Musu (Edible Rat)

Totem | |
---|---|
Akabbiro | |
Clan Leader | Samuel Bulega Muyingo |
Estates | Sama |
Ssaza | Mawokota |
Omubala Clan (motto) | |
EBYAFAAYO EBITONOTONO KU KIKA KY’OSUMU, ENTANDIKWA Y’OMUZIRO N’AKABBIRO.
Abo Musu twajja ku mirembe gya Ssekabaka Ndawula nga tusibuka mu Kizinga Funve e Ssese. Jjajafe Bukulu Bwawadda yasooka kubeera eno ku lukalu e
Naberenga mu Ggombolola y’e Ssisa mu Ssaza lya Busiro.
Ebiseera ebyo waliwo omusono ogw’abakulu okufuna e Kizinga, bwatyo Jjaja Bukulu Bwawadda naye ekinyegenyege kyamukwata nagenda e Funve gyeyazalira abaana be. Baba bali eyo, mugandawe Kawakuzi nasaba mukwano gwe ente ey’okulunda nebagimuwa. Eby’embi muganda we naffa era n’ente nayo neffa.
Oluvanyuma nannyini nte yajja okubanja ente ye era yasanga gweyagiwa yaffa dda. Yabategeeza nti ente ye mujjakujisasula ka kibe ki. Balaba nannyini nte alemeddeko nebagenda ew’omuganga abawonye omusajja ababanja.
Omuganga yabagamba nti mugende muyige akasolo konna akatono mukakwate. Bwemukafuna mugende ku malaalo g’oyo eyalya ebbanja mukasimireko era mukateeke mu sanja museeko n’akaguwa ne mpulutulizo.
Bafuna akasolo ako nebakola nga bwebagambibwa. Olwamala nga bayita nannyini nte okujja bamusasule ente ye.
Bamutwala ku malaalo ago era olwatuuka nebakuba ku malaalo nga bwebagamba nti zuukuka, zuukuka ojje osasule ente era akasolo kagugumuka nga kasamba esanja eryakatekebwako.
Eyali abanja bweyawulira yalowooza nti omugenzi ava magombe nasaako kakokola tondeka nnyuma nga bwagamba nti mumuleke sikyabanja n’ente njibasonyiye.
Ab’oluganda oluvanyuma betegereza akasolo akabawonya ebbanja nga Musu awo kitabwe weyabagambira nti okuva kulwo bakedire olw’okubawonya ebbanja. Baketegereza nnyo nga kafanana n’akayozi nebasalawo Akayozi kabe akabbiro olw’okwewala ab’omululu okulya Omusu nebaguyita Akayozi. Awo we twava okweddira Omusu n’akabbiro okuba Akayozi.
Bukulu yasalawo okudda ku lukalu nga yalekayo e Funve abaana be. Oluvanyuma Tamusange, Nkalubo ne Nabankema baabajja eryato Nakibeeba nebasabala nga bagukira ku mwalo e Buvumba Mawokota nga banoonya kitaabwe Bukulu. Bwebava ku mwalo, basanga Omutaka Kikomeko ow’e Njovu eyabasenza e Ssama era okuva ku olwo obwo bwe butaka bwaffe.
Bbo baganda babwe abasigalayo nabo bagoberera omuli Mugaaju eyaseenga e Bugonzi, Nakayima e Kiruddu Kyaggwe, Kimuli e Koome, Kabanvu e Kibanda nabalala.
Oluvanyuma abaana bonna bajja e Ssama awali mukulu wabwe Tamusange ne batuula ne bamulonda okukulembeera ekika kyabwe. Bamutuuza ku Jinja Mutagaana era okwo kweyasinziira okuwa baganda be amasiga. Mu kino obutafanana nabika birala, ab’amasiga mu kika ky’Omusu babeera baganda ba Muyingo so nga mu bika ebirala babeera baana ba mukulu wa Kika.
Erinnya erya Muyingo lyava ku kuba nti Tamusange ye yasikanga omuti ogwaggalanga oluggi oguyitibwa “Omuyingo” webava nebamukazako erya Muyingo.
Tamusange ng’omuntu bweyaffa yasikirwa omwana we Mulumba Nsawonkadde ate obwa Muyingo nabulekera abaana be belondengamu Muyingo era nabuli kati bwekikolebwa.
2
EMIRIMU GY’EKIKA MU LUBIRI LWA SSAABASAJJA.
1. Obwa Namusu.
2. Obwa Kawuuta – Ffe tufumbira Ssabasajja Kabaka.
3. Obukomazi-Ffe tukomaga embugo zamakula ga Ssabasajja Kabaka.
NAYE NSABA KULAMBULULA KUBWA NAMUSU:
Nkalubo muganda wa Tamusange yali musawo era ng’alina erinnya erya Luweta Mivule, eryava ku kulagira kweyalagiranga emivule negyeweta nanogako eddagala. Ssekabaka Ndawula yawulira etutumu lya Nkalubo bwatyo namutumya ab’e omusawo mu Lubiri.
Teyakoma ku busawo era yali mugalagala. Ekyamanyisa ennyo Nkalubo, lwali olwo Omuzaana Luyiga eyalina ettu, yakolola nga Ssekabaka Ndawula ali mu bibbo, Ssekabaka yalagira Nkalubo agende amutte olw’ekyejjokye.
Nkalubo yakwata Omuzaana namutwala wabula ng’amanyi nti ekimukozeseza ekyo yalina ettu kubanga y’omu kwabo Nkalubo beyali yawa oluzaalo. Nkalubo yafuna omukazi ali olubuto gweyatamu olw’okutya nti Ssekabaka ayinza okutuma abantu balabe oba akikoze. Ngawayise ebbanga, Omuzaana yazala omwana ow’obulenzi.
Mubuvumu obwekitalo Nkalubo yaddayo ewa Ssekabaka Ndawula namutegeeza nti Omuzaana Luyiga teyamutta wabula yazaala omwana wabulenzi. Ssekabaka yasanyuka nnyo era omulangira natumwa erinnya erya Mawanda olw’omuzaana okukololera Kabaka ngaali mu bibbo.
Okuva kwolwo Ssekabaka yasembeza Nkalubo namugamba nti ab’Omusu muli besigwa nnyo namuwa okukuuma emanju wa Kabaka.
Ngaali emanju, Nkalubo ye yayiiya amantambutambu ga Kabaka tegasaana kubera bweru nga gamukoopi. Nkalubo yasiimanga ekinya Kabaka mweyafulumanga.
Ssekabaka yasiima Nkalubo kyakoze nalagira bamuweseze ekifumu ekyayitibwa Kayiikuzi kyeyakozesanga okusima ebinya.
Nazikuno nga obwanamusu sikukuma bukumi manju wabula Namusu ye ayala obuliri bwa Kabaka, yamanya bweyasuze era nga Katikkiro gwatuukirako okubuza Kabaka bweyasuze.
3
NO
ESSIGA
OBUTAKA
ESSAZA
ERINNYA LY’OMUKULU
ADDUKANYA EMIRIMU
1.
Akasolya
Ssama
Mawokota
Samuel Bulega
Swadick Bulega
2.
Kabanvu
Kibanda
Singo
Matiya Bulega
Fred Nume
3.
Nakayima
Kiruddu Kojja
Kyaggwe
Bireese Jaggwe Livingstone
Bunkedeko Joseph
4.
Kimuli
Koome
Kyaggwe
J.M. Kasajja Zizinga
Semusu Kampama
5.
Kikaawa Kanyolo
Kawoko
Buddu
Lumala Paulo
Kikaawa Muyingo Jovia
6.
Nakaddu Omukomazzi
Makandwa
Busiro
Jaggwe Muhammad Salongo
Hamon Musoke
7.
Nkalubo Sebugwawo
Bunono
Busiro
Obadia Nsimbe
Yona Bulega
8.
Mugaju
Bugonzi
Buddu
Dr. Jack Jaggwe
Dr. Jaggwe N.
9.
Kagombe
Butula
Kooki
Danly Tamusange
Stanley Segwanyi
EMITUBA G Y’EKIKA
ESIGGA LYA KASOLYA
OMUTUBA
OBUTAKA
ESSAZA
ERINNYA LY’OMUKULU
1.
Sebuko
Najeza
Kyadondo
Muwanga Bulega
2.
Muzinga
Sama
Mawokota
G. Mulumba Salongo
3.
Kaliba
Makandwa
Busiro
E. Zimula
4.
Kiralyambwa
Sama
Mawokota
George Lumala
5.
Bakulu Mpagi
Mabanda
Mawokota
Abdulah Lukeberwa
6.
Bulega - Kaggo
Katalagga
Busujju
Mulaje Lumala
7.
Kyaffa
Mutungo
Busiro
Kiraga Godfrey
8.
Nsawonkadde
Sama
Mawokota
David Tomusange (Bishop)
9.
Sembwa
Kitukutwe
Wakiso
Yobu Muyingo
10.
Mbazi
Sama
Mawokota
Bunkedeko Hussein
11.
Kifunkulu
Najeza
Kyadondo
Bulasio Jaggwe Lwanga
12.
Zizinga
Mirembe
Butambala
Sula Nsimbe
4
ESIGGA LYA NKALUBO - BUNONO
1.
Kiregeya
Ndejje
Kyadondo
Kabiswa Edward
2.
Bunkedeko Omunawa
Kanyanya
Kyadondo
Nicholas Mukasa (Dr)
3.
Masikangabo
Bujuko
Mawokota
Yunus Bulega
ESIGGA LYA NAKADDU
1.
Nakaddu
Makandwa
Busiro
Sebugwawo
2.
Muddu Aberwa
Lusanja
Singo
Salongo Nkalubo Mukasa
3.
Mbalire
Kigalama
Singo
Bunkedeko
4.
Sansa
Nakinyana
Bululi
Abubaker Sebugwawo
5.
Kawulawula
Sanga
Mawokota
Eng. Peter Nsimbe
6.
Kajenkya
Ntwetwe
Singo
Hassan Bulega
7.
Muwanga
Kisansala
Buddu
Muyingo Friginsio
ESIGGA LYA KABANVU
1.
Ttullo
Kyabakadde
Kyaggwe
Tomusange Fred
2.
Sebutemba
Bumbaje
Kyaggwe
Byekwaso Fred
3.
Zingobukedo
Naama Mityana
Singo
Kasim Mulumba
ESIGGA LYA KIMULI
1.
Mpebwa
Kyabalogo
Kyaggwe
Jaggwe
2.
Semajaba
Mabira
Kyaggwe
Bulega
3.
Wabereka
Bwebaja
Busiro
Zikusoka
4.
Bagiyembe
Kansanga
Kyadondo
Mitawana
5.
Kawogo
Kiyoola
Kyaggwe
Lumala
6.
Lukolo
Nazigo
Kyaggwe
Mirala
7.
Lwotowone
Nakisanga
Kyaggwe
Nsimbe
ESIGGA LYA KAGOMBE
1.
Kayiteri
Kiwaguzi
Kooki
Sebugwawo Matia
2.
Kireego
Butula
Kooki
Senkumba Woziya
3.
Kangi
Kyengeza
Kooki
Bunkedeko Yokana
ESIGGA LYA KIKAAWA
1.
Nyanja
Kiwesi
Buddu
John Bamutange
2.
Kasuuga
Mukunyu
Buddu
Zizinga
3.
Kolongola
Kasebwera
Buddu
Sebugwawo Gregory
4.
Gobe kadde
Kawoko-Kikaawa
Buddu
Nkalubo Henry
5.
Sabala
Mpalampa
Buddu
Ssejje Richard
5
ESIGGA LYA NAKAYIMA
1.
Kabeja
Bussi
Busiro
Bunkedeko
2.
Sekimbuyege
Kiruddu
Kyaggwe
3.
Nzozombe
Lutengo
Kyaggwe
Geofrey Kiyega
4.
Namutamba
Kiruddu
Kyaggwe
5.
Mukwano
Katabi
Busiro
Zizinga
6.
Masanso
Minziro
Buddu
Joseph Tomusange
7.
Sebwato
Kasawo
Kyaggwe
Geofrey Sebugwawo
ESIGGA LYA MUGAJJU
1.
Muddu Abeera
Mpugwe
Buddu
Yonosani Kajumbi
2.
Kalongola
Bugonzi
Buddu
Kasimu Muyingo
3.
Ssabala
Singo
4.
Kasunsu
Kadugala
Buddu
5.
Bwakyadda
Butambala
Musa Kagga
6.
Busenze
Bugonzi
Buddu
Mungi
7.
Lwesera
Bulenge
Buddu
Matiya Bulega
8.
Lukanga
Kiyanja
Buddu
Hajji Edirisa Sebugwawo
9.
Nserenguzi
Bugonzi
Buddu
Kasimu Muyingo
6
AMANYA AGATUUMIBWA
ABALENZI
1.
Mulumba
4.
Lugobe
2.
Bbira
5.
Kimuli
3.
Nsimbe
6.
Bwami
Namalala mangi
AGABAWALA
1.
Nasejje
4.
Mbalyowere
2.
Nabankema
5.
Namunyiga
3.
Nazze
6.
Kulyenvu
Namalala mangi