Katikkiro Mayiga agumizza Obuganda ku bulamu bwa Nnyinimu, agamba Kabaka obutabeerawo kibasomooza naye tekirina kubalamu maanyi

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga ategeezezza abakiise b’Olukiiko nti embeera ya Kabaka okubeera ebweru w’eggwanga ebasomooza naye ate tekirina kubamalamu maanyi wabula balina okukola ennyo waddira basobole okuwoza olutabaalo.

Obubaka buno Katikkiro Mayiga  abuweeredde mu Lukiiko olw’omulundi ogwa 31, Olutuula olw’okubiri  mu Bulange e Mmengo bw’abadde ayogera ku mbeera nga bweyimiridde mu Bwakabaka ku Mmande nga lubadde lukubirizibwa Sipiika Owek. Patrick Luwaga Mugumbule.

” Nga 21 March,  Ssaabasajja Kabaka yagenda e Bulaaya okulaba abasawo be. Abasawo baali beetaaga okwongera okumwekebejja  nga abali kumpi n’okulondoola obujjanjabi bwatyo naatasobola kudda mu budde.  Ssaabasajja ajja kudda ng’abasawo naye yennyini bamatidde nti essa kwatuuse mu bujjanjabi lisaanidde akomewo,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga, Kabaka ke kabonero akagatta  Buganda ne Uganda yonna era y’ensonga lwaki bannabyabufuzi n’abakulembeze b’enzikiriza ez’enjawulo balabiddwako emirundi egiwera nga bakiika embuga.

Kamalabyonna Mayiga agamba nti ensonga lwaki balemedde ku kusaba Federo kwekulaba nti Buganda ekulira wamu n’ebitundu ebirala era naakakasa nti mu bbanga eriyise ekitiibwa kya Buganda kyongedde okulinnya.

Ku nsonga y’ebyobufuzi, Ow’omumbuga  asabye gavumenti eyimbule abasibe abaasibwa olw’ebyobufuzi bwekiba ng’obujulizi obubalumiriza bubuze. Ono agamba wadde nga abasibe bano baabateekako emisango gy’obutujju, ye alaba nga abaasibwa olw’ebyobufuzi era ategeezezza nti awagira kaweefube yenna aluubiriddwamu okubawa eddembe lyabwe.

Owek. Mayiga asinzidde wano naasekerera  bannabyabufuzi abavuma bannabwe bebatakkaanya nabo nabategeeza nti eky’okwewebuula tekirina gyekibatwala era abasabye bawuliziganye ku buli nsonga ate bategeeragane.

Ku nsonga z’omusolo ezigulumbya bannayuganda, Katikkiro Mayiga asabye ekitongole ki URA okubaga enkola ennambulukufu egobererwa mu kukungaanya omusolo abantu basobole okuguwa awatali kukakibwa era mu bwerufu ne bannansi balaba emiganyulo gyagwo nga  babakolera enguudo.

Kamalabyonna era ategeezezza Olukiiko nti waliwo amasomo agasaana okuba ag’obuwaze mu masomero kisobozese abaana okuteekebwateekebwa obulungi. Muno mulimu, aga Tekinologiya, ennimi ennansi, eby’obulimi n’ebyafaayo.

Ono alaze essuubi bw’annyonnyodde nti ebitundu 95 ku 100 ku nsimbi zebaalina okukungaanya okusinziira ku mbalirira y’omwaka guno.

Mukuumaddamula ayozaayozezza Abaami ba Kabaka ab’Amasaza abaggya olw’okulengerwa Beene era n’abasaba okutambulira awamu n’Abaami abali wansi wabwe okuli ab’Amagombolola, ab’Emiruka, Abatongole n’abalala basobole okutuukiriza obulungi obuweereza bwabwe. Mu ngeri yeemu Kamalabyonna yebazizza Abaami ba Kabaka abaawumudde olw’ettoffaali lyebaateeka ku Bwakabaka. 

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *