Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza bboodi y’ekitongole ky’ebyobulambuzi mu Bwakabaka ki Buganda Heritage and Tourism Board (BHTB) okwongera okutumbula emirimu gy’Ebyobulambuzi naabasaba okufaayo ku nzirukanya y’emirimu bulijjo.
Bboodi eno Kamalabyonna agitongolezza ku mbuga enkulu e Bulange e Mmengo ku Lwokusatu nga kati olukiiko olupya lugenda kutulwako abantu 12 balamba nga lwakulirwa Omuk. Benon Ntambi.
Bw’abadde abakwasa obuvunaanyizibwa , Mukuumaddamula abakalaatidde okuteeka amaanyi gabwe ku bintu ebikulu bina (4 ) ng’ekisooka kwekutereeza enzirukanya y’ekitongole kino kiddukanyizibwe mu ngeri ey’ekikugu emirimu gitambule bukwakku.
Kuno kwaggase okutondawo enkola enaasikiriza abalambuzi eggwanika lya Beene liyingize ensimbi, bakole buli kimu okuzimba Ekkaddiyizo ly’Obwakabaka mu bwangu ddala era batereeze ne Wankaaki wa Twekobe kubanga embeera mwali tesanyusa so nga abagenyi wano webatuukira.
Ow’omumbuga era asabye aba bboodi empya okubeera abayiiya n’okukola obutaweera okulaba ng’ekitongole kino tekibeera bubeezi na linnya wabula kituukirize emirimu egigasa Obwakabaka n’abakozi baakyo olwo kikulaakulane.
Owek. Mayiga bano abategeezezzza nti bboodi nkulu nnyo kuba yeelaga engeri emirimu gyegitambulamu.
Ono annyonnyodde nti Buganda erina enkizo ku nsi endala mu nsonga z’ebyobulambuzi naddala ebyafaayo ebikwata ku Buganda kuba bino si byakupangirira kuba buli kimu kirambulukufu.
Alambuludde nti Buganda okusobola okufuna ekimala mu by’obulambuzi birina kuteekebwateekebwa bulungi bwatyo neyeebaza bboodi enkadde olw’omulimu ogukoleddwa.
Minisita w’ebyobulambuzi mu Bwakabaka, Owek. Anthony Wamala yeebazizza omulimu ogukoleddwa bboodi enkadde era neyeeyama okukolagana obulungi n’olukiiko oluggya.
Ye Ssentebe wa bboodi empya era nga yabaddeko, Omuk. Benon Ntambi kulwa banne aweze okuweereze Kabaka awatali kwebalira wadde okwekwasa nsonga yonna.
Omuk. Ntambi asuubizza okubaga amakubo aganavaamu ssente, naasaba bakwasibwe Amasiro gatandike okulambulwa abantu.