Ŋŋaali (Crested Crane)

Totem | |
---|---|
Akabbiro | |
Clan Leader | |
Estates | |
Ssaza | |
Omubala Clan (motto) | |
Ekika kye kiki
Ekika lwe lulyo lw’abantu abasajja n’abakazi, abazaalibwa abaana ab’obulenzi nga bonna basibuka mu bujajja bumu; obutaka bwabwe obukulu bwa mulundi gumu; nga bonna ba: Muziro gumu, akabbiro kamu n’omubala gumu; era nga bonna bakulemberwa omukulu w’Akasolya k’Ekika kyabwe omu. Ate era nga balina amannya ag’abalenzi n’abawala gebatuuma mu kika kyabwe, agabaawula ku bika ebirala.
Ekika okutongozebwa Kabaka, kiteekwa okuba n’ebisaanyizo; ebikulu ku byo bye bino:
Omutaka omukulu w’ekika ateekwa okuba n’embugaye, eyenkalakalira nga yazimbibwa ku Butaka bwe kwennyini. Era nga mu Ssaza, Eggombolola, Omuluka n’Omutala embuga eyo weeri, wamannyiddwa ab’Ekika; ng’era watuukika.
Omutaka Ow’Akasolya ateekwa okuba ng’alambika bulungi ennono y’ekika kye (Ng’annyonyola bulungi ekika ekyo nga bwe kyatandika okuviira ddala ku jjajjaabwe omubereberye n’abamasiga agakirimu ssaako embuga zaago gye ziri).
Abantu b’ekika ekyo bateekwa okuba nga bamanyiddwa, balabika era nga beetaba mu mikolo ne mu mirimu gy’obwa Kabaka.
Abasenja abeddira Ŋŋaali
Ebyafaayo byabwe ebijjukirwa, bitandikira mu mulembe gwa Kabaka Kintu; eyo nga mu mwaka gwa 1200. Kye tulina okumanya, si buli Basenja yonna gye bali nti beddira ἧἡaali. Olulyo lw’Abasenja bonna, lwasaasaanira ebitundu bingi. Waliwo abali: e Bunyoro naddala e Buyaga ne Bugangazzi, e Tooro, e Buluuli, e Buddu n’awalala.
Mu mawulire agayitibwa: “The Daily Monitor” agaafuluma ku Friday, March 2, 2007; Kabaka w’e Bunyoro ayitibwa Omukama Iguru, yagamba nti ebifo ebikulu ebirimu ebyafaayo by’obuwangwa mulimu: Eby’Abayaga n’Abasenja. Yayongera n’agamba nti Olulyo lw’Abasenja lwasimba amakanda mu bitundu bye Igayaza mu ssaza lye Bugangaizi gye lumaze emyaka emingi ennyo; era na buli kati eby’obuwangwa bye baakozesanga bikyakuumibwa mu mayumba gaabwe.
Abasenja abeddira Ŋŋaali basibuka mu bajjajjaabwe abaali ab’oluganda basatu. Eyali omukulu ye MPABUKA era nga ye jjajja w’Ekika asibukamu amasiga 14. Muganda we MBOWA KABBAGGOBE yaasibukamu abe ssiga lya Mbowa Kabbaggobe eririna Obutaka bw’essiga e Kirungu Magala mu Ssingo. Ate muganda waabwe MUSUNSU asibukamu ab’ Essiga lya Kyoto eririna obutaka bwalyo obw’essiga e Kyanika Kakooge Buluuli. Obutaka bwabwe bonna obukulu buli BUZOOBA mu Gombolola ya Mutuba I Buwunga mu Buddu.
Ebyafaayo byabwe bigamba nti Mpabuka, Mbowa Kabbaggobe ne Musunsu saako bannaabwe abalala bajja batambulira mu bibinja eby’enjawulo okuva mu bitundu by’olusozi Masaaba. Abamu baasigaliranga emabega era ne basengera ddala eyo olw’ensonga ez’enjawulo, bannaabwe ne babaleka; bo ne beeyongerayo mu bitundu ebirala okutuuka bajjajjaffe abo lwe baatuuka ne basiisira mu bitundu kati bye tuyita Bunyoro.
Ate eyo abamu gye baava ne basaasaanira mu bitundu bya Buganda ebitali bimu. Kiwanuuzibwa nti mu biseera ebyo mwebaasiyaggukiranga, oluusi baalwanagana n’abantu be baasanganga eyo mu bitundu gye baayitiranga. Mu biseera ebyo, Mpabuka mwe yamanyiragana ne Kato Kintu ne baba ba mukwano.
Nga wayiseewo ekiseera kiwanvu ddala nga Mpabuka asigalidde emabega wa Kintu mu kifo ekitajjukirwa linnya; ate nga ne Kintu yali yeeyongeddeyo gye yawangulira Bbemba Musota nalya Obuganda; Mpabuka yazaala abalongo (omuwala n’omulenzi). Omulenzi yamutuuma Luwemba ate omuwala n’amutuuma Naluwemba.
Abalongo abo bwe baasuumukamu, ne baba baana balungi nnyo mu ndabika. Kintu amawulire bwe gaamutuukako nti waliwo omusajja eyazaala abolongo abalungi nnyo! Kwekulagira nti babamutwalire abalabe. Mpabuka ne mukazi we bwe baabatuusaayo, Kintu yeewuunya nnyo okulaba Mpabuka eyali mukwano gwe nga y’eyali ayogerwako nti yazaala abalongo abalungi batyo! Kintu naye bwe yalaba ng’abalongo balungi nnyo, kye yava agamba mukwano gwe Mpabuka nti: “Omulongo omulenzi mutuumye Kintu, ate Omulongo omuwala mutuumye Nakintu”. Era Kabaka n’asigaza abalongo abo bamuweerezenga; Mpabuka ne mukazi we ne baddayo ewaabwe.
Okuva olwo aboolulyo lwa Mpabuka, ne batuumanga amannya ago: Kintu ne Nakintu. N’okutusa kati abeddira Ŋŋaali amannya ago bagatuuma era gaatongozebwa. Oluvannyuma, abalongo abo, baatwalibwanga ng’Abalangira. Kiwanuuzibwa nti, abeddira Ŋŋaali abamu balowooza nti yandiba nga y’ensonga eyabalobera okufuna emirimu emitongole gye bakola mu lubiri ku Kabaka mu biseera ebyo.
Naye Kabaka Jjunju (1780-1797) bwe yagatta Buddu ku Buganda ng’amaze okuwangula Bunyoro, aba Ŋŋaali abakomagiranga: Abambejja n’Abaami b’e Bunyoro embugo n’okubabajjiranga engabo; emirimu egyo baagenda na gyo mu maaso nga bagikolera Kabaka wa Buganda n’Abambejja.
Mu mirembe egy’edda, abantu baabunanga emiwabo olw’ensonga eziwerako nga: Enjala eyagwanga, abantu ne batambulanga nga banoonya emmere; okuyigga; ekyeya kyawaririzanga abantu naddala abalunzi okusengukira awali amazzi; eddwadde nga kawumpuli ne kawaali; empalana; okudduka emisango; okunyagibwa; ebiwendo; okudduka entalo; okutoloka ku babawambye; okuyiggannyizibwa amateeka g’abafuzi amakakali; okwewaŋŋangusa; okunoonya eby’obugagga n’obufuzi; n’okudduka ensolo enkambwe nga zizinze ebyalo.
Ezo z’ezimu ku nsonga ezaaleeteranga abantu ab’edda okusiyaggukanga n’okwewaŋŋangusizanga mu bitundu eby’ebunaayira. Kiteeberazebwa nti mu myaka egyo, Buganda yandiba nga yalina amasaza nga asatu oba ana gokka era ge gano: Kyadondo, Busiro, Busujju ne Mawokota. Nga eyitibwa Muwawa ng’abantu abaagibeerangamu bayitibwa Balasangeye.
