Aba Kampala Hash Harrier badduse okujaguza Amazaalibwa ga Beene ag’emyaka 69

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Aba Kampala Hash Harrier badduse emisinde gy’okukuza Amazaalibwa ga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ag’emyaka 69 nga bweri enkola yaabwe.

Bano badduka oluvannyuma lwa ssabbiiti emu ng’emikolo emikulu giwedde .

Bw’abadde abasimbula Kamalabyonna Charles Peter Mayiga abasabye  okunyiikira okwebuulirira ku bulwadde bwa mukenenya era bafube okulaba nga bayambako okukomya okusaasaana kw’obulwadde buno.

Banna Kampala Hash Harrier beebazizza Katonda olw’obulamu bwa Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka era nebeeyama okwongera okutambulira awamu n’Obwakabaka bwa Buganda okwongera okulaakulana.

Bano oluvannyuma lw’okudduka basaze kkeeki y’Amazaalibwa g’Omutanda ag’emyaka okwongera okujaguza wansi w’omulamwa,”Abaami tubeere basaale okulwanyisa Mukenenya kitaase tutaase omwana ow’obuwala.’

Katikkiro Mayiga asabye abakozi bulijjo okufuna ennyingiza egatta ku musaala

Bya Francis Ndugwa

Bulange – Mmengo

Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga, akuutidde abaweereza ku mirimu bulijjo okufuba okubaga enteekateeka zókubangawo ennyingiza ezenjawulo bwebaba baagala okulaakulana n’okulemwa okwennyika mu birowoozo.

Obubaka buno  Mukuumaddamula abuweeredde mu lukiiko lwabaddemu n’abaweereza ba Buganda abatereka ensimbi zaabwe ez’obukadde mu Buganda Provident Fund bwebabadde mu lukiiko lwabwe Ttabamiruka olwa buli mwaka oluyindidde e Bulange e Mmengo ku Lwokubiri.

Owek. Mayiga era asabye abakulira ebittavu byabateresi bulijjo okufuba okulondoola nókugoberera amateeka mu byonna byebasalawo nga beekwata ku bwerufu kibiyambe okutuukiriza emiramwa egyabitandisaawo.

Ye Ssentebe we kittavvu kino ki Buganda Provident Fund era Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek Twaha Kigongo Kawaase, alambuludde ku miganyulo gye bibiina bino naagamba nti byongera okuzimba obulamu bw’ abakozi n’okubaako byebeekolera mu biseera byabwe eby’omumaaso.

Ekibiina kino kigatta baminisita, abakungu n’abaweereza ku mitendera egy’enjawulo.

Empaka z’Omupiira gw’Ebika zigguse, za Lwamukaaga luno

Bya Shafic Miiro

Bulange – Mmengo

Olukiiko lw’abakulembeze ba ttiimu z’Ebika bya Baganda lutudde ku Bulange, okwongera okutunuulira enteekateeka ng’empaka zino bwezinabeera naddala nga ziweza emyaka 50 kati bukyanga zitandika.

Mmamba Gabunga baggulawo n’Obutiko mu mupiira gw’abawala ogw’okubaka nga 20/04/24 n’okubaka ku Kisaawe kya St. Lawrence University era outunka mu kubaka kumala ennaku 7 olwo omupiira ogw’ebigere gutandike nga 27/04/24.

“Emipiira gy’Ebika gyongera okutegeeza abantu nti Obuganda bika era abazannyi n’abantu bangi bafuna omukisa okumanyagana n’okunyweza obumu” – Oweek. Sserwanga – Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Oweek. Robert Serwanga Ssaalongo.

Minisita ategeezeza nti Empaka z’omulundi guno zigenda kubeera n’ebyenjawulo bingi ddala, era ttiimu n’abazannyi ssekinoomu abanaasinga ku balala, bajja kufuna emiganyulo mingi.

Ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka Empaka zino Oweek. Hajj. Sulaiman Magala yeebaziza abakulembeze ba ttiimu olw’amaanyi ge bateekamu okulaba nga empaka zino zitambula bulungi, era abasabye engeri gye bamaze okufuna amateeka n’ensengeka z’enzannya zonna, bakole ekisoboka okulaba nga emizannyo gyonna bagyetabamu.

