Bya Francis Ndugwa
Bulange – Mmengo
Ssentebe wa Bboodi y’Ekitavvu ky’ Abavubuka mu Bwakabaka ki Essuubiryo Zambogo SACCO, Omuk. Joseph Ssenkusu ayanjulidde Katikkiro Charles Peter Mayiga ssenkulu w’ekitavvu kino omuggya.
Omukolo guno guyindidde mu Bulange ku Lwokubiri.
Ayanjuddwa ye Omuwologoma Gorretti Nnasuuna era ono Kamalabyonna Mayiga amwanirizza namwagaliza obuweereza obulungi.
Ssenkulu omuggya Gorretti Nnasuuna yeeyamye okutwala obuvunaanyizibwa obumuweereddwa mu maaso n’okulaga nti ekitavvu kino kyongera okulaakulana n’okuyitimusa abavubuka mu Bwakabaka.
Omukolo guno gwetabiddwako Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone, Owek Robert Sserwanga ne Ssentebe wa Bboodi erabirira ekittavvu kino Owek Joseph Ssenkusu.