Ngo (Leopard)
Totem
Akabbiro
Clan Leader
Estates
Ssaza
Omubala Clan (motto)
1) AKABBIRO: Kasimba
2) BENDERA Y’EKIKA KY’ENGO
 
3) OMUBALA GW’EKIKA KY’ENGO:
Ggwe Ngo, Ggwe Musota!
Ggwe Ngo, Ggwe Musota!
Bazannya N’Engo,
Nga Bagiyita Emmondo:
Akaala K’Engo Nnamuzisa!
Ekyana Ky’Engo, Kyegiriisa!
Nabbuto! Nabbuto!
Ggwe Mpita:
 
 
 
4) OLUYIMBA LWE KIKA KY’ENGO:
Ye Ffe Abaana Ba Buganda Abazirango Tutuuno Tuzze Butesagga Tuwera Okuzimba Buganda Enywevu Naggwano Okukira Ensi Zonna Zewaasanze!
Obutaka Bwe Kika Kyaffe Buli Butesaasira Butambala E Bukesa Gye Tuva.
Akabbiro Kasimba Abaana N’abazzukulu Mbabulidde Ku Kika Kyaffe!
Ffe Abazirango Katukole Nga Tukuza Buganda Ensi Yaffe.
Jjajja Mutesaasira Twesiimye Nnyo Kulembera Ekika Kyaffe!
 
Ebitaaguju Ab’engo Tetulya! Tukitendeke N’abaana Bamanye Nti Okuva Edda N’edda Ab’engo Tukola N’amaanyi Okw’ezimba Mu Nsi Yaffe!
Mu Mirimu Gya Buganda Emikulu, Ye Ffe Abagiriinya Wonna Mukimanye – Okwalula Abaana Beŋŋoma Mulimu Gwa Kika Omutongole Gwe Twaweebwa!
Ffe Abazirango Katukole Nga Tukuza Buganda Ensi Yaffe.
Jjajja Mutesaasira Twesiimye Nnyo Kulembera Ekika Kyaffe!
 
Katonda Ow’obuyinza Tukuwongera Ekika Kyaffe, Obukuumi N’obugabirizi Bwo Bitubengako Wonna Abazukulu Ba Muteesasira Mu Nsi Yonna!
Nze Okwagala Buganda Ku Mutima Tekinkakwa Kuba Eno Nsi Yange – Kalimikansinjo - Bbeene – Nannyinimu Wangaala Ofuge En’ensi!
Ffe Abazirango Katukole Nga Tukuza Buganda Ensi Yaffe.
Jjajja Mutesaasira Twesiimye Nnyo Kulembera Ekika Kyaffe!
 
5) AGAMU KU MANNYA AGATUUMIBWA MU KIKA KY’ENGO:
5.1  ABALENZI

1. Balimuttajjo
2. Basajjansolo
3. Bbandabalogo
4. Bbugo
5. Buwambo
6. Bwanika
7. Bwetunge
8. Ggongobavu
9. Kaasokampanga
10. Kabandagala
11. Kabubbu
12. Kabugu
13. Kadduukirizi
14. Kakembo
15. Kakumba
16. Kalyango
17. Kanaakulya
18. Kanatta
19. Kasaanya
20. Kasajja
21. Kasobozi
22. Katabula
23. Katinindi
24. Kattadima
25. Kavuma
26. Kavuuma
27. Kkeeya
28. Kidde
29. Kintu
30. Kisaawe
31. Kisekulo
32. Kiseeyeeye
33. Kitakula
34. Kiwedde
35. Lubambula
36. Lubanjwa
37. Lubowa
38. Lugingi
39. Lulembwe
40. Lusembo
41. Luvuma
42. Luyirika
43. Manoga
44. Mugagga
45. Mugejjera
46. Muleme
47. MUTESAASIRA
48. Muyanja
49. Mwanje
50. Nakabambagiza
51. Nakaswa
52. Namakaaga
53. Namuyimba
54. Nkayivu
55. Nkonde
56. Nkulo
57. Nkwanga
58. Sanjala
59. Ssebbanja
60. Ssebbowa
61. Ssebuwuufu
62. Sseemu
63. Sseggiriinya
64. Ssekawojwa
65. Ssekidde
66. Ssekiranda
67. Ssekisaka
68. Ssekulima
69. Ssekyewa
70. Ssekyejwe
71. Ssembajwe
72. Ssempeera
73. Ssempeereza
74. Ssemugabi
75. Ssemuju
76. Ssemuyaba
77. Ssemwanje
78. Ssennono
79. Ssennyiti
80. sserubambula
81. Sserukulubambaaza
82. Sserujja
83. Sserumpanise
84. Sseruwu
85. Ssezzibwa
86. Ssikirabanga
87. Ssinabulya
88. Zirimiti


5.2  ABAWALA

1. Byeganje
2. Luyiga
3. Nabasenya
4. Nabasinga
5. Nabbanja
6. Nabbowa
7. Nabbuto 
8. Nabulya
9. Nabuwuufu
10. Naggiriinya
11. Nakalyango
12. Nakavuma
13. Nakawojwa
14. NakKkeeya
15. Nakidde
16. Nakintu
17. Nakiranda
18. Nakulima
19. Nakyejwe
20. Nakyewa
21. Nalubanjwa
22. Nalubowa
23. Nalujja
24. Naluwu
25. Nambajwe
26. Nampeera
27. Namuju
28. Namuleme
29. Namuyaba
30. Namwanje
31. Nankulo
32. Nankwanga
33. Nannono
34. Nannyiti
35. Ndagire
36. Nakabugu
37. Nvuma
38. Namujulirwa

 
5.3  Ennono Zaagamu Kumannya Mu Kika Ky’Engo:
1. Mutesaasira: Erinnya lino ly’aweebwa omukulu w’ekika ky’engo omuberyeberye nga limuweebwa kitaawe Kabaka Kintu. Kabaka Kintu bwe yali ku lusozi Munywa ku kyalo Bukesa mu Butambala n’alengera olusozi olulala olw’e Magonga era n’alwegomba. Kabaka yagenda ku Magonga era n’asiimayo kwe kusalawo akubeko olubiri bwatyo n’ataddayo ku lusozi Munywa.
Ng’omutanda ateredde ku Magonga, yatumya mutabani we Kkeeya gwe yali yaleka ku lusozi Munywa ajje babeere bonna ku lusozi Magonga. Kyoka Kkeeya abatume yabategeezanga enfunda zonna Kitaawe zeyamutumiranga ababaka nti, “Nze nkuze, sijja kujja eyo, nja kusigala wano ku Munywa!” Bino abatume baddayo ne babitegeeza kitaawe; Kabaka Kintu neyebuuza nti, “Omwana oyo Teyesaasira kusigala eyo yekka?” – mu bigambo bya Kabaka Kintu bino mwemwava okutuuma mutabani we erinnya erya “Mutesaasira” – olw’obutesaasira n’asigala ku lusozi Munywa nalwo oluvannyuma olw’atuumibwa Butesaasira.
Weetegereze; Abazirango bangi bagenze mu maaso nga batuuma abaana abalenzi erinnya lino naye nga kino kikolebwa mu nsobi kubanga kino ekitiibwa ky’aweebwa mukulu w’akika ky’ango yekka! N’olwekyo, abalirina tetubagamba kukyusa naye tukubiriza Abazirango bonna okw’ewalira ddala okutuuma erinnya lino olw’okukuuma ekitiibwa ky’Omutaka Omukulu W’Ekika Ky’Engo.
2. Katotto: Nalino erinnya ly’aweebwa omukulu w’ekika ky’engo omuberyeberye nga limuweebwa kitaawe Kabaka Kintu olw’okusalanga entotto asigale ku Munywa nga kitaawe amuyita bagende bombi ku Magonga gye yali akubye Olubiri olulala. Kwe kugamba nti, “Akaana kano ka Ntotto!” Ne muvaamu erinnya Katotto.
 
3. Kkeeya: Nalino erinnya ly’aweebwa omukulu w’ekika ky’engo omuberyeberye nga limuweebwa kitaawe Kabaka Kintu olw’okuzaalibwa mu biseera eby’ekyeya kitaawe naagamba nti, “Kano akaseera kaazaaliddwaamu nga Kkeeya!” ekitegeeza nti kwa kyeya – kwe kumutuuma KKEEYA.
 
4. Muleme: Nalino erinnya ly’ayongerwa ku lya Mutesaasira nga gombi gaweebwa Kkeeya ol’wokugaanira ku Munywa nga Kitaawe Kabaka Kintu amuyise amwegatteko ku lusozi Magonga. Lino lyava mu  kitaawe Kabaka Kintu okugamba nti, “Ono omwana mulemeddwa, alemedde ku Munywa!” Kwe kutuumwa MULEME.
Weetegereze; Abazirango tebalina kutuuma Namuleme olw’okuba nga lino lirina ennono y’alyo mu kika ky’Embogo era nga abalirina tetubagamba kukyusa naye tukubiriza Abazirango okw’ewala okulituuma.
 
5. Luyirika:  Lino erinnya lituumibwa abaana abalenzi mu kika ky’engo ng’abawala be Naluyirika. Ly’asibuka mu Ssiga lya Lubowa e Kiyanja. Kasajja eyagenda ne Lubowa e Kyaggwe nga bava e Butesaasira beetaba mu lutalo wakati wa Kabaka Kagulu Tebuchwereke n’Omulangira Mawanda nga baalwanira ku ludda lw’Omulangira Mawanda. Mu lutalo luno Kasajja weyafumitira abasajja babiri n’effumu limu omulundi gumu ekiyitibwa okuyirika. Omulangira Mawanda ono yamutuuma erinnya erya Luyirika olw’okuyirika mu lutalo!
 
6. Nabulya: Lino erinnya lituumibwa abaana abawala mu kika ky’engo ng’abalenzi be ba Ssinabulya. Erinnya lino ly’atandikira ku Nnaabagereka Nannono muka Ssekabaka Nakibinge Omulwanyammuli. Nannono yeyasongolera Kabaka emmuli akozese mu lutabaalo oluvannyuma lw’amafumu okumuggwaako! Naye Kabaka olutalo luno mweyaggira omukono mu ngabo Bwatyo omukyala omuzirango Nannono n’akuuma Nnamulondo okumala akaseera. Naye yalina mwannyina eyamukuumanga ngaakola emirimu gy’Obwakabaka. Abajjanga okukiika embuga, babuuzanga omulenzi nti, “Gwe Kabaka?” Naabaddamu nti, “Nze Ssinabulya!” Ate omuwala ye naddamu nti, “Nze Nabulya!”era awo weyaggya erinnya erya “Nabulya – Obwakabaka”.  ate Omulenzi ye naabeera “Ssinabulya.”
 
7. Ssebuwuufu: Lituumibwa abaana abalenzi mu kika ky’engo nga abawala be ba Nabuwuufu. Lino liva mu lugero olugamba nti, “Ssebuwuufu bwa ngo, tebuyitwamu mbwa.” Kino kiri kityo kubanga embwa tesobola kuyita wantu engo weyita era oluba okukonga olusu lw’engo ng’ekyusizaawo obuwuufu!
 
8. Mwanje: Mwanje: Kkeeya Muleme Katotto Mutesaasira ng’alemedde e Butesaasira, yasiigira kitaawe mutabani we eyali ayitibwa Lubowa amuyambengako mu mirimu egy’enjawulo. Nga Lubowa ali ku Magonga ne jjajjaawe Kabaka Kintu. Abajjanga ewa Kabaka nga y’ayanja ensonga zaabwe ewa Kabaka. Yabagambanga nti, “Mwanje ensonga zammwe.” Mu kyo naafunamu erinnya erya Mwanje.