Empaka z’Omupiira gw’Ebika zigguse, za Lwamukaaga luno

Bya Shafic Miiro

Bulange – Mmengo

Olukiiko lw’abakulembeze ba ttiimu z’Ebika bya Baganda lutudde ku Bulange, okwongera okutunuulira enteekateeka ng’empaka zino bwezinabeera naddala nga ziweza emyaka 50 kati bukyanga zitandika.

Mmamba Gabunga baggulawo n’Obutiko mu mupiira gw’abawala ogw’okubaka nga 20/04/24 n’okubaka ku Kisaawe kya St. Lawrence University era outunka mu kubaka kumala ennaku 7 olwo omupiira ogw’ebigere gutandike nga 27/04/24.

“Emipiira gy’Ebika gyongera okutegeeza abantu nti Obuganda bika era abazannyi n’abantu bangi bafuna omukisa okumanyagana n’okunyweza obumu” – Oweek. Sserwanga – Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Oweek. Robert Serwanga Ssaalongo.

Minisita ategeezeza nti Empaka z’omulundi guno zigenda kubeera n’ebyenjawulo bingi ddala, era ttiimu n’abazannyi ssekinoomu abanaasinga ku balala, bajja kufuna emiganyulo mingi.

Ssentebe w’Olukiiko oluteekateeka Empaka zino Oweek. Hajj. Sulaiman Magala yeebaziza abakulembeze ba ttiimu olw’amaanyi ge bateekamu okulaba nga empaka zino zitambula bulungi, era abasabye engeri gye bamaze okufuna amateeka n’ensengeka z’enzannya zonna, bakole ekisoboka okulaba nga emizannyo gyonna bagyetabamu.

Abakulembeze ba ttiimu ez’enjawulo, buli omu awaga okuteekawo omutindo ogw’amaanyi okusobola okuwangula Engabo y’Omwaka guno naddala nga mu ngeri ey’enjawulo Emipiira gy’Ebika giweze Emyaka 50.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *