Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Abantu ba Kabaka abawangaalira mu ssaza Kyaggwe ne Bugerere bakiise embuga n’Oluwalo olusobye mu bukadde 13 okuwagira emirimu gya Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka.
Bano Minisita w’ebyobulimi n’Obwegassi Owek., Amis Kakomo yabatikkudde Oluwalo luno ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga naabakubiriza okubeera Obumu okusobola okutwala Buganda ku ntikko.
Ow’omumbuga mu bubaka bwatisse Owek. Kakomo bano abasabye okubeera abakozi ennyo okusobola okutumbula embeera zabwe era kibayambe okwegobako obwavu.
Ku lulwe Owek. Kakomo bano abakubirizza okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka n’okukola ebibiina by’Obwegassi basobole okunyweza enyingiza yaabwe n’Okweterekera.
Oluwalo luno luvudde mu ggombolola ez’enjawulo okuli; Busaana Mutuba III, Ssaabaddu Bbaale, Ssaabawaali Galiraaya, Ssaabawaali Buikwe ne Kitimbwa Mutuba 1.
Ye Mugerere omuggya Ssemugooma Samweli Ssengooba yeebazizza nnyo Nnyinimu olw’okusiima namuwa obuvunaanyizibwa okumukulembererako essaza lye ely’eBugerere nawera nti wakukola ne banne okuza Buganda kuntiko nga bakulembeza obumu mu bantu ba Baane.
Omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze ab’enjawulo okuli; Omubaka wa Ntenjeru South Patrick Nsanja ne Ssentebe wa NRM e Kayunga Moses Kalangwa, Hon. Agatha Nalubwama n’abakungu abalala.