Abakulembeze ba ttiimu ez’enjawulo, buli omu awaga okuteekawo omutindo ogw’amaanyi okusobola okuwangula Engabo y’Omwaka guno naddala nga mu ngeri ey’enjawulo Emipiira gy’Ebika giweze Emyaka 50.

Katikkiro Mayiga akuutidde Abaami abaggya ku bwerufu

Katikkiro Mayiga akuutidde Abaami abaggya ku bwerufu

Katikkiro Mayiga akuutidde Abaami abaggya ku bwerufu

Bya Ronald Mukasa

Bulange – Mmengo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asisinkanye Abaami ba Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II abalondeddwa okukulira amasaza wamu n’eggombolola nabakuutira okubeera abeerufu era batambulire ku misinde nga bakola obuvunaanyizibwa bwabwe olwo Buganda edde ku ntikko.

Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna era bano Katikkiro Mayiga abategeezezza ng’okuviira ddala ku mirembe gya Ssekabaka Kintu enkola y’abantu okufuna obuweereza wamu n’okuwummula bwebaddewo nga mu byonna ekibeera kigendererwa kwe kunyikiza obuweereza bwa Nnyinimu.

 ” Abaami baweebwa Obwami ate oluusi Abaami bawummula eyo enkola ya bulijjo tekiri ku baami b’amasaza bokka, oba bamagombolola oluusi kibeera neku bakatikkiro. Tewaliwo nnyo kyanjawulo,”  Katikkiro Mayiga bw’annyonnyodde.

Owek. Mayiga agamba nti oluusi abantu basaba okuwummula,abamu bakula, abamu balwala ate abalala nebasobya nga bwekityo okukyusaamu kwesigamizibwa ku nsonga ez’enjawulo.

Mukuumaddamula ategeezezza nti mu byonna beebaza abawummudde obuweereza buno kuba balina ettofaali ddene lyebagasse ku lugendo lwa Buganda okudda ku ntikko.

Ono asuubizza  Abaami abaggya enkolagana ennungi basobole okutuukiriza enteekateeka za Buganda ez’enjawulo.

Ye Minisita wa gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka nensonga za Buganda ebweru, Owek. Joseph Kawuki yeebazizza Beene olw’okusiima naalonda Abaami ku mitendera egyenjawulo bwatyo neyeyama okwongera amaanyi mubuwereza.

Oweek Kawuki era ayaniriza Abaami ba Ssaabasajja abapya mubuwereza naabasaba okwongera amaanyi mubuwereza nga bannyikira munsonga za Buganda ssemasonga ettano nokukolera mu nkola eza Buganda Kuntiko.

Minisita Kawuki agamba nti okuza Buganda kuntiko kutandikira ku Ssaza, ng’essaza bwelida kuntiko, olwo ne Buganda eyawamu eba ezze mu kiffo kyayo.

Ono  ategeezezza nga Abaami bwe bawereddwa ebyetaagisa okukola egyabwe omuli ebiwandiiko eby’enkizo ebbaluwa ezikakasa okuweebwa Obwami ssaako nokusomesebwa ku neeyisa y’omwami etwala Buganda ku ntiko.

Owek. Mayiga asabye abafumbo okutuukiriza ebiragaano byebakuba

Owek. Mayiga asabye abafumbo okutuukiriza ebiragaano byebakuba

Owek. Mayiga asabye abafumbo okutuukiriza ebiragaano byebakuba

Bya Ronald Mukasa

Bbunga – Kampala

Mukuumaddamula  Charles Peter Mayiga  asabye abafumbo  okutambuliza obufumbo bwabwe ku bwerufu, obwesigwa, n’obwesimbu era batuukirize obweyamo n’ebiragaano byebakuba nga bagattibwa.

Obubaka buno, Owek. Mayiga abuwadde ku Lwokuna mu kkanisa y’ Abadiventi e Bbunga ku mukolo gw’okugatta Gideon Mayanja ne mwana munne Hanifa Nakku mu  bufumbo obutukuvu.

Owek. Mayiga abafumbo bulijjo abasabye okukuliza abaana babwe mu mbeera ez’ekiganda era nga baganda basobole okutegeera ebya Buganda n’okukuuma ennono n’obuwangwa.

Katikkiro akinogaanyizza nti obufumbo okuva edda nedda bwa kitiibwa era nga busaanidde okukwatibwa n’ekitiibwa wakati mukusanganamu ekitiibwa nokuwangana emirembe ssaako nokuwuliziganya bwebuba bwakuwangaala.

Omukolo gw’okugatta abagole bano gukoleddwa akulira ekitongole ky’abavubuka ku lukiiko lwa Ssaabalabirizi w’Ekkanisa y’Abadiventi mu Uganda,  Pr. Ivan Ssebaggala.

Omusumba Ssebaggala abakuutidde okubeera eky’okulabirako mu maka gaabwe, beewale ebireeta entalo nokunenengana.

Owek. Kaawaase akuutidde abakulira Muteesa 1 okutumbula okunoonyereza  esobole okumanyika

Owek. Kaawaase akuutidde abakulira Muteesa 1 okutumbula okunoonyereza  esobole okumanyika

Owek. Kaawaase akuutidde abakulira Muteesa 1 okutumbula okunoonyereza  esobole okumanyika

Bya Francis Ndugwa

Kakeeka – Mmengo

Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Prof. Twaha Kaawaase Kigongo asabye abakulira Settendekero wa Muteesa 1 Royal University okuteeka amaanyi mu kunoonyereza kiriyambe okuyitimuka.

Entanda eno, Owek. Kaawaase agiweeredde  mu lukiiko lwa balina emigabo mu Ssettendekero lino oluyindidde e Kakeeka Mmengo ku Lwokuna nga Beene akiikiriddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro.

Mu kwogera kwe, Prof. Kaawaase  agambye nti Muteesa I erina okukola okunoonyereza (Research) okugasa egwanga ne nsi yonna era nokulaba nti buli musomesa abaako okunoonyereza kwakola kuba yengeri yokka  Muteesa gyesobola okufuuka Ssettendekero ayogerwako.

Owek. Kaawaase yeebazizza Ssaabasajja Kabaka okutandika ssetendekero eno ate nokugiwagira mu lugendo lwaayo olwokufuna Charter ekigyongedde obuganzi mu bantu.

Ono yeebazizza Kkabineeti ya Buganda ne Kkanso egikulembera olwokuteeka mu nkola byonna ebyeetagisa okulaba nti MRU efuna Charter.

Olukiiko olufuzi alusabye  okulaba nga batuusa ku ntikko Ssettendekero eno naddala nga beyambisa Charter okufuna obuyambi n’obuvujirizi emirimu gisobole okutambula.

Akiikiridde Katikkiro mu lukung’aana luno era nga ye mumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa  abasabye okukuuma ebitabo obulungi bulijjo era biyambe abayizi okufuuka ab’omutindo.

 Ye Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko  akubiriza  kkanso ya Ssettendekero ono okussa mu nkola ebyo byonna ebibasubirwamu  nga bwebirambikidwa mu Namutayika yo bwa Kabaka 2023 – 2028.

Kamalabyonna Mayiga akubirizza abantu obutaggwamu ssuubi basobole okuwangula

Kamalabyonna Mayiga akubirizza abantu obutaggwamu ssuubi basobole okuwangula

Kamalabyonna Mayiga akubirizza abantu obutaggwamu ssuubi basobole okuwangula

Bya Ronald Mukasa

Munyonyo  –  Kyaddondo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abantu bulijjo obutaggwamu ssuubi bwebaba baagala okusigala nga bagenda mu maaso basobole okutuuka ku buwanguzi.

Entanda eno Owek. Mayiga agiwadde Banna Rotary abakung’aanidde ku Speke Resort e Munyonyo ku Lwokutaano  bw’abadde aggulawo olukung’aana lwa ‘District 9213’ olw’omulundi ogw’e 99.

“Ekimu ku bintu ekitulemesa okubaako byetuwangula butaba na ssuubi ate oluusi bwoba olirina  nerikuggwamu. Essuubi ndyogerako ng’ amafuta agakukuuma nga weeyogerayo wadde nga olina ebikusomooza,” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.

Katikkiro Mayiga  annyonnyodde nti omuntu asobola okuwangula ensi bulijjo  yooyo asobola okwang’anga ebimusomooza nabifunira eddagala awatali kuggwamu ssuubi.

Ono yeebazizza Banna Rotary olw’okuyamba abantu okufuna essuubi nga bayita mu nteekateeka zabwe ez’enjawulo nga zino kumpi zeezimu n’Obwakabaka bwa Buganda.

Mu bino mulimu  okulwanyisa mukenenya, okugaba omusaayi, okulwanyisa Kkookolo,  n’okutaasa Obutonde Bw’ensi.

Ye Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, alaze enteekateeka z’Obwakabaka nga, emmwanyi terimba bwezikulaakulanyizza abantu era ekyo Buganda kyeyagala.

Ye Gavana wa ”District 9213′ Edward Kakembo Nsubuga asabye abantu okufaayo ku nteekateeka y’omwana omulenzi amaanyi baleme kugamalira ku baana ba buwala okusobola okukyuusa ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso.

Olukung’aana luno luyindidde wansi w’omulamwa ogugamba nti, ‘Tukuume essuubi bulijjo’ nga luno lwetabiddwamu Banna Rotary ku mitendera egy’enjawulo.

Amasomero g’Ekkanisa ya Uganda Gatumbudde Eby’enjigiriza – Sipiika wa Buganda.

Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda atenderezza amasomero g’Ekkanisa ya Uganda olw’okukutumbula eby’enjigiriza.

Amasomero g’Ekkanisa ya Uganda Gatumbudde Eby’enjigiriza – Sipiika wa Buganda.

Bya Miiro Shafik

Mengo

Sipiika w’Olukiiko lwa Buganda atenderezza amasomero g’Ekkanisa ya Uganda olw’okukutumbula eby’enjigiriza.Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule bw’abadde akiikiridde Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa mu kusaba okubadde ku Mengo S.S okw’okwebaza Katonda olw’amasomero g’Ekkanisa okuyita obulungi ebigezo by’omwaka oguwedde, ategeezeza nti amasomero gano gakoze kinene nnyo mu kubangula abaana b’Eggwanga.

Oweek. Nsibirwa atongozza ensawo y’okuyambako Amasomero g’Ekkanisa ya Uganda okwekulaakulanya gy’agambye nti esuubirwa okuyambako abaana b’Eggwanga okusomesebwa ate n’okubazimba ng’abakulembeze abanaatwala emirimu egy’Ekkanisa mu maaso ng’ate ba mugaso eri Eggwanga. Bwatyo ensawo eno agigguddewo n’obukadde 3.

Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda The Most Rev. Steven Kazimba Mugalu yeebaziza amasomero agaasinga okukola obulungi era abagakulembera baweereddwa ebirabo. Wano waasabidde abo abalowooza okuggya eky’okusomesa eddiini mu masomero okukikomya, n’avumirira n’ekyamasomero agakuggira abaana okusoma eddiini zaabwe nga gabakakaatikako ezo go ze gakkiririzaamu.

Asabye abakulira amasomero okwewala okuduumuula ensimbi ezisabibwa abayizi, era n’abasaba n’okwegendereza ensomesa empya, bagitumbule mu ngeri etayonoona butondebwansi. Ayongeddeko nti kikulu nnyo n’okubangula abasomesa, okubagattako omutindo kw’ebyo bye bamanyi kibayambeko okulinyisa omutindo mu bye basomesa.

Mw. Nantagya Grace, Ssentebe w’amasomero g’Ekkanisa ya Uganda, era omukulu w’essomero lya Mengo S.S asabye Ssaabalabirizi Kazimba bbo ng’abakulembeze b’amasomero, bafunirweyo ekifo we batendekerwa okwongera okubabangula, okubazimba n’okubakumaakuma nga bali bumu. Asuubiza nti amasomero g’Ekkanisa gaakwongera okuyitimuka mu byenjigiriza n’Enkulaakulana.

Ekkanisa ya Uganda erina Amasomero agasukka mu 500 ku mutendera gwa pulayimale, ate n’agasukka 600 ku mutendera gwa siniya.

AMAZAALIBWA GA SSAABASAJJA KABAKA

Abantu ba Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka bakedde ku kkanisa y’ Abadiventi e Najjanankumbi okwetaba ku mukolo gw’Amazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 69.

