Kamalabyonna Mayiga akubirizza abantu obutaggwamu ssuubi basobole okuwangula

Kamalabyonna Mayiga akubirizza abantu obutaggwamu ssuubi basobole okuwangula

Bya Ronald Mukasa

Munyonyo  –  Kyaddondo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asabye abantu bulijjo obutaggwamu ssuubi bwebaba baagala okusigala nga bagenda mu maaso basobole okutuuka ku buwanguzi.

Entanda eno Owek. Mayiga agiwadde Banna Rotary abakung’aanidde ku Speke Resort e Munyonyo ku Lwokutaano  bw’abadde aggulawo olukung’aana lwa ‘District 9213’ olw’omulundi ogw’e 99.

“Ekimu ku bintu ekitulemesa okubaako byetuwangula butaba na ssuubi ate oluusi bwoba olirina  nerikuggwamu. Essuubi ndyogerako ng’ amafuta agakukuuma nga weeyogerayo wadde nga olina ebikusomooza,” Owek. Mayiga bw’ategeezezza.

Katikkiro Mayiga  annyonnyodde nti omuntu asobola okuwangula ensi bulijjo  yooyo asobola okwang’anga ebimusomooza nabifunira eddagala awatali kuggwamu ssuubi.

Ono yeebazizza Banna Rotary olw’okuyamba abantu okufuna essuubi nga bayita mu nteekateeka zabwe ez’enjawulo nga zino kumpi zeezimu n’Obwakabaka bwa Buganda.

Mu bino mulimu  okulwanyisa mukenenya, okugaba omusaayi, okulwanyisa Kkookolo,  n’okutaasa Obutonde Bw’ensi.

Ye Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, alaze enteekateeka z’Obwakabaka nga, emmwanyi terimba bwezikulaakulanyizza abantu era ekyo Buganda kyeyagala.

Ye Gavana wa ”District 9213′ Edward Kakembo Nsubuga asabye abantu okufaayo ku nteekateeka y’omwana omulenzi amaanyi baleme kugamalira ku baana ba buwala okusobola okukyuusa ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso.

Olukung’aana luno luyindidde wansi w’omulamwa ogugamba nti, ‘Tukuume essuubi bulijjo’ nga luno lwetabiddwamu Banna Rotary ku mitendera egy’enjawulo.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *