Bya Shafik Miiro
Wankulukuku, Kyaddondo
Buli mwaka, Ebika bya Buganda bivuganya mu mupiira ogw’ebigere okulaba ani atwala Engabo mu muzannyo guno, omwaka oguwedde bazukkulu ba Kisolo ab’Engonge be baawangula Empaka zino.
Empaka z’omwaka guno 2024 zaguddwawo nga 27/04 nga bazukkulu ba Gabunga ab’Emmamba Namakaka battunka ne bazukkulu ba Gunju ab’Obutiko. Omupiira guwedde ggoolo 2:3 nga bazukkulu ba Gabunga bakubiddwa, kyokka balinze ogw’okudingana okusalawo ani ayitawo okwesogga omutendera oguddako.
Kamalabyonna wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga nga yagguddewo Empaka zino atenderezza omutindo ogw’oleseddwa abazannyi, era ategeezeza nti kino kiraga ebibala by’Empaka z’Omupiira gw’Eggombolola ezaakakomekkerezebwa nga zino zaatandikibwawo okuliikiriza empaka z’Ebika n’ezamasaza n’abazannyi ab’omutindo, era mu bazannyi abaasambye omupiira ogwaguddewo, ab’Emmamba n’Abobutiko, abamu ku bbo baazannya ne mu mpaka ez’eggombolola.
Katikkiro era yeebaziza nnyo abawagizi abazze okulaba omupiira ogwaguddewo, n’asaba abantu ba Buganda okujjumbira okugenda mu bisaawe bawagire Ebika byabwe, okusobola okuzzaamu abasambi baabwe amaanyi ate n’okunyweza obumu.
Minisita Robert Serwanga Ssaalongo ow’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone ategeezeza nti empaka z’omwaka guno zisuubirwa okubeera n’omupiira olw’Omutindo ennyo, ng’agamba nti kino kirabikira ku mupiira ogugguddewo. Minisita era ategeezeza nti emipiira giddamu ku lw’okutaano nga 3/05/2024 n’emipiira 16, asabye abantu ba Buganda okuwagira Ebika byabwe mu ngeri yonna esoboka.
Emipiira egiddako gigenda kubeera ku bisaawe bina okuli eky’e Kawanda, Old Kampala, Lubiri SS ne mu Lubiri e Mengo, emipiira gino gyakukomekerezebwa nga 8/06/2024.