Omukolo guno gutandise n’okusaba okukuliddwamu Ssaabalabirizi w’ekkanisa y’Abadiventi, Pr. Dr. Moses Ndimukika yakulembeddemu okusabira Ssaabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.

Dr. Ndimukika yeebazizza Beene olw’okusembeza ekkanisa y’Abadiventi ku mwanjo ekyongedde okunyweza obumu mu bantu be.

Ono era agamba nti Nnyinimu akoze kinene okuteerawo abantu be enteekateeka ez’enjawulo eziyambye okubakuuma nga balamu era nga bakulaakulana.

Eyabuulidde ku mukolo guno omulabirizi wa Central Uganda Conference, Pr. Samuel Kajoba era ono yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okukulembeza katonda mu bwakabaka bwe.

Omulabirizi Kajoba era akubiriza bannayuganda okutendereza Katonda buli webabeera kubanga abakoledde eby’ekisa bingi ebyewunyisa nga mwemuli n’okuwangaaza Nnyinimu.

Bw’abadde ayogerera ku mukolo guno, Katikkiro Charles Peter Mayiga asoose kulambululira Obuganda ebikwata ku bulamu bwa Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.

Owek. Mayiga era ategeezezza Obuganda nti obukulembeze bwa Ssaabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bwabibala nnyo era buganyudde nyo abantu be.

Ono bwatyo yeebaziza olulyo Olulangira ne Nnaabagereka olw’okukwatizaako Ssaabasajja Kabaka nga akulembera Obuganda.

Yeebazizza ekkanisa y’Abadiventi olw’enteekateeka y’okujagulizaako Omutanda amazaalibwage n’okulyowanga abantu be emyoyo awatali kukoowa.

Ab’ekkanisa y’Abadiventi era baliko Amakula gebatonedde Nnyinimu olw’okulaga okusiima kwabo wamu n’okuwa Nnaabagereka Sylvia Nagginda ebirabo ebyenjawulo.

Omukolo guno gwetabiddwako ebikonge ebyenjawulo okuli; Nnaabagereka Silvia Naginda, Abalangira n’Abambejja, Abataka Abakulu ab’Obusolya, baminisita mu Gavumenti eya wakati n’eye Mengo, akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Joel Ssenyonyi, omulabirizi w’e Namirembe Moses Banja, Supreme Mufti Sheikh Muhammad Shaban Galabuzi nabakulembeze ku mitendera egyenjawulo.

AMAZAALIBWA GA KABAKA AGE 69

Amazalibwa ga Ssaabasajja agemyaka 69- Oweekitiibwa Kawuki amutendereza okuzimba abavubuka.
Bya Ronald Mukasa
Ng’obuganda bw’eteekerateekera okujaguza amazalibwa ga Nnyimu olunaku olw’enkya ku lw’omukaaga nga 13 omwezi guno, oweekitiibwa Joseph Kawuki minisita wa gavumenti ez’ebitundu, okulambula kwa Kabaka nensonga za Buganda ebweru era nga ye ssentebe w’enteekateeka zamalibwa ga Ssaabasajja Kabaka, attendereza obukulembeza bwa Ssaabasajja bukyanga atuula ku Nnamulondo.

Oweek Kawuki yebaziiza mukama olwokukuuma Beene nokumuwa a magezi na maanyi okusobola okukulembera obuganda,

Oweekitiibwa agamba nti Ssaabasajja yadde ayisse mukusomoozebwa kungi tawanabawo mbeera emuterebula okiviira Dala obutto bwe era nga buno bufuuse essomo eri abantu ba Buganda nabalala.

Minisita Kawuki anokoddeyo ebimu kubyenyumirizibwamu mubukulembeze bwa Beene omulimu eby’obulamu, eby’engiriza, embeera z’abantu, okutumbula olulimi saako nokusoosowaza abavubuka mu mulembe guno ebyongedde okuyitimuka.

Ono era ayogedde ku nkulakulana y’obwakabaka omuli kampuni ezenjawulo, amasomero, amalwaliro ebyongedde ekitangaala mu biseera bya Buganda eby’omumaaso.

Oweekitiibwa Kawuki era ayongedde okukunga abantu ba Beene okusimba emitti egyekijukizo gya mazalibwa gano olunaku olw’enkya.