwa n’Ennono,Obulambuzi n’Ebifo Eby’enkizo n’Ebyokwerinda mu Bwakabaka, Owek. Anthony Wamala mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu.

Owek.  Wamala asinzidde wano naakubiriza Obuganda okwetaba mu kulonda Nnalulungi w’ebyobulambuzi okugenda okubeerawo ku lw’okutaano lwa Ssabiiti eno ku Hotel Africana mu Kampala.

 Minisita Wamala era alambuludde ku buvunanyizibwa bwa Nnalulungi w’ebyobulambuzi mu Buganda okuli okubeera omubaka w’ebyobulambuzi mu Bwakabaka era eky’okulabirako eri baana abawala okusobola okusitula embeera zaabwe.

Kinajjukirwa nti empaka zino zeetabwamu bannalulungi okuva mu masaza gonna 18 nga kuno  kwekulondebwa omu abeera asinze banne bonna.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *