Katikkiro Mayiga asisinkanye Ssaabalamuzi Owiny -Dollo, awagidde okukozesa enkola ennansi okugonjoola obutakkanya

Bya Francis Ndugwa

Kampala – Kyaddondo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asisinkanye Ssaabalamuzi Alfonse Owiny- Dollo nebakubaganya ebirowoozo ku kugunjaawo enkola ennansi mu bitundu ebyenjawulo okusobola okuwa abantu obwenkanya n’okumalawo omujjuzo gw’emisango mu kkooti.

Ensisinkano eno eyindidde mu woofiisi za Ssaabalamuzi mu Kampala ku Lwokubiri era beewadde amagezi ku ngeri ki esaanidde okutuusa obwenkanya mu bantu era nebeeyama okugiwagira.

“Tuwanyisiganyizza ebirowoozo ku ngeri gyetuyinza okweyambisa enkola eyaffe ennansi okugonjoola embiranye ezibeera mu bantu, okutabaganya ababeera basowaganye nga tweyambisa enkola eziri mu nnono n’obuwangwa bwaffe nga ebitaawuluzi n’Eggombolola newabaawo okukkaanya,” Katikkiro Mayiga bw’agambye.

Owek. Mayiga ategeezezza Ssaabalamuzi nga Obwakabaka bwebulina embuga ya Kisekwa okugonjoola enkayana mu Bika nga singa enkola mu mateeka  ebala bino nti bituufu era bikkirizibwa zijja kuyamba okumalawo omujjuzo oguli mu kkooti kuba emisango mingi egy’amaka n’ettaka zisobola okuggwerayo kuba enkola eno yaliwo mu Buganda.

Okusinziira  ku Katikkiro Mayiga, kasita abantu abanaakwasibwa obuvunaanyizibwa ku bitaawuluzi banaabera  abeesigwa era abantu balamu enkola eno ejja kuyamba okuteekawo okutabagana n’okuteekawo omusingi omugumu ogw’enkulaakulana.

Ayozaayozezza ekitongole ekiramuzi olw’okufuna amaka agajja nategeeza nti okugaba obwenkanya n’ensonga z’amateeka tebikoma ku kugataputa naye n’embeera abalamuzi ne bannamateeka mwebakolera omuli n’ebizimbe nayo nsonga nkulu nnyo.

Ye Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo ategeezezza nti ekizibu ekiriwo kati kwekuba nti buli muntu addukira mu kkooti ayagala kuwangula era oyo gwawangudde amuleke ku ttaka  nga amusanyizzaawo naye enkola eno yaleetebwa bazungu abafuzi b’Amatwale.

Ssaabalamuzi Owiny Dollo ategeezezza nti  okunoonyereza kulaga nti emisango 5 ku buli 100 mu ggwanga lyonna gyegisobola okuleetebwa mu kkooti olwo abantu bangi balemwa okufuna obwenkanya olw’emisango okukandaalirira, kkooti okubeera ewala, abalamuzi okubeera abatono n’ensonga endala eziwerako.

Wano wasinzidde nategeeza nti eggwanga lyetaaga okubaawo enkola eyinza okuyamba abantu kuba wansi mu byalo batandikawo enkola ey’okugezaako okuteekawo obwenkanya nga kati kyebaagala okukola kwekulaba nti bagitongoza bayambeko buyambi okubalung’amya ku ngeri gyebayinza okutambulamu abantu bafune obwenkanya.

Owiny Dollo annyonnyodde nti enkola eno egenda kutandikira mu Buganda, Lango ne Acholi nga eno singa enaakola bajja kugitambuza okutuuka mu bitundu ebirala.

Ensisinkano eno yeetabiddwamu Ssaabawolereza Christopher Bwanika ne Minisita w’Amawulire n’Okukunga abantu, Owek. Israel Kazibwe Kitooke n’abakungu abalala.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *