Katikkiro Mayiga asisinkanye Abaami b’Amagombolola, abakuutidde okunyweza obwesige Nnyinimu bweyabawa

Katikkiro Mayiga asisinkanye Abaami b’Amagombolola, abakuutidde okunyweza obwesige Nnyinimu bweyabawa

Katikkiro Mayiga asisinkanye Abaami b’Amagombolola, abakuutidde okunyweza obwesige Nnyinimu bweyabawa

Share on Twitter

Bya Ronald Mukasa

Katwe – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Abaami b’ eggombolola mu Buganda okukuuma obwesige Ssaabasajja Kabaka bweyabataddemu nga ayatula amannya gaabwe okumulamulirako Ggombolola ze mu Masaza ga Buganda 18.

Okusaba kuno Kamalabyonna akukoledde ku Muganzirwazza e Katwe ku Lwokusatu bw’abadde asisinkanye Abaami b’e Ggombolola okubalambika ku buvunaanyizibwa obuboolekedde.

Kamalabyonna Mayiga ategeeezzza nti ssi kyangu Kabaka okukwatula erinnya olw’abantu abangi abali Buganda, naye bwakwatula kitegeeza oli wa njawulo mu balala nga noolwekyo kyetaagisa omwami okukola ebitaswaza Ssaabasajja Kabaka.

Ono Abaami abalaze obuvunaanyizibwa omwami we Ggombolola bwalina omuli, okimanya ebifa mu Bwakabaka n’ebweru w’obwakabaka kubanga abantu mu maggombolola balowooza nti abaami be bamanyi ebifa embuga.

Owek. Mayiga abakuutidde okusoma ebyafaayo by’obwakabaka, bamanye buli kanyomero akali mu Ggombolola zebatwalae abantu baleme kubayisaamu maaso.

Kamalabyonna era abakubirizza bakuume eby’obugagga by’obwakabaka ebiri mu Ggombolola zaabwe, bafube okussa pulojekiti ez’enjawulo ku mbuga zireme kutwalibwa bannakigwanyizi.

Ku nsonga yeby’obufuzi gyetwolekedde mu bbanga ttono mu maaso awo, Katikkiro abasabye okwegendereza bannabyabufuzi abagenda okwagala okubeekwata nga banoonya obuwagizi.

Wano abasabye okusembeeza abo abawagira ensonga Ssemasonga n’okuwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ekitiibwa.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru, Owek Joseph Kawuki, aloopedde Katikkiro ng’ Abaami bwebongedde obunyiikivu mu mirimu gyobwakabaka.

Ono awadde eky’okulabirako mu luwalo nagattako lwalinnya ebitundu 50% omwaka oguwedde, bakoze pulojekiti n’emirimu egitali gimu ku mbuga zaabwe, anokoddeyo Ggombolola ye Kalungu ne Kalisizo, era abaami bangi babadde basaale mu kukuuma eby’obugagga bya Kabaka n’okubikulaakulanya.

Ensisinkano eno ebeerawo buli mwaka n’ekigendererwa eky’okulambika abaami mu buweereza bwabwe wamu nokuwuliriza ensonga zebaloopa embuga eziri mu bitundu byabwe.

Ssaabalangira Musanje asabye abavubuka okukuuma ekitiibwa kya Nnamulondo

Bya Ssemakula John

Lubiri  – Mmengo

Ssaabalangira Godfrey Musanje Kikulwe asabye abavubuka ba Buganda okubeera abamalirivu okunyweeza n’okukuuma ekitiibwa kya Ssaabasajja Kabaka kwossa obutakkiriza bantu bafunvubidde  okusaanyaawo Obwakabaka.

Obubaka buno, Ssaabalangira Musanje abuwadde atikkula abantu ba Beene abavudde mu ggombolola ya Mutuba V Kawempe  Amakula ga Ssaabasajja Kabaka ku Lwokusatu mu Lubiri e Mmengo.

Kikulwe agambye nti abantu bateekwa okusoosowaza amawulire agatagendereddwaamu kuseeseetula nnono ya Buganda era beesambe abo abatambuza amawulire gonna ag’obulimba.

Ssaabalangira asomoozezza abantu okwewala okutambula n’abantu abaasalawo okusimbira ekkuuli amawulire agafa embuga kwossa ensonga za Ssaabasajja Kabaka kuba bano balina ebyabwe byebanoonya.

Eyakulembeddemu abaleese Amakula, Omumyuka wa Kaggo ow’okubiri Dr. Fiona Nakalinda Kalinda ajjukizza abavubuka okwongera okunyweeza olutalo olugoba Mukenenya kwossa endwadde endala mu ggwanga.

Katikkiro w’ebyalo bya Kabaka omukungu Luutu Moses asabye abantu okwongera okussa mu nkola ebintu byonna ebibalambikibwa okutumbula ekitiibwa kya Buganda.

Ye Avunaanyizibwa ku Lubiri lwa Kabaka, Omuk. Ssewava Robert ajjukizza Obuganda okujjumbira okukola ennyo okusobola okwebezaawo kibataase okuwankawanka.

Mukwenda Kagimu asabye Ab’eggombolola n’Abatongole okubeera obumu

Bya Musasi Waffe

Bukuya – Ssingo

Omwami wa Kabaka akulembera essaza Ssingo, Mukwenda Deo Kagimu asabye abakulembeze b’Obwakabaka omuli Abaami b’Eggombolola n’Abatongole okubeera obumu okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.

Mukwenda Kagimu agamba nti obumu bujja kubayamba okwongera okukola  era bannyikize obukulembeze bwabwe era baganyule abantu ba Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.

Obubaka buno abuweeredde Bukuya mu Ssingo Abaami bano bwebabadde balambikibwa ku nkola y’emirimu bwerina okutambula.

Ono annyonnyodde nti  buvunaanyizibwa bwa baami bano okukakasa nti batuusa obuwereza eri abantu ba Kabaka ate nokubatusaako ebifa embuga mubutuufu bwabyo.

Mukwenda Kagimu bano era abanjulidde enteekateeka yOmulabba egendereddemu okuddaabiriza ennyumba enkulu ey’essaza emanyiddwa nga Matutuma esobole okutuukana n’ekitiibwa ky’essaza wamu n’Obwakabaka.

Owek. Kagimu  era abalagidde okukakasa nti ebizimbe byObwakabaka ku mbuga yEggombolola bituukana nomulembe era bafube n’okukuuma ettaka ly’Obwakabaka eriri mu bitundu byabwe.

Abaami bano baweze okukolera nnyo ekisoboka okustitula embeera z’abantu ba Kabaka basobole okulaakulana n’okwegobako obwavu nga bayita mukujjubira enteekateeka z’Obwakabaka.

Mukwenda abadde nomumyuka Owokusatu Mwami Jjumba Stephen nabakiise ku Lukiiko lwEssaza Ssingo, ngOmukolo gubadde ku mbuga ya Mut V Bukuya.

Obufumbo Tebusaana Kutambulizibwa ku Mutimbagano – Katikkiro.

Obufumbo Tebusaana Kutambulizibwa ku Mutimbagano – Katikkiro.

Obufumbo Tebusaana Kutambulizibwa ku Mutimbagano – Katikkiro.

Bya Francis Ndugwa

Kitovu – Buddu

Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Prof. Twaha Kigongo Kaawaase asabye abafumbiriganwa okwesonyiwa okutimba buli kye bafuna ku mutimbagano kuba guliko abantu abalina amaaso amabi, abataagaliza n’abensalwa.

Obubaka buno Owek. Kaawaase abuweeredde mu Lutikko e Kitovu bw’abadde akiikiridde Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ku mukolo gw’ okugatta omuweereza wa BBS Terefayina, Micheal Birimuye Matovu ne munne Vivian Nabacwa.

Owek. Kaawaase ategeezezza nti obufumbo bubeera bwa bantu babiri nga tekikola makula kutimba buli kimu kye babeera batuuseeko oba okufuna kuba ssi buli muntu nti asanyukira ekirungi omulala kyafunye.

Ayozaayozezza abagole bombi olw’okutuuka ku lunaku luno nakakasa nti ekikolwa ky’obufumbo kya ddiini, buwangwa era kya nnono, n’olwekyo kijja n’ekitiibwa eri akikola, annyonnyodde nti okunyweza Obuganda omwami awasa mukyala sso ssi mwami ku mwami oba mukyala ku mukyala bwatyo yebaaziza bano okunyweza kino.

Omwami wa Kabaka ow’e Buddu, Ppookino Jude Muleke abagole nga yaajulidde abagole abayozaayozezza olw’ okutuuka ku kkula lino era neyeeyama okutuukiriza obuvunaanyizibwa buno, ategezezza nti amaka kkula ate ssomero eri ababa bafumbiddwa ate n’eri abaana abzaalibwa n’okukuzibwa mu maka. Bwatyo asabye abafumbo bano okutwala kye bayingidde nga nsonga nkulu nnyo.

Omukolo gw’okugatta Abaagalana bano gukoleddwa Bwanamukulu w’ekigo kye Butende Rev. Fr Timothy Ssemwogerere nga ayambibwako baffaaza abalala. Bw’abadde agatta abagole bano, Rev. Fr Timothy Ssemwogerere abasabye okuteeka okwagala wakati wabwe era bakimanye nti obufumbo bubaamu ebisomooza naye bakole okubivvuunuka olwo babeere abazira era abawanguzi.

Fr. Ssemwogerere era atabukidde bannabyabufuzi abavumaŋŋana olw’okwawukana endowooza n’abasaba okukitegeera nti ennono ya demokulaasiya ebeeramu okwegiikiriza.Ono agasseeko nti ensangi zino abantu tebakyayagala kuzaaala wamu n’okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe nga abafumbo n’asaba Birimuye ne Nabacwa okuteekawo enjawulo ku kino.

Omukolo guno gwetabiddwako omumyuka Asooka owa Katikkiro, Prof. Twaha Kaawaase, Omukubiriza w’ olukiiko lw ‘Abataka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, Omutaka Nsamba, Minisita Cotilda Kikomeko, Omukungu Freeman Kiyimba, Omuk. Patrick Ssembajjo, Ppookino Jude Muleke, Kaggo Hajj. Ahmed Matovu Magandaazi, Hon. Medard Ssegona n’abakungu abalala.

Oluvannyuma lw’okugattibwa abagole basembezza abagenyi baabwe mu maka gaabwe e Nattita mu Disitulikiti ye Kalungu.

Obwakabaka butongozza yinsuwa ya ‘Munno Mukabi’ e Buddu, Owek. Kaawaase akubirizza abantu okugyettanira

Obwakabaka butongozza yinsuwa ya ‘Munno Mukabi’ e Buddu, Owek. Kaawaase akubirizza abantu okugyettanira

Obwakabaka butongozza yinsuwa ya ‘Munno Mukabi’ e Buddu, Owek. Kaawaase akubirizza abantu okugyettanira

Bya Ronald Mukasa

Masaka – Buddu

Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase atongozza yinsuwa y’ebyobulamu n’obujjanjabi eya ‘Munno Mukabi’ mu ssaza Buddu n’akubirizza bannabuddu n’abantu bonna okugyeyuna basobole okwetegekera embeera y’obulwadde etaataganya ennyo abantu naddala mu mawanga agakyakula. Owek. Kawaase agamba obulwadde n’okufa tebyewalika nga n’olwekyo abantu basaana okwettanira yinsuwa basobole obutasumbuyibwa nnyo nga bibalumbye. Omukolo gw’okutongoza yinsuwa eno gubadde ku Mbuga y’essaza Buddu era nga Owek. Kaawaase akiikiridde Katikkiro wa Buganda.

Owek. Kaawaase ategeezezza nti okutongoza enkola ya Munno Mukabi n’okuggulawo ettabi lya Weerinde Insurance e Buddu y’emu ku nteekateeka ezikulembeddemu okujjukira amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 31. Ono era ategeezezza nti Kabaka atadde amaanyi mu kutumbula embeera z’abantu be okulaba nga bawangaalira mu bulamu obweyagaza era nga ne yinsuwa eno yeemu mu nteekateeka eziri ku mulamwa guno.

Owek. Kaawaase akozesezza omukisa guno okwebaza bannamukago abegasse ku kitongole ky’Obwakabaka ekya Weerinde Insurance mu nteekateeka eno, nga kuno kuliko aba Liberty Insurance, ARR n’aba KSG era n’abajjukiza nti basazeewo bulungi okukolagana n’Obwakabaka mu kutumbula embeera z’abantu.

Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa akkaatirizza obubaka bw’Owekitiibwa Kaawaase era n’ategeeza  nti enkola ya yinsuwa etongozeddwa eri mu pulogulaamu y’Obwakabaka ey’okutumbula ebyobulamu by’abantu ba Nnyinimu nga bwekirambikiddwa mu nteekateeka nnamutayiika y’Obwakabaka 2023 – 2028. Omwami wa Kabka amulamulirako essaza Buddu, Pookino Jude Muleke, asabye bannabuddu okujjumbira yinsuwa eno balage abantu abalala nti Buddu eggumidde mu kuwagira enteekateeka z’Obwakabaka. Okusinziira ku Ssenkulu wa Weerinde Insurance, Omuk. Jennifer Mirembe, Ssensuwa yinsuwa ey’ekika kino abadde tebangawo mu ggwanga. Ono ategeezezza nti mu nteekateeka ya ‘Munno Mukabi’ omuntu asasula emitwalo ana mu ena (440,000) omwaka gwonna neyeefunira obujjanjabi. Omukolo gwetabiddwako  Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo, bannaddiini, bannabyabufuzi, ne bannabuddu bangi

 Katikkiro Mayiga asisinknye abavubuka abakola emirimu egy’enjawulo, abakuutidde okubeera abayiiya era beewale obugagga obwamangu

 Katikkiro Mayiga asisinknye abavubuka abakola emirimu egy’enjawulo, abakuutidde okubeera abayiiya era beewale obugagga obwamangu

 Katikkiro Mayiga asisinknye abavubuka abakola emirimu egy’enjawulo, abakuutidde okubeera abayiiya era beewale obugagga obwamangu

 Bya Ronald Mukasa

Mmengo Kyaddondo

Katikkiro  Charles Peter Mayiga akubirizza abavubuka mu masaza ag’enjawulo okubeera abayiiya banogere ebizibu ebiri gyebawangaalira amagezi bafune emirimu n’ensimbi okusobola okwekulaakulanya.

Amagezi gano Kamalabyonna Mayiga agabaweeredde mu Bulange e Mmengo  ku Lwokubiri bwebabadde bamusisinkanye okuwayaamu n’okwongera okubazzaamu amaanyi.

Owek. Mayiga abavubuka bano  abasabye bulijjo okutandika n’ekitono kyebasobola nga buluubirira okufuna ebinene kubanga omuntu atasobola kukola bitono tasobola binene.

 Mukuumaddamula abakuutidde okuyiga obulungi emirimu era baagale byebakola basobole okugiggyamu ekiramu olwo bakulaakulane n’embeera zabwe zitumbuke.

Ono abalabudde ku kwegayaaza n’okumala gakola mirimu kyagambye nti kijja kutattana emirimu gyabwe bafiirwe akatale n’ensimbi. Bwatyo ababuulidde nti kyamugaso okwenyigiramu butereevu okusobola okuwangaaza byebakola.

Bano kamalabyonna abasabye okunyweza obwerufu n’amazima ku mirimu kyagamba nti nsonga nkulu nnyo mu kukulaakulana kw’omuntu, era obwerufu ye kitunzi wabuli muntu ku mulimu gwakola wabula nga tebeerabidde kubeera bagumiikiriza nga beewala obuggaga obwamangu.

