Gr52hC6zk0PMOgIbn3ET0dm3vdQA0hCa082lnvHY

BULEMEEZI EWANGUDDE AMASAZA AMALALA.

Essaza Bulemeezi lye lisukulumye ku Masaza amalala mu nkola y’emirimu nga bwegirambikibwa Minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu.Essaza Bulemeezi lye lisukulumye ku Masaza amalala mu nkola y’emirimu nga bwegirambikibwa Minisitule ya Gavumenti ez’ebitundu.

Katikkiro Oweek. Charles Peter Mayiga yaalangiridde bino enkya ya leero ku Bulange e Mengo. Essaza Bulemeezi lisukulumye ku malala n’obubonero 75, ne liddirirwa Buddu, Mawokota, Kyaddondo n’amalala olwo lyo Essaza Mawogola ne likwebera n’obubonero 22. Ate mu Magombolola, Eggombolola Mutuba IV Kawuga, Kyaggwe lye liwangudde amalala.

Katikkiro ayozaayozeza Abaami b’Amasaza n’amagombolola abawangudde n’abakuutira okwongera amaanyi mu nkola y’emirimu okusobola okweddiza obuwanguzi n’okwekuumira ku ntikko.

Oweek. Mayiga asabye ab’Abaami b’Amasaza n’amagombolola agatakoze bulungi okwekebera mu nkola y’emirimu era yeebaziza nnyo ab’eggombolola ya Mutuba IV Kawuga olw’okola ennyo n’ebedfiza obuwanguzi bwebatuukako n’omwaka oguwedde


Katikkiro akuutidde Abaami okugoberera enteekateeka ezibalambikibwa okuva embuga, okukuuma ebiwandiiko, okugabana emirimu egikolebwa mu masaza kino kibayambe okusitula omutindo gw’obuweereza bwaabwe. Ayongedde okubakuutira okukola ennyo okuzza Buganda ku ntikko nga baluubirira okusitula omutindo gw’embeera z’Abantu ba Ssaabasajja Kabaka.

Oweek. Joseph Kawuki, Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu alambise enteekateeka eziyitiddwamu okusala empaka zino, okufuna omuwanguzi mu nkola y’emirimu gy’agambye nti yatandika omwaka oguwedde nga 15, Ntenvu. Wano Abaami balambikibwa ebimu kw’ebyo ebyayitiddwamu okupima enkola y’emirimu okuli entambuza y’obukulembeze n’emirimu, obuwulize n’obujjumbize ku bikwata ku Nnamulondo, obuyiiya ne tekinologiya n’entambuza ku Masaza ne mu Magombolola.

Yeebaziza nnyo bonna abakoze obutaweera okulaba ng’empaka zino zisalibwa bulungi, nga munno mwe muli abaseesa, abalezi wamu n’akakiiko akaakulemberwa Mw. Godfrey Male Busuulwa Ssentebe ng’amyukibwa Mw. Ssali Damascus.

Oweek. Kawuki asiimye nnyo Abaami olw’omulimu gw’okuddaabiriza embuga z’Amasaza n’okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo.

Kangaawo Oweek. Ronald Mulondo yeebaziza nnyo Abalyannaka bonna olw’obuwanguzi bwebatuusseko bw’agamba nti bwesigamye ku bumu n’okukolera awamu kwebateaddewo mu Ssaza Bulemeezi.

Enteekateeka eno ey’okulangirira yeetabiddwako Oweek. Israel Kazibwe, Oweek. Mariam Mayanja, Abaami ba Kabaka ab’Amasaza n’Amagombolola n’abaweereza ba Kabaka abalala.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *