Gr52hC6zk0PMOgIbn3ET0dm3vdQA0hCa082lnvHY

BULEMEEZI EWANGUDDE AMASAZA AMALALA.

Essaza Bulemeezi lye lisukulumye ku Masaza amalala mu nkola y’emirimu nga bwegirambikibwa Minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu.Essaza Bulemeezi lye lisukulumye ku Masaza amalala mu nkola y’emirimu nga bwegirambikibwa Minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu.

Katikkiro Oweek. Charles Peter Mayiga yaalangiridde bino enkya ya leero ku Bulange e Mengo. Essaza Bulemeezi lisukulumye ku malala n’obubonero 75, ne liddirirwa Buddu, Mawokota, Kyaddondo n’amalala olwo lyo Essaza Mawogola ne likwebera n’obubonero 22. Ate mu Magombolola, Eggombolola Mutuba IV Kawuga, Kyaggwe lye liwangudde amalala.

Katikkiro ayozaayozeza Abaami b’Amasaza n’amagombolola abawangudde n’abakuutira okwongera amaanyi mu nkola y’emirimu okusobola okweddiza obuwanguzi n’okwekuumira ku ntikko.

Oweek. Mayiga asabye ab’Abaami b’Amasaza n’amagombolola agatakoze bulungi okwekebera mu nkola y’emirimu era yeebaziza nnyo ab’eggombolola ya Mutuba IV Kawuga olw’okola ennyo n’ebedfiza obuwanguzi bwebatuukako n’omwaka oguwedde


Katikkiro akuutidde Abaami okugoberera enteekateeka ezibalambikibwa okuva embuga, okukuuma ebiwandiiko, okugabana emirimu egikolebwa mu masaza kino kibayambe okusitula omutindo gw’obuweereza bwaabwe. Ayongedde okubakuutira okukola ennyo okuzza Buganda ku ntikko nga baluubirira okusitula omutindo gw’embeera z’Abantu ba Ssaabasajja Kabaka.

Oweek. Joseph Kawuki, Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu alambise enteekateeka eziyitiddwamu okusala empaka zino, okufuna omuwanguzi mu nkola y’emirimu gy’agambye nti yatandika omwaka oguwedde nga 15, Ntenvu. Wano Abaami balambikibwa ebimu kw’ebyo ebyayitiddwamu okupima enkola y’emirimu okuli entambuza y’obukulembeze n’emirimu, obuwulize n’obujjumbize ku bikwata ku Nnamulondo, obuyiiya ne tekinologiya n’entambuza ku Masaza ne mu Magombolola.

Yeebaziza nnyo bonna abakoze obutaweera okulaba ng’empaka zino zisalibwa bulungi, nga munno mwe muli abaseesa, abalezi wamu n’akakiiko akaakulemberwa Mw. Godfrey Male Busuulwa Ssentebe ng’amyukibwa Mw. Ssali Damascus.

Oweek. Kawuki asiimye nnyo Abaami olw’omulimu gw’okuddaabiriza embuga z’Amasaza n’okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo.

Kangaawo Oweek. Ronald Mulondo yeebaziza nnyo Abalyannaka bonna olw’obuwanguzi bwebatuusseko bw’agamba nti bwesigamye ku bumu n’okukolera awamu kwebateaddewo mu Ssaza Bulemeezi.

Enteekateeka eno ey’okulangirira yeetabiddwako Oweek. Israel Kazibwe, Oweek. Mariam Mayanja, Abaami ba Kabaka ab’Amasaza n’Amagombolola n’abaweereza ba Kabaka abalala.

UT1ZZ9gnTGWmsd5HuIQ7tJRPF5ixJ9JZmcGD8aLa

BUGANDA BUYS SHARES IN THE AIRTEL IPO

26 Mutunda 2023
Bulange,

Obwakabaka buguze emigabo obukadde bubiri (2m shares ), nga gibalirirwamu obukadde 200, mu Kampuni ya Airtel_Ug.

“Bangi balowooza nti okusiga ensimbi kuteeka mu nnyumba zabapangisa, saloon, oba taxi, tuyige okusuubula emigabo kubanga tolina kyeweeraliikirira nti oba onafiirizibwa”-Katikkiro

Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Minisita webyensimbi n’okuteekerateekera Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, agambye nti omukago gw’obwakabaka ne Airtel guvuddemu emiganyulo mingi omuli nokutumbula eby’obulamu nga bayita mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka.

Ssenkulu wa Airtel Uganda, Manoj Murali, ategeezezza nti obuwumbi 8 obw’emigabo bwebuteereddwawo ku katale, buli mugabo gwa shs100

mjZDQdoHJVTUC59eDigi4n7K6jyVsJ24qq5JsTAB

BUGANDA DAY 2023 SCANDINAVIA

28 Mutunda 2023 Scandinavia, Abantu ba Ssaabasajja abawangalira mu mawanga akola e Ssaza Scandinavia bakuzizza olunaku lwa Buganda lwebatuumye, “Buganda day” 2023. 

Omukolo guno gubadde ku Folkets Husby Stockholm mu Sweden, wansi w’Omulwamwa “Omukyala mpagi mu kukulaakulanya Buganda”. Omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Ssaza Scandinavia, Oweek. Nelson Mugenyi y’abadde omugenyi omukulu. Ab’ekitiibwa n’Abakungu ba Kabaka ab’enjawulo beetabye ku mukolo guno, Omubaka wa Ssaabasajja mu Netherlands Owek. Sam Ssekajugo Musoke n’Omumyuka we Oweek Linda Ssekayita, Omukungu Baker Kabugo William owa Sweden, Omuk. Martin Kalule owa Seattle USA, Omuk. Kaggwa Edward Ndagala Ssenkulu wa Kabaka Foundation, n’Omuk. Godfrey Sseruwu, Ssenkulu omuggya owa Kabaka Foundation mu Ssaza Scandinavia. 

Omukiise w’Abakyala ku lukiiko lw’Omubaka e Scandinavia, Olivia Nankya, ye yakulembeddemu enteekateeka. Enteekateeka zaakulembeddwamu emisomo egy’enjawulo nga gitambulira ku miramwa egiwerako, era abasomesa abatali bamu baabangudde abantu ba Kabaka ku miramwa gino egyasimbye essira ku kukuuma obuwangwa n’ennono. 1. Omukyala n’obufumbo ne (Omuk. Linda Kayita). 2. Omukyala ow’Omulembe Omutebi ne (Muky. Leah Mutaawe). 3. Okwekulaakulanya nga tuyita mukukolera awamu (Muky. Namuddu Janet Magato). 4. Abawala abato abaakulira mu Sweden okukuuma obuwangwa n’e nnono (Musawo Aisha Nalusiba). 5. Amazzi mu nkulaakulanya y’Amaka (Hajjati Mary Luyombya). 6. BiKi byebasobola okuyiga okuva mu Sweden. 

Oluvannyuma wabaddewo okusanyusibwamu n’amazina amaganda, katemba n’okuyimba, abayimbi okuli Julie Heartbeat okuva e Netherlands, Jose Pro ne Big Solo Sweden, be baakulembeddemu eby’ensanyusa.