Ye Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone , Owek. Robert Sserwanga ategeezezza nti waliwo essuubi ku nkulaakulana y’abavubuka kubanga bangi bettanidde okulima emmwaanyi era bagifunyemu.

Ono abawadde entanda  okubaako emirimu gyebatandika nga gyekuusa ku bizibu ebiri mu bitundu gyebawangaalira bwebaba baagala okufuna ku nsimbi ezitegeerekeka.

Owek. Sserwanga era abasabye bulijjo okwenyigira mu nteekateeka za gavumenti ez’enjawulo ezireetebwa okusitula embeera zabwe n’okubaggya mu bwavu.

Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda, Ssejjengo Baker, yeebazizza Beene olw’okukubiriza abavubuka obutava mu byalo kyagamba nti kizibudde nnyo abavubuka amaaso nebaganziya obwongo ku nkulaakulana yabwe.

Ssejjengo era akubirizza abavubuka abakola mu makampuni n’ebitongole eby’enjawulo okubaako ebintu eby’enjawulo byebakola okusobola okwongera ku nnyingiza zaabwe.

Ensisinkano eno yetabiddwamu baminisita abenjawulo okuli Owek. Israel Kazibwe Kitooke, Owek Cotilda Nakate Kikomeko, Owek. Anthony Wamala, abakiise b’abavubuka mu lukiiko lwa Buganda okuli, Owek Lukwago Rashid, Owek Kizito Mulwana, n’abakulembeze mu biti eby’enjawulo n’abantu abalala bangi.

Katikkiro Mayiga asisinkanye Abaami b’Amagombolola, abakuutidde okunyweza obwesige Nnyinimu bweyabawa

Bya Ronald Mukasa

Katwe – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Abaami b’ eggombolola mu Buganda okukuuma obwesige Ssaabasajja Kabaka bweyabataddemu nga ayatula amannya gaabwe okumulamulirako Ggombolola ze mu Masaza ga Buganda 18.

Okusaba kuno Kamalabyonna akukoledde ku Muganzirwazza e Katwe ku Lwokusatu bw’abadde asisinkanye Abaami b’e Ggombolola okubalambika ku buvunaanyizibwa obuboolekedde.

Kamalabyonna Mayiga ategeeezzza nti ssi kyangu Kabaka okukwatula erinnya olw’abantu abangi abali Buganda, naye bwakwatula kitegeeza oli wa njawulo mu balala nga noolwekyo kyetaagisa omwami okukola ebitaswaza Ssaabasajja Kabaka.

Ono Abaami abalaze obuvunaanyizibwa omwami we Ggombolola bwalina omuli, okimanya ebifa mu Bwakabaka n’ebweru w’obwakabaka kubanga abantu mu maggombolola balowooza nti abaami be bamanyi ebifa embuga.

Owek. Mayiga abakuutidde okusoma ebyafaayo by’obwakabaka, bamanye buli kanyomero akali mu Ggombolola zebatwalae abantu baleme kubayisaamu maaso.

Kamalabyonna era abakubirizza bakuume eby’obugagga by’obwakabaka ebiri mu Ggombolola zaabwe, bafube okussa pulojekiti ez’enjawulo ku mbuga zireme kutwalibwa bannakigwanyizi.

Ku nsonga yeby’obufuzi gyetwolekedde mu bbanga ttono mu maaso awo, Katikkiro abasabye okwegendereza bannabyabufuzi abagenda okwagala okubeekwata nga banoonya obuwagizi.

Wano abasabye okusembeeza abo abawagira ensonga Ssemasonga n’okuwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi ekitiibwa.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru, Owek Joseph Kawuki, aloopedde Katikkiro ng’ Abaami bwebongedde obunyiikivu mu mirimu gyobwakabaka.

Ono awadde eky’okulabirako mu luwalo nagattako lwalinnya ebitundu 50% omwaka oguwedde, bakoze pulojekiti n’emirimu egitali gimu ku mbuga zaabwe, anokoddeyo Ggombolola ye Kalungu ne Kalisizo, era abaami bangi babadde basaale mu kukuuma eby’obugagga bya Kabaka n’okubikulaakulanya.

Ensisinkano eno ebeerawo buli mwaka n’ekigendererwa eky’okulambika abaami mu buweereza bwabwe wamu nokuwuliriza ensonga zebaloopa embuga eziri mu bitundu byabwe.

Bakoze Bulungibwansi e Buluuli, basabye abaayo okunyweza obuyonjo

Bya Ronald Mukasa

Nakasongola – Buruuli

Abakulu okuva mu Minisitule ya Bulungibwansi, Obutonde bw’Ensi, Ekikula ky’abantu n’Amazzi mu Bwakabaka beegasse ku bantu ba Beene mu ssaza Buluuli nebakola Bulungibwansi  ow’omuggundu wakati mu kusaba abantu okubeera abayonjo.

Enteekateeka eno yakuliddwamu Minisita Mariam Nasejje Mayanja wamu n’abakungu abalala nga kino kikolebwa buli Lwamukaaga olusemba mu mwezi okusobola okulwanyisa endwadde n’okutumbula obuyonjo.

Owek. Mayanja annyonnyodde nti  abantu okulaakulana balina kubeera bayonjo era abalamu bwatyo naabasaba okuyonjo ebifo mwebakolera akadde konna.

Bano bakoze Bulungibwansi  mu bifo okuli eddwaliro lya  Health Centre IV n’ebirala bingi  era wano Minisita Nkalubo yalambula ku balwadde okulaba embeera mwebali.

 Enteekateeka eno yeetabiddwamu abantu ba Beene okuli bannaddiini, abakulembeze n’abaana b’ amasomero okuli St. Mary’s Nakasongola, St. Anthony SS n’amalala era bano bonna beeyamye okunyweza ekigambo ky’obuyonjo.

Abalala kubaddeko Omwami wa Kabaka atwala essaza lino, Sipiika wa Disitulikiti, abakulembeze okuva mu gavumenti eyawakati n’abalala bangi.

Minisita Kawuki alabudde abantu ba Beene ku balabe ba Buganda, abasabye banywerere ku Nnamulondo

Bya Ronald Mukasa

Bukulula-Buddu

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’Ensonga za Buganda Ebweru, Owek. Joseph Kawuki alabudde abantu ba Kabaka ku balabe ba Buganda abeesomye oginafuya naabasaba okunywerera ku Nnamulondo basobole okubawangula.

Obubaka buno Minisita Kawuki abuweeredde Bukulula mu Buddu bw’abadde alambula emirimu egikolebwa gavumenti ya Beene mu Ggombolola ya Mutuba II Bukulula ku Lwokusatu nga awerekeddwako Pookino Jude Muleke.

Owek Kawuki Banna Buddu abagumiza ku basseketerera obwakabaka nakinogaanya nti buli Ssaabasajja kyasimbako essira kigguka bwatyo nabasaba okunywera baleme kuseesetuka mumbeera zonna.

Ono abasibiridde  entanda ey’okwetegeerera baleme kuwuliriza maloboozi gabajja ku mulamwa era banywerere kwebyo ebiva embuga.

Mu ngeri yeemu abeebazizza omulimu gw’okuddaabiriza ennyumba ye Ggombolola, era naabasaba okuggusa omulimu guno ate bakole ebiri ku mutindo.

Minisita Kawuki era abeebazizza ku kaweefube w’okununula ettaka ly’Obwakabaka, nokussaawo enkolagana ennungi wakati w’Obwakabaka ne Gavumenti ya wakati.

Banna Buddu minisita abasabye okwongera amaanyi mukuwagira enteekateeka z’obwakabaka ng’emisinde gy’amazalibwa ga Nnyinimu, oluwalo nebirala era nalabula okwerinda Nnawookeera wa sirimu akyegirisiza  mukitundu kyabwe.

Owek Joseph Kawuki alambuludde nti ekigendererwa kwe kwetegereza emirimo egikolebwa, okunyweza obumu mu bukulembeze n’abantu ba Kabaka, okulambika Abaami ab’emitendera gyonna n’enkiiko enkulembeze ku mitendera gyonna.

Omumyuka w’omwaami we Ggombolola ya Mutuba II Bukulula Nsubuga Patrick,  aweze okwongera okutuukiriza obuvunaanyizibwa  obwabaweebwa Nnyinimu basobole okutumbula embeera z’abantu n’okuzza Buganda ku ntikko.

Mugoberere nnyo ebigambo bya Maasomoogi – Owek Kazibwe Kitooke

Mugoberere nnyo ebigambo bya Maasomoogi – Owek Kazibwe Kitooke

Mugoberere nnyo ebigambo bya Maasomoogi – Owek Kazibwe Kitooke

Bya Ronald Mukasa

Mmengo – Kyaddondo

 Minisita w’ Amawulire n’Okukunga abantu  era omwogezi w’Obwakabaka Owek. Israel Kazibwe Kitooke akuutidde abantu ba Buganda okutwala ebigambo bya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II nga bikulu ddala  bavve kwabo abeenoonyeza ebyabwe.

Owek. Kazibwe agamba nti singa abantu ba Beene bakola kino bajja kusobola okunyweza  Nnamulondo  n’ ensonga ssemasonga ettaano olwo Buganda esobole okudda ku ntikko.

Entanda eno, Minisita Kazibwe agiweeredde mu Bulange e Mmengo eri  Bannabuddu n’ Abakooki abaleese oluwalo lwa bukadde obusobye mu 29 ku Lwokubiri.

Minisita Kitooke agumizza Obuganda ku mbeera y’obulamu bwa Beene nategeeza nti ali mu mikono emituufu era ajja kudda ku butaka mu budde obutali bwa wala nga bweyategeezezza Obuganda.

Ono akakasizza nga essaza lye Kooki bweribadde ekitundu ku Buganda okuviira ddala mu myaka gya 1696 ne 1740 oluvannyuma lw’omulangira Bwohe okuva e Bunyoro byeyakwatagana ne Ssekabaka Jjunju Ssendegeya naasaba abantu baayo okubeera obumu.

Owek. Kazibwe bano abasabye okujjumbira enteekateeka za Buganda ez’enjawulo era beeyune Sikaala z’embuga  eziri mu mbalirira y’omwaka guno basobole okusomesa abaana babwe olwo bafune ebiseera by’omu maaso ebitangaavu.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka n’ensonga z’Obwakabaka ez’ebweru, Owek. Joseph Kawuki yeebazizza abakiise embuga naabasaba okusigala nga bawulize eri Nnamulondo era bafube okusaasaanya amawulire amatuufu agava embuga.

Bano era Minisita abakuutidde  bulijjo okugoberera okulambika okubaweebwa Katikkiro nakinogaanya nti byonna Kamalabyonna byayogera gabeera amazima naabasaba obutawubisibwa bamyoyo mibi.

Omubaka wa Bukomansimbi South, Godfrey Kayemba Solo  ategeezezza nga bwebagenda okunywerera ku Nnamulondo era ng’ abavubuka bakwongera okulaga obuwulize eri Nnamulondo.

Ye Omukwanaganya  w’essaza lye Kooki, Gertrude Ssebugwawo ategeezezza nti ng’ Abakooki beetegefu okwetaba mu nteekateeka zonna ez’Obwakabaka era tebajja kutiiriria Nnamulondo.

Eggombolola ezikiise embuga kuliko;  Mutuba II Kifamba,  Mutuba 19 Kasasa, Mutuba I Kyalulangira, nga Mutuba 18 Kibinge yenywedde mu ndala akendo n’oluwalo lwabukadde 15,160,000.