Bya Ssemakula John
Wankulukuku – Kyaddondo
Ekika ky’ Engabi ensamba kisitukidde mu ngabo y’Ebika by’ Abaganda ey’omwaka 2024 oluvannyuma lw’okukuba Empindi ggoolo 1-0 mu mpaka z’akamalirizo ezinyumidde abangi mu kisaawe e Wankulukuku ku Lwomukaaga.
Ggoolo ewadde Engabi obuwanguzi yateebeddwa Vianne Ssekajugo mu kitundu ky’omuzannyo ekyasoose.
Bw’abadde ayozaayoza ab’Engabi Ensamba olw’obuwanguzi buno, Katikkiro Charles Peter Mayiga yeebazizza Ebika ebyenjawulo ebyetabye mu mpaka zino nakakasa nti kino kyongedde okugatta abazzukulu wamu n’okuzuula ebitone.
Katikkiro Mayiga akinogaanyizza nti empaka bweziti ziyamba abantu okulaakulana awamu n’okuwa obuyiiya omukisa mu ngeri ez’enjawulo.
Ono yeebazizza bannamukago aba Airtel olw’okuwagira empaka zino n’okuwa abalina ebitone omukisa okubyoolesa.
Akulira bakitunzi mu kampuni ya Airtel, Ali Balunywa ayozaayozezza ttiimu empanguzi na bonna abeetabyemu olw’okwolesa ebitone, obumalirivu wamu n’obujjumbize mu mpaka zino era neyeeyama okwongera okuyamba enteekateeka bweziti ezizingiramu abavubuka.
Balunywa aweze nga omukago gwabwe ne Buganda bwegujja okugenda mu maaso okwongera okuzimba ebitone, okusanyusa abantu b’Omutanda ate okukola kyonna okulaba nti babeera balamu.
Empaka zino zaabadde zizanyibwa omulundi gwa 50 era omuwanguzi yaweereddwa obukadde 9 ate eyakutte eky’okubiri naafuna obukadde musanvu (7) ate olwo ow’okusatu naafuna obukadde 5.