AMAZAALIBWA GA SSAABASAJJA KABAKA

Abantu ba Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka bakedde ku kkanisa y’ Abadiventi e Najjanankumbi okwetaba ku mukolo gw’Amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 69.

Omukolo guno gutandise n’okusaba okukuliddwamu Ssaabalabirizi w’ekkanisa y’Abadiventi, Pr. Dr. Moses Ndimukika yakulembeddemu okusabira Ssaabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.

Dr. Ndimukika yeebazizza Beene olw’okusembeza ekkanisa y’Abadiventi ku mwanjo ekyongedde okunyweza obumu mu bantu be.

Ono era agamba nti Nnyinimu akoze kinene okuteerawo abantu be enteekateeka ez’enjawulo eziyambye okubakuuma nga balamu era nga bakulaakulana.

Eyabuulidde ku mukolo guno omulabirizi wa Central Uganda Conference, Pr. Samuel Kajoba era ono yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okukulembeza katonda mu bwakabaka bwe.

Omulabirizi Kajoba era akubiriza bannayuganda okutendereza Katonda buli webabeera kubanga abakoledde eby’ekisa bingi ebyewunyisa nga mwemuli n’okuwangaaza Nnyinimu.

Bw’abadde ayogerera ku mukolo guno, Katikkiro Charles Peter Mayiga asoose kulambululira Obuganda ebikwata ku bulamu bwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.

Owek. Mayiga era ategeezezza Obuganda nti obukulembeze bwa Ssaabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwabibala nnyo era buganyudde nyo abantu be.

Ono bwatyo yeebaziza olulyo Olulangira ne Nnaabagereka olw’okukwatizaako Ssaabasajja Kabaka nga akulembera Obuganda.

Yeebazizza ekkanisa y’Abadiventi olw’enteekateeka y’okujagulizaako Omutanda amazaalibwage n’okulyowanga abantu be emyoyo awatali kukoowa.

Ab’ekkanisa y’Abadiventi era baliko Amakula gebatonedde Nnyinimu olw’okulaga okusiima kwabo wamu n’okuwa Nnaabagereka Sylvia Nagginda ebirabo ebyenjawulo.

Omukolo guno gwetabiddwako ebikonge ebyenjawulo okuli; Nnaabagereka Silvia Naginda, Abalangira n’Abambejja, Abataka Abakulu ab’Obusolya, baminisita mu Gavumenti eya wakati n’eye Mengo, akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Joel Ssenyonyi, omulabirizi w’e Namirembe Moses Banja, Supreme Mufti Sheikh Muhammad Shaban Galabuzi nabakulembeze ku mitendera egyenjawulo.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *