Ngeye (Colobus Monkey)

Totem | |
---|---|
Akabbiro | |
Clan Leader | |
Estates | |
Ssaza | |
Omubala Clan (motto) | |
EKIKA KY’ENGEYE MU BWAKABAKA BWA BUGANDA
Engeye kika kya byafaayo nnyo mu Bwakabaka bwa Buganda; olw’ensonga nti kye kimu ku bika omukaaga binnansangwa(Engeye,Effumbe,Olugave,Ennyonyi ne Enjaza).Ate kiyinzika okuba nti ekika ky’engeye kyekyasooka ebika byonna kubanga abantu abasooka mu nsi eno Buganda ng’ekyayitibwa Muwawa,baali bayitibwa Abalasangeye. Bakabaka abateeberezebwa okuba nga bafuga ensi Muwawa nga Kintu tannajja bawerera ddala 101,nga Bemba Musota ye yasembayo mu luse olwo.Kati oluse lwa Kintu lwe tulimu,lwakaweza Bakabaka 36 ng’obalidemu ne Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II.
Ebyafaayo by’ekika ky’engeye mu bufunze:
Engeye Kasolo akafaananako enkima naye ko keeru nnyo atenga kayonjo nnyo.Engeye etambulira nnyo waggulu mu matabi g’emiti emiwanvu mu bibira ebikwafu.Era engeye tetera kukka wansi wabula okubeera nga yekyanga,era kuno era nebwekka negwa eringa bwolaba ebinyonyi bwe byeetala ku muti nga birya entontogolo. Kumbeera eno,Abaganda kwe baggya enjogera oluvanyuma eyafuuka omubala gwab’engeye:Oguvuga nti “TATUULA,TATUULA ASUULUMBA BUSUULUMBI”
Engeye okufuuka omuziro:-
Engeye, teyakoma kulabika bulungi kyokka naye n’okuwooma ewooma okukamala. Abalasangeye baayigganya nnyo engeye olw’enyama yaayo ewooma okukamala,ate n’okugifunako amaliba,abantu ge bettaniranga okwambala.Kati ekiseera kyatuuka nga buli agenda okuyigga amaanyi ge gonna agamalira ku Ngeye. Kino kye kyaviirako abakulembeze ab’ennono mu budde obwo(Obwabalasangeye) okuyisa ekiragiro ekiziyiza abayizzi b’ensolo z’omunsiko okulekera awo okutta engeye .Era Abalasangeye,akasolo kano,engeye,nebakafuula omuziro abantu balekere awo okukalya.Kati okuva ku mulembe ogwo ogw’abalasangeye abaali mu nsi Muwawa nga tenafuuka Buganda,engeye n’efuuka omuziro gwab’eddira engeye.Ku muziro guno,baalonderako akanyonyi Kkunguvu ng’akabbiro kaabwe.
Omutaka omukulu w’akasolya:-
Abeddira Engeye ffenna,tusibuka mu Bakazilwendo Ssemmandwa ng’obutaka bwe,buli Bumpenje mu Busiro. Lule Kyesimba eyafuuka Kasujja ow’olubereberye,obukulu obwo yabulya nga ne kitaawe Bakazilwendo ng’akyali mulamu oluvanyuma lw’okufuna obuganzi obwamaanyi Kabaka Kimera Lule kyesimba eyali omusawo omukenkufu mu kujjanjaba omusujja.N’olwekyo yajjanjaba nnyo omulangira Kimera nga bava e Bunyoro. Kaakati oluvanyuma lw’okulya obwakabaka,Kabaka Kimera yayagala nnyo Lule Kyesimba amubeere ku lusegere, asobole okumujjanjaba omusujja.Awo Bakazilwendo kwe kumuwaayo agende abeere kumpi ne Kabaka Kimera namuweerako n’obukulu bw’okulembera ekika ky’engeye.Bakazilwendo yasigala e Bumpenje nga Jjajja w’ekika ky’engeye,ate Lule Kyesimba,Kabaka Kimera yamuwa obutaka e Zibaala mu Busiro gye yatandikira okukulembera ekika kyengeye.Kati Obutaka obwo bwatuumibwa erinnya Busujja. Kabaka Kimera, ye Kabaka ow’okusatu okuva ku Kabaka Kato Kintu, nga yakulembera Obuganda wakati w’omwaka 1374 ne 1404.
Obukulembeze mu kika ky’engeye:-
Obukulembeze obw’oku Kasolya mu kika ky’engeye butambulira mu mutuba omulangira ogwa Kalutte nga gwe guva mu abalya obwa Kasujja.Omutuba gwa Kalutte gwe gumu ku mituba esatu egyetuukira ku Busujja. Emituba emirala gwe gwa Museruka n’ogwa Ssebuloolo.
Amasiga:-
Ekika kyéngeye kirina amasiga mwenda,nga ge gano wammanga:-
1. Bakazilwendo e Bumpenje mu Busiro. Lino lye Ssiga Nakazadde.
2. Kasule e Buwembo mu Busiro
3. Mpoza mu Ggwatiro e Butambala
4. Ggayi e Bugayi,mu Mawokota
5. Namungo e Kabagolo mu Ssingo
6. Muwuluzi e Kigo mu Buddu
7. Muwuluzi e Misasa mu Buddu
8. Kisero e Busero mu Mawokota
9. Ssebatta e Mutundwe mu Kyaddondo.
BAKASUJJA ABAZZE BAKULEMBERA EKIKA KY’ENGEYE:-
Mu luse luno olwa Kintu lwe tutambuliramu Kabaka Kato Kintu we yakwatira obuyinza,mu mwaka 1295,Bakasujja bazze baddiringana bwe bati:-
1. Lule Kyesimba Kasujja I omwaka 1234
2. Kasookolindo Kasujja II
3. Musanaalumbwa Kasujja III
4. Bwagu Kasujja IV
5. Petero Kanyambo Kasujja V
6. Alikadi Zibukuyimbwa Kasujja VI
7. Hajji Mohmoud Minge Kibirige Kasujja VII
8. Sheba Kakande Kibirige Kasujja VIII
EMIRIMU GY’EKIKA MU LUBIRI LWA KABAKA:-
1. Ekika kyengeye kirina obuvunanyizibwa bwamaanyi nnyo mu Bwakabaka bwa Buganda.Kubanga Namasole wa Buganda omuberyeberye Nambi Nantuttululu muka Kabaka Kato Kintu,yali wa kika kya Ngeye,muwala wa Bakazilwendo e Bumpenje era abaganda bonna,kyebava bayitibwa “Bazzukulu ba Nambi”
2. Ab’engeye,be bakola emikolo ku mutabani wa Kabaka omukulu,egimufuula Kiweewa.
3. Ab’engeye be bakuuma oluzzi lwa Kabaka Kanyabalangira.Omusiige ye Kalindaluzzi okuva mu Ssiga lya Bazilwendo.
4. Ab’engeye be baseresi b’enju za Kabaka namasiro. Omusiige ye Wabulaakayole okuva mu Ssiga lya Ssebatta e Mutundwe.
5. Ab’engeye be babumbi ba Kabaka. Omusiige Sseddagala.
6. Ab’engeye be bakulira Abambowa ba Kabaka. Omusiige ye Ssebatta.
7. Ab’engeye be bakuuma ennombe za Walumbe e Ttanda. Omusiige ye Nakabaale okuva mu Ssiga lya Kasule e Buwembo.
8. Ab’engeye be balunda embuzi za Kabaka.Omusiige ye Kawuka okuva mu Ssiga lya Bakazilwendo.
9. Ab’engeye be bakongojja Lubaale wa Kabaka Wannema.Omusiige ye Nakalago.
10. Ab’engeye be bavuba eby’enyanja bya Kabaka(enkejje). Omusiige ye Kisero.
11. Ab’engeye be bavunaanyizibwa ku nsonga z’obujjanjabi mu Bwakabaka Buganda.
12. Ab’engeye be bakuuma abalongo ba Kabaka Kato Kintu era Jjajja w’ekika ky’engeye Bakazilwendo yabakuuma.
AMANNYA AGATUUMIBWA MU KIKA KYENGEYE:-
ABALENZI
Kasule
Ssebunnya
Ssekubulwa
Kawooya
Kawuuzi
Naluswa
Kagimu
Ssekirevu
Kayiza
Kabuye
Sseviiri
Ssempangi
Mutamba
Kabwaama
Musulo
Kalule
Jjeke
Kalumba
Ssekayala
Ssebudde
Katinda
Ssekabuuza
Mwambala
Kalimbwe
Ssebukoolere
Lule
Kisero
Ssemajamba
Bakabulindi
Kibirige
Ndyefiira
Ssejjala
Kalungi
Ssettabi
Ssendowooza
Ssentuuya
Katuluba
Ssemuwemba
Kyemwa
Masiko
Ssenfuka
Sseruwenje
Ssekitto
Bumpenje
Kitto
Ssemiyogi
Nkali
Minge
Kasujja
(mukuluwakika)
Katabi
Nsambu
Lukenge
Kisuule
Ssemannyo
Nkalubo
Ssekiti
Ssebatta
Kirumira
Kirunda
Ggayi
Ssejjongo
Ssebatta
Ssebugenyi
Sseggayi
Gingo
Mpoza
Muwuluzi
Mpiso
Ssemugga
ABAWALA
Nambi
Najjeke
Nanfuka
Nattabi
Nakasujja
Nakawooya
Naggayi
Nalukenge
Nakayiza
Nannungi
Nakalule
Nansambu
Nalule
Nakirunda
Nakabuye
Nampoza
Nabuunnya
Nabikande
Najjingo
Nabire
Nakasule
Nalule
Nansukusa
Namugga
Nambirige
Nakubulwa
Nakakande
Nabatta
Nakitto
AMANNYA G’OMUTAKA KASUJJA N’EBIMUKWATAKO:-
Erinnya : Kakande Kibirige Sheba Sultan Musisi Musajjagyagenda,Kasujja VIII
Obuzaale : Yazalibwa nga 11(September) Mutunda 1988.Taata we ye Mw. Rashid Kakande Kibirige omutuuze mu USA mu kibuga Boston.Mutabani w’omugenzi Hajji Muhmoud Minge Kibirige Kasujja VII,eyazaama nga 6/04/2020.
Obusika : Kakande Kibirige Sheba Kasujja VIII yasikira Jjajjawe Minge Kibirige Kasujja VII nga 8/04/2020 ku butaka bwab’engeye e Busujja mu Busiro,oluvannyuma lw’okukolebwako emikolo gyonna Jjajjaa w’ekika kyengeye,Omutaka Bakazilwendo n’owomutuba gwa Kalutte oguvaamu abalya obwa Kasujja mu kika kyengeye.
Obukojja bwe : Maama amuzaala ye Muky.Rehemah Nantale,muwala wa Hajji Swaib Lubega Waggwa,muzzukulu wa Nsamba e Buwanda,mu Mawokota.
Obuyigirize : Omutaka Kakande Kibirige Sheba Kasujja VIII,yasomera Makerere University Business School(MUBS) gye yafunira Ddiguli mu by’enfuna mu mwaka 2011.
Obufumbo: Omutaka Kakande Kibirige Sheba Kasujja VIII,mufumbo,alina abaana.