Ebbugumu lyeyongedde mu nteekateeka z’omwoleso gw’ Eby’obulimi

Bya Ronald Mukasa

Kasana-Luwero

Ebbugumu lyeyongedde mu mwoleso gw’Ebyobulimi ogugenda okuyindira e Bulemeezi okwongera okulaakulanya abantu ba Beene n’okugoba obwavu.

Olwa leero Minisita w’Obulimi,obulunzi, Obwegassi n’Obuvubi, Owek. Hajji Amis Mukasa Kakomo asisinkanye bannamawulire n’abamu ku bategesi b’omwoleso guno.

Omwoleso guno gwakutandika nga 13 June, era Kamalabyonna Charles Peter Mayiga yagenda okuguggulawo ate guggalwewo ku Ssande nga 16 era kino kijja kukolebwa Minisita w’ Akanyigo k’e Luwero Hon Alice Kaboyo.

Minisita Kakomo  asinzidde wano naategeeza nti omwoleso guno gwatandikwa emyaka 3 egiyise n’ekigendererwa eky’okusitula embeera za bantu mu Buganda kubanga bano ebitundu 75 kubuli 100 bali mu bulimi.

Owek. Kakomo Bannaluweero  abasabye okujjumbira obweggasi kuba lyerimu ku makubo agayina okuyitwamu okuzza Buganda kuntiko.

Ono era akunze abantu ba Beene okwetaba mu bungi mu mwoleso guno okubaako byebayiga saako nokugula okuva mu bagenda okwolesa.

Ye Kkangaawo  Ronald Mulondo yeebazizza nnyo Nnyinimu olwokusiima omwoleso gw’omwaka guno negutegekebwa mu ssaza ly’e Bulemeezi bwatyo nakunga Obuganda bwonna okwettanira omwoleso guno.

Omubaka  wa pulezidenti mu disitulikiti ye Luwero Richard Ntulume  akubiriza banna Luwero okwetaba mu mwoleso guno babeeko byebayiga ate babiteeke munkola okusobola okukyusa obulamu bwabwe.

Ntulume alabudde bakyalakimpadde obuteetantala kugenda mu kisaawe ky’e Kasana awagenda okubeera omukolo guno kubanga yenna abakwatiibwako wakukangavulwa.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *