Mu bubaka bw’atisse Oweek. Patrick Luwaga Mugumbule amukiikiridde mu lukungaana lwa Phytoscience ku Hotel Afticana, Katikkiro asiimye ennyo enteekateeka bano gye balina ey’okujjajanbisa obutonde, bwatyo n’asaba abantu okwongera okugyettanira.
Phytoscience kitongole ekisimbye emirandira gyakyo mu Ggwanga lya Australia gye kyatandira, wabula nga kati kisaasaanidde amawanga 42 mu Ssemazinga ez’enjawulo. Mu Uganda kyakamalamu emyaka 8 okuva lwe kyagunjibwawo mu 2016.
Omulimu omukulu gwe bakola kwe kukola n’okutunda eddagala eriggyibwa mu miti, mu birala n’ebintu ebirala eby’obutonde. Essira basinze kuliteeka mu kujjanjaba endwadde ezitasiigibwa nga Nnalubiri, Sukaali, Kkookolo n’endwadde endala era eddagala erisinga balifulumiza mu ngeri ya buwunga era okusinga linuunibwa.
Katikkiro asabye abali mu mulimu gw’okujjanjaba abantu okussa eriiso ku nzijajaba eno ey’obutonde kubanga esobola okuyambako okukomya endwadde ezitasiigibwa. Asabye abakola eddagala lino okukuumira eddagala lino ku miwendo egisoboka olwo abalyetaaga basobole okuliganjulwamu. Abawadde obweyamu b’Obwakabaka okuwagira enteekateeka zaabwe.
Omuky. Datin Sri Ela Tan omu ku batandisi n’ekitongole kino asiimye nnyo Obwakabaka olw’okuwagira enteekateeka yaabwe, era asabye abantu obutalinda ndwadde kubanafuya, wabula okufaayo okukuuma emibiri gyaabwe nga miramu bulungi, yeebazizza Ensi za Africa olw’okujjumbira enzijanjaba ey’obutonde.
Omukiise w’ekitongole kino mu Uganda Omw. Ahaisibwe Martin asanyukidde obuwagizi obubasuuboziddwa Obwakabaka, n’ategeeza nti baakwongera okutuusa obujjanjabi obulungi ku Bannayuganda obutakosa bulamu bwabwe.Olukungaana lwetabiddwamu abantu okuva mu Mawanga ag’enjawulo okuli ekitongole kino nga; Ghana, Canada, Nigeria, Sudan n’amalala.