Katikkiro Mayiga asisinkanye akulira Nation Media Group mu ggwanga, atenderezza omulimu gw’Amawulire

Katikkiro Charles Peter Mayiga  alaze obukulu bw’amawulire g’agambye nti gakola kinene nnyo okukulaakulanya ensi.

Obubaka buno Kamalabyonna Mayiga abuweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde asisinkanye akulira Nation Media Group, Susan Nsibirwa n’abakungu bakampuni eno abalala.

Owek. Mayiga ategeezezza nti gano gayamba okumanyisa abantu ku nteekateeka eziyinza okubayamba okwebulula mu bwavu nga okulima emmwaanyi n’obukugu ekisobola okuyamba okugattako ku mutindo.

Ono annyonnyodde nti amawulire era gayamba kinene okumanyisa abantu emirimu nga bwegitambula mu bitongole bya Gavumenti omuli, essiga edamuzi,  Paalamenti n’essiga effuzi.

Katikkiro Mayiga abasabye basoosowaze Obwakabaka olwo lwebajja okwongera okuganja kubanga bizineensi olupapula lwa Monitor zelufuna zisinga kuva mu Buganda, n’abasomi baamawulire basinga wano mu Buganda.

Abakuutidde okunyweza obwetengereze mu mpeereza yaabwe awatali kyekubiira era bawe buli muntu omwagaanya atuuse obubaka bwe.

Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek Israel Kazibwe Kitooke, abasabye bongere okusoosowaza amawulire g’Obwakabaka kubanga abasomi basinga wano.

Ye Ssenkulu wa Nation Media group, Susan Nsibirwa, agamba nti bazze n’ekigendererwa ekyokweyanjula embuga ba bamanye era basseewo enkokagana ennywevu kibanguyize mu buweereza bwabwe.

Ku bugenyi buno ono abadde awerekeddwako akulira Bboodi ya Nation Media, Samule Ssejjaaka n’abaweereza mu bitongole byabwe ab’enjawulo era bano baliko nebirabo byebatonedde Kamalabyonna.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *