Ekitongole kya Nnaabagereka kisse omukago ne kampuni ya Shuya Sanitary Napkins, baakuyamba abawala ku nsonga z’ennaku za kalema

Ekitongole kya Nnaabagereka kisse omukago ne kampuni ya Shuya Sanitary Napkins, baakuyamba abawala ku nsonga z’ennaku za kalema

Bulange – Mengo

Bya Ronald Mukasa

Ekitongole kya Nnaabagereka Sylivia Nnaginda ki Nnaabagereka Development Foundation kisse omukago ne kampuni enkozi y’ebisabika by’abakyala abali mu nnaku za kalema, eya Shuya Sanitary Napkins okusobola okunnyikiza kaweefube w’okukwatizaako abawala n’abakyala abakaluubirirwa mu kufuna ebyebakozesa nga beekoonye akagere. Enzikiriziganya eno yatuukiddwako lunaku lw’eggulo aba Shuya Sanitary Napkins bwebaakyalidde kitongole kino mu nteekateeka y’okukuza olunaku lw’okwefumiitiriza ku nsonga y’okuzza omukono emabega olukuzibwa mu nsi yonna buli nga 28 omwezi ogw’okutaano.

Bweyabadde ayogera ku lwa Nnaabagereka Development Foundation, Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu n’Ensonga za woofiisi ya Nnaabagereka, Owek. Chotilda Nakate Kikomeko yategeezezza nti abaana bangi basuddewo emisomo gyabwe n’abalala nebeefuumbiza nga tebanneetuuka ng’obuzibu buva ku butakwata bulungi bibasomooza mu nnaku za kalema. Wano wasinzidde n’akkaatiriza nti enteeekateeka eno egenda kutaasa abawala n’abakyala nga bayita mu kubabuulira ku ngeri gyebasobola okwenganga ebibasoomooza nga bazzizza omukono emabega wamu n’okukwatizaako abateesobola mu kugula ebisabika.

Owek. Nakate agamba nti enkolagana eyabagiddwa egenda kunnyikiza kaweefube w’okuwa abawala n’abakyala emirembe nga bali mu nsonga zabwe ez’obutonde n’okukola ebyabwe awatali kutawaanyizibwa mu ngeri yonna. Wano w’asinzidde neyeebaza kampuni ya Shuya Sanitary Napkins olw’okusitukiramu mu nteekateeza za Nnabagereka ez’enjawulo nga muno mwemuli n’eyokulwanyisa endwadde z’omutwe gweyatongoza gyebuvuddeko. Mu ngeri yeemu minisita Nakate asabye bannamikago abalala okusitukiramu bakwatizeeko Nnaabagereka mu kuyamba abaana n’abakyala abasomoozebwa mu mbeera z’okwekoona akagere nga muno mwemuli n’obulumi obungi abamu bwebayitamu

Ku lwa Shuya Sanitary Napkins , Shilah Bitamarinze yeebaza Nnaabagereka olw’okusitukiramu ku nsonga eno era nategeeza nti kaweefube ono bamusuubiramu ebibala bingi naddala eky’okukuumira abaana ab’obuwala mu ssomero.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *