Kinyomo

Totem | |
---|---|
Akabbiro | |
Clan Leader | |
Estates | |
Ssaza | |
Omubala Clan (motto) | |
EKIKA KY’EKINYOMO – KYASA BUDDU
EBYAFAAYO EBITONOTONO KU NTANDIKWA Y’OMUZIRO N’AKABBIRO
Edda ennyo wano mu Buganda waaliwo ebika 6 byokka. Naye ebirala byagenda bitondebwawo. Era abantu muno baayitibwanga Bawawa mu Nsi eyitibwa Muwawa. Kabaka Kintu yatandika okufuga Obuganda nga amaze okuwangula Bemba Musota. Kintu yagunjawo enfuga nga akunze Abataka abaali bakulembera Abaganda abaali beegatidde mu bika byabwe eby’enjawulo n’Olukiiko olwo lwatuula ku kyalo Nnono. Enteekateeka y’obukulembeze bwa Buganda n’ekkanyizibwako okutambulira wansi wa Kabaka Omu ng’ayambibwako Abataka abakulembera abazzukulu obutereevu.
Edda omuntu kyeyakolanga kyamutumisanga erinnya na bwekityo Jajjaffe omuberyeberye Ddege yali Muyizzi nnyo nga ayambalira ekide ekinene ennyo oba Endege ennene nga agenda okuyigga, erinnya Ddege kwe lyava.
Mu myaka gya 1374, Kintu Kabaka, yali azadde omwana Chwa Nabakka mu mukyalawe Nnambi Nattutululu, Olwo Kintu yali yamala okujja omukono mu ngabo nga alese omwana omu yeyasikira Engoma. Chwa Nabbakka naye yazaala omwana omulangira Kalemeera. Kalemera oyo n’ayagala nnyo Kitaawe buli weyaddanga yatuuka okwetamwa omwanawe nga amulunda nga Mbuzi, kwe kumwegobako namuwayiriza omusango nti yayagala muka Katikkiro we. Okukakkana nga bamusalidde omusango gwa kuliwa Enkumbi atere agende okupakasa (enkumbi) amuviire. Mu kiseera ekyo Enkumbi zaawe sebwanga Bunyolo. Omulangira Kalemeera teyalina kya kukola kwe kugenda e Bunyolo apakase amale ogwa Naggomola. Bweyali agenda, waaliiwo ebika ebimu ebyamuwerekerako ne Jjajja waffe Ddege mweyagendera. (Yongera okusoma ku Kalemera mutabani wa Nabbaka Chwa.)
Olwo Jjajja Ddege nga wa “Mutima” era nga bagweddira nga bakakasa nti si kituufu okulya “Ensolo n’obulamu bwayo” nga bamanyi obulamu bubeera mu mutima akabbiro Mawuggwe. Bajjajja babeera e Bunyolo naye olwali olwo nga bagenda okuyigga. Ddege yali alwaddemu omusujja, bweyadda ekyeggulo teyalya. Enkeera baddayo okuyigga, akawungeezi bwe yadda enjala yali emuluma nnyo. Olwembi, okukebera ku mmere yaabwe gyebali baterese, nga ejjudde Ebinyomo. Banne nga bagaana okulya ye enjala yali emuluma nnyo nga agamba banne yadde mwe mugaanye okulya nze njakumala galya kubanga enjala ennuma nnyo. Ye Abanyolo nga babirya! Yabigobagobamu nga alya naye era nga alumizibwa. Bwebadayo okuyigga omulundi omulala nayawukana ku banne era n’abula ku banne. Bayizzi banne nga banoonya mu ttale lyonna ng’abula, banoonya nnyo ng’era ababuliddwako munnaabwe naye nga buteerere. Baanonyeza ekiseera kiwanvu nga talabikako ne basuubira nti Ensolo yamulya naye tebaalaba weyamuliira. Oluvanyuma lw’ekiseera ekivanvuko baasanga eŋŋumbagumba nga ennyama yaggwako dda nga Ebinyomo bimusokodde buli Kanyama mu Magumba. Nga bagamba kitalo Ebinyomo byebyavaako okufa Kwa Taata /Jjajja waffe. Yabiriira mu mmere ate kati kye bivudde nabyo bimutta ne birya okumumalako enyama. Ne kiva mukumanya okwo ne balangirira nti “okuva leero abaana baffe n’abazzukulu Ekinyomo, kyafuuka Muziro era Akabbiro nekasigala nga Mutima”. Abanyuma mwenna temulyanga Ekinyomo. Abalala balye naye Abanyuma temugezanga kulya Binyomo.
Akabbiro;
Abanyuma twasigaza Omutima nga Akabbiro okusigaza akalandira n’akakwate ku Mutima kwetwakutuka era kiwanuuzibwa nti Ba Jjajja ffe bakakasa nti obulamu bwe nsolo ezayigibwanga “Gwe Mutima gwaazo”! Era ne bawanuuza nti si kituufu okulya “ensolo n’obulamu bwayo” nga bamanyi obulamu bubeera mu mutima. Akabbiro kaffe nekasigala nga Mutima.
Ekika ky’Ekinyomo kyafuna obuzibu bungi kumpi kusaanawo abamu bwe bagenda mu Mbogo olw’obukalakalaba nga banoonya ebitiibwa, obwami, obugagga n’ebirala.
Omuwandiisi omu yawandiika nti Ekika kye Kinyomo kyawanduka ku Mbogo, si kituufu. Wabula Ekika ky’Ekinyomo kyali kibulidde mu Kika kye Mbogo, okufananako ne bika ebirala. Twebaza nnyo abasajja enjassabiggu abaakirwanirira. Katonda abawe omukisa. Kiba kya kabi nnyo okusanyaawo ekyatondebwa Katonda, anti mujjukira e ggwanga lya Israel bweryakunta n’entalo era neriddawo.
Abakugu mu byafaayo batugamba nti mu engeri esinga okuba ennungi Kwekuwandiika Ebyafaayo. Kyongera nnyo okubyagazisa ababisoma n’okubamatiza nti mu kusoma Ebyafaayo “si kibonerezo wabula kubayigiriza n’okubajjukiza”.
Omutaka Omukulu w’Ekika ye Omutaka Nakigoye, Aliko mu kiseera kino ye Omutaka Nakigoye,Nabbimba Lukabya Samson (18)
ERINNYA ‘NAKIGOYE’:
Ddege na baanabe bwe baatandika okuvubira e Bugoma, Batandika okuyiiya okulanga emiguwa ng’abafuna ebiwuziwuzi ebiva mu biboobo ebibeera munda ne babirangamu emiguwa gyebeyambisa okusika emitego mu nnyanja. Edda ennyo emiguwa baagiyitanga “Emigweye”. Abatuuze be basanga e Bugoma ne bagamba nti wali waliwo abakola Emigoye ejivuba. Wewaava n’omwalo neguyitibwa “Mugoye” ne “Ddege” natuumwa “Nakigoye” nga Abatuuze bebalimutuuma
Obutaka buli Kyasa mu Buddu, Ggombolola ye Kyannamukaaka, Masaka Disitulikiti
Ab’eddira Ekinyomo bayitibwa BANYUMA
OMUBALA:
Yaaa! Kababembe*2, Alinyaga Ente Omutima Talirya; Mabanja Mpaawo Aligamala. Neguvvunulwa nti” Bw’onyaganga Ente omutima tolyanga! Kabbabembe kigambo kyazimba nga kiddumira Jje lya Nakigoye nga bw’onagamba nti Aboojjo oba Abaana.
AMASIGA AGALI MU KIKA
Mu Kinyomo mulimu Amasiga 13 nga bwegalagiddwa wammanga;
ESSIGA
Ow’essiga aliko
Embuga
1
MUWAWU
Kigoye DEO
Kitengeesa
2
KAGEZI
Ssekabira Joseph
Katinyindo
3
KALINZI
Noordin Senyomo
Kyassa
4
KAGOGWE
Kagogwe David Livingstone
Butale
5
KANAGWA
Muwawu John C
Kyajubira
6
KAWANAKU
Brian Kagezi
Nninzi
7
NSANGA
Fulgensio Muwawu
Nsangwa
8
BITIINO
Sam Kataza
Kyamula
9
KIBUNGA
Cosma Kyeranga
Zirizi
10
TABAALO
Ntambazi Livingstone
Lumbugu
11
MUTUNGA
Bbuka Zikusooka
Matanga
12
BUKKA
Bosco Mugendawala
Bugera
13
NSI
Kamya Richard Domazo
Bugera
Omulimu gw’Abanyuma mu Lubiri;
1. Nazzikno nga omulimu gwaffe Abanyuma mu Lubiri kwe kuwoola akaba ka Kabaka nga akisizza omukono; Omulimu guno gwayanguwanga nnyo olw’okuba nga Abanyuma tweyambisanga “Ekinyomo” (Nnyomo) Enju y’Ebinyomo okuwoola Akaba ne kasigala nga katemagana nga Mukene. Kabaka bweyakisanga omukono, nga Omutwe gwawulibwa ku kitundu ky’omubiri gwe n’egukolebwako emikolo era neguterekebwa bulungi mu Masiro; Ebiseera bwe byagenda bikyuka empisa eno yadibizibwa ku Mulembe gwa Ssekabaka Mukaabya, Muteesa I.
2. Mu mwaka gwa 2011, ku mulembe guno OMUTEBI, Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yasiima Okutuwa omulimu omulala ogw’okukuba “Eŋŋoma Buganda Bumu” buli lwalabikako eri Obuganda. Omulimu guno yagukwasa ebika bisatu omuli; Ekinyomo, Embogo n’Enkusu, tweyanzizza nnyo ayi Bbeene.
AMANNYA G’ABEKINYOMO
No
ABALENZI
ABAWALA
No
ABALENZI
ABAWALA
1
Kigoye
Nalugoye
23
Lukabya
Naluku
2
Muwawu
Namuwawu
24
Kibunga
Nalaaki
3
Kalinzi
Nakalinzi
25
Ntumwa
Nantumwa
4
Ssenyomo
Nanyomo
26
Mutunga
Namutunga
5
Kagoggwe
Nakagogwe
27
Kagezi
Nakagezi
6
Kasozi
Nakasozi
28
Ssekoojo
Nakoojjo
7
Ntambaazi
Nantambaazi
29
Luwojwa
Nakagezi
8
Kanyaga
Nakanyaga
30
Kyassanga
Nakyaassa
9
Kayiki
Nakayiki
31
Kanene
Nakalembe
10
Ssebanyuma
Nabanyuma
32
Kagene
Nakagene
11
Munyumansi
Namunyumansi
33
Lubandi
Nalubandi
12
Lwenswa
Nalwese
34
Ntumwa
Nakawojwa
13
Ssendago
Lwandago
35
Nabwojjo
Nabiiki
14
Mugoye
Namugoye
36
Ssekoojjo
Nabbittino
15
Ssekigoye
Namugoye
37
Kalemba
Nakawanaku
16
Bulemba
Nabulemba
38
Lukooba
Nakalemba
17
Kabbalu
Nakabbalu
39
Kyassa
Nakyassa
18
Lwegeya
Nalwegeya
40
Mpama
Nampama
19
Lwegaba
Nalwegaba
41
Kasaalu
Nakassalu
20
Lujjayo
Nanseko
42
Katayomba
Nantayomba
21
Luswalula
Namyenya
43
Ggwantamu
Nalatoogo
22
Kinyago
Ndagano
44
Ntamu
Nantamu
45
Semuyiki
Nantumwa
53
Tebasoboke
Nagwantamu
46
Ssebiyiki
Nakabanja
54
Musambante
Namusambante
47
Sekalinzi
Nalutta
55
Kwera
Nakkwera
48
Sserutta
Nakasuuguti
56
Ssewandigi
Nawandigi
49
Kasunguti
Nakiberege
57
Sekabira
Nakabira
50
Kiberege
Nanseko
58
Basinge
Nabasinge
51
Ssenseko
Nalutoogo
60
Lutta
Nakawuwu
52
Kawanaku
Namasinga
61
Ssebiyiki
Nakanyuma
62
Kawule
Nakawule
63
Ssemuyiki
Namuyiki
64
Mweyunangabo
Nakanyagga
65
Ssekanyagga
Nakanyomo
66
Kanyomo
Nabinyomo
67
Ssebinyomo
Namuyiki
68
Ssemugoye
Nabiyiki
69
Sekayiki
Namwanda
70
Bitiino
Nabitiino