OMUZIRO N’AKABBIRO
Abeddira Ŋŋaali bawanuuza nti lwali lumu mu mirembe egy’edda ennyo ng’abaana bali ku ttale balunda embuzi, ne balaba ebinnyonyi ebyayitibwanga Entuuwa (Entuha). Ebinnyonyi bino byasannyusa nnyo abaana abo olw’amaloboozi ge byakokanga, ssaako okuwujja ebiwawaatiro byabyo era nga bwe byetoololera awo wansi we byali. Abaana abo baatandika okugeegeennya amaloboozi gaabyo agaali gagamba nti: ŋŋaaali, ŋŋaaali, ŋŋaaali……
Okusiindogoma bwe kwagenda mu maaso, abaana bayongeramu ebisoko nti: Ŋŋaaali caccaliza, ŋŋaaali caccaliza; abaana beerolere (berorere). Wamma ggwe ne lwogooma. Kati ebinnyonyi bino biyitibwa “Ŋŋaali”, oba olyaawo olw’amalobozi ge bikola nti: ŋŋaali, ŋŋaali ŋŋaali… nga biyimba!!! Olw’ebbinu eryali ku ttale, abaana baddayo eka ng’obudde bukunidde nga n’embuzi ezimu zaali zibabuzeeko!
Olw’obusungu, abazadde baabwe baalya mu ttama olw’embuzi zaabwe okubabulako n’okudda eka nga buzibye. Mukwewozaako, abaana baagamba abazadde nti: “Ku ttale baasanzeeyo ebinnyonyi ebiyimba, nga bwe bizina, nga byetooloola ssaako okuwujja ebiwawaatiro mu ngeri esanyusa n’okubibaamba ng’ebyali byagala okuggwaŋŋna mu bifuba”! Abazadde bonna bassa kimu nga nkuyege nti tujja kugenda namwe enkya tunoonye embuzi zaffe ate era nabyo tubirabe.
Enkeera, abaana baakulembera bakadde baabwe, ne boolekera ettale yogayoga nga batuuse we baali balabidde ebinnyonyi. Okutuuka awo, ebinnyonyi byali ku muti waggulu. Abaana bwe baakooloobya nti ŋŋaali caccaliza abaana beerolere…; ebinnyonyi byakka wansi na byo ne bitaandika okukooka nga bwe bizina!!! Kino kyasannyusa nnyo abazadde. Era kaabula kata nabo basiibe ku ttale nga beerolera ebbinu ly’entuuwa. Kino kyabamatiza ensonga eyali erwisizzaayo abaana baabwe eggulo limu. Olw’essanyu eringi, abazadde baakalatira abaana baabwe nti temukolanga akabi konna ebinnyonyi ebyo yadde okubirya. Eky’okunoonya embuzi, Abazadde baakyerabira.
Bwe baali baddayo eka, ne basanga ekyebonere. Anti baalaba OBUKASANKE OBWEERU! Bonna nga bwe baali, gwegwali omulundi gwabwe ogusooka okulaba obusanke obufaanaana bwebutyo. Bwe babwetegereza ennyo, baagenda okulaba ng’obusanke obwo, bwali bubojjerera obulo obwali bumansiddwamansiddwa mu lujja. Kozzi bannyini waka awo we bwali, be baali babumansirizzaawo nga babuwewa.
Ebiseera ebyo byali bya njala kisalamatu. Bano beewuunya nnyo okulaba obulo obwali bulagajaliddwa mu njala tolyamunno! Kwekukyama ne bakowoola abaawo. Nyinimu bwe yavaayo n’ababuuza ogwali gubadde! Ko bano kwe kumuddamu nti: “Anti tulabye obusanke nga bulya obulo mu lujja lwo; kwe kukyama tukubuuze oba olinawo obuwerako, naffe otuwonye enjala mpaawo atalikaaba”. Nyinimu teyalonzalonza, yabasibira buli omu omutwalo gw’obulo.
Wamma ggwe badda eka nga basanyufu nnyo. Ekyo baakiyita omukisa ogutasangikasangika. Okwo kwe baava okukungiriza Akasanke Akeeru nnantalabikalabika okubooleka awaali eky’okulya! Okuvva olwo, Akasanke Akeeru kwe kafuula Akabbiro k’Abekika kyabwe, ssaako n’okugamba nti: “Omuntu yenna okukasanga aba wa mukisa”.
Mu byalo gye baabeeranga, abaana bayimbanga nnyo oluyimba lwa ŋŋaali caccaliza abaana beerolere era nga bwe bazinirako amazina gali aga ŋŋaali agaabakwata omubabiro. Oluyimba olwo n’amazina ago bwe byaganja ennyo, abantu ne batandika n’okugaziniranga ku buli kinnyumu. Olw’okuddiŋŋana emirundi emingi Enkaaba y’ekinyonyi ekyo mu luyimba, erinnya lyakyo kwe kukyusibwa ne kiyitibwa Ŋŋaali nga bwe kikaaba mu kifo kya “Ntuha” nga bwe kyayitibwanga.
Na buli kati Omuganda; Entuha agiyita ŋŋaali. Ata bo abeddira Ŋŋaali na buli kati batuuma amannya nga: Ntuuwa, Ssentuuwa ne Nantuuwa. Ekiraga ensibuko yaabwe. Ate era ekigambo ‘Caccaliza’ ne kikyuka ne kifuuka “Ssaabasaaliza”. Newankubadde nga amakulu g’ebigambo ebyo maawufu nnyo. Okucaccaliza kitegeeza okutambula ng’osomberera amagulu oba mangumangu; okuzina ng’omansula amagulu oba omuntu okwanguyiriza ennyo omulimu gwaba akola. Ate Ssabasaaliza kitegeeza ekintu ekyegombebwa ennyo. Kiva mu ‘kusaaliza’.
Okuva olwo, nabuli kati; y’ensonga eyimbisa oluyimba olwo nti: “Ŋŋaali Ssabasaliza, Ŋŋaali Ssabasaliza Abaana beerolere x3. Ŋŋaali amanyi okuyimba…, SsaabasaalizaŊŋaali…, Ssaabasaaliza abaana beerolere. Buba busaasaana…. Ssaabasaaliza….Ŋŋaali…Ssaabasaaliza abaana beerolere….”.
Tebaakoma awo! Abayimbanga oluyimba olwo ne bakazibwako Abaŋŋaali. Bwe kityo ekika kya Ŋŋaali bwe kyatandika. Okuva ku lunaku luli abazadde abo lwe baalaba Ŋŋaali ng’azina era ng’ayimba; ssaako okusanga akasanke akeeru akaabawonya enjala; anti obulo buli baalyako obumu, obulala ne babusiga: Obumu, Okwagalana, Ezzadde n’Okugaggawala byeyongera mu bantu abo. N’olwekyo, abantu abo ne basalawo okweddira Ŋŋaali; Akasanke Akeeru okuba a Kabbiro kaabwe; ate Ŋŋaali Ssabasaliza Abaana Beerolere okuba oluyimba lw’ekika kyabwe.
AKASAASAANO
Kiwanuuzibwa nti enjala kiryankondwe bwe yagwa; Mpabuka yayawukana ne baganda be olw’empaka ezaali zikalambidde. Kigambibwa nti bwe baali mu bitundu kati ebiyitibwa Mubende, Musunsu yaleeta ekirowoozo nti baali basaana balimire emmere mu kitundu ekyo awo we baali; baleme kufa njala. Mpabuka ne Mbowa Kabbaggobe tebaakisemba.
Musunsu yasigala awo n’abantu abakirizza okulima emmere. Mpabuka n’abantu abaamukiririzaamu ne batambula nga badda ku luuyi lwe Busujju. Baali bakyasiyagguka, abafuzi be bitundu ebyo, ne bategezebwa nti waaliwo abantu abatamaanyidwa abaali balabiddwaako nga bali mu gubinja ogunene ennyo. Bwe kyamanyibwa nti abantu abo baali beddira Ŋŋaali, ab’ebika ebirara baabazinda ne bababunnya emiwabo.
Mu kasaasaano ako; abamu beekweka mu bika ebirala (beeyita ab’emiziro emirala); okukkakkana nga Mpabuka n’abantu be bakyusizza obuwuufu yogayoga nga baddukidde mu bitundu bye Buddu nga bayitira e Kikoma ne Kiyima mu ssaza lye Mawogola era kiteeberezebwa nti eyo e Kikoma Mpabuka gye yafiira; mutabaniwe Mutalengwa n’amusikira. Oluvvanyuma lwa Mutalengwa, abataka bangi abaakulembera ku Kika kya Ŋŋaali abatajjukirwa olw’akasaasaano n’okwekweka mu bika ebirala.
Kigambibwa nti okutuuka e Buculo okumpi ne Bwala mu Masaka, Mbidde y’eyali akulembera e Kika, era awo we yafiira. Bwe baava awo ne badda e Mazinga, olwo nga Malechu nga yemukulembeze. Awo we yafiira. Bwe baava awo ne basiisiira e Buzooba nga Maweesano ye mukulu w’ekika; oluvannyuma awaafuuka obutaka obukulu obw’abeddira Ŋŋaali.
Abamu ku baali abakulu b’ekika kya Ŋŋaali gye baaziikibwa:
Mpabuka Yaziikibwa Kikoma Mawogola
Mutalengwa “ Kawoko Buddu
Mbidde “ Buculo “
Malechu “ Mazinga “
Maweesano “ Buzooba Buddu
Bisobye “ “ “
Byakufumba “ “ “
Twalofune “ “ “
Biraze “ Mazinga “
Kaggwa Erenest “ Buzooba “
Luwugge Mukasa Samson “ Ssenge Busiro.
Era mu kasaasaano ako, ye Mbowa Kabbaggobe n’abatonotono abaamugoberera, baakwata lidda Ssingo ne basiisira e Magala. Mbowa Kabbaggobe n’afuuka wa ssiga ery’ensikirano, embuga yaalyo na buli kati eri Magala mu Ggombolola y’e Kirungu mu Ssingo. Mbowa Kabbaggobe bwe yafa, Kimwano n’amusikira.
Nga wayiseewo ebbanga eriwera, nga n’enjala eyayogeddwaako yakakya, Musunsu yafuna amawulire nti waaliwo ekiwendo ekiyiggannya abantu abeddira Ŋŋaali. Musunsu n’abantu be baddukira ku luuyi lwe Ssingo baabo Kiwoko. Mu bitundu ebyo balwamu nnyo. Musunsu ne Seruma baafiira Bbulakati mu Lugonjo. Ye Kyoto oluvannyuma yakulembera abantu abaali basigaddewo ne batuuka e Kamuwanula gye baasanga abantu abeddira Ssekannyolya abayitibwa ne beekweka mwaabo. Abasenja bangi baafiira nnyo mu bitundu bino: Lwanjuki, Kamuwanula, Kyabasogga ne Kibaalu. Oluvannyuma Kyebwera yaddukira ku mutala Tumwakire mu Buluuli.
OW’AKASOLYA K’EKIKA KYŊŊAALI (MAWEESANO) ALONDEBWA ATYA
Sir Apollo Kaggwa Ow’Enseenene, eyaweebwa obwa Katikkiro mu mulembe gwa Kabaka Mwanga II mu October 11, 1889 era ne mu mulembe gwa Kabaka Dawudi Ccwa II n’abeera Katikkiro; mu Kitabo kye e Ky’empisa Z’Abaganda ku lupapula 159, atunyumiza nti: “Mu mirembe egy’edda; abaana b’Omwami afudde ne bwe baabeeranga abangi ennyo, nga tekuva amusikira nga baganda be bakyaliwo. Awo baalondanga ow’oluganda lwa Kitaabwe, n’amusikira.
Bwe babanga tebalonze ku bagandabe ddala, nga bayinza okulonda mu Ssiga eddala, bwebataboolagana, nga ne jjajjaabwe ow’edda yali omu, n’amusikira. Ekyaziyizanga okulonda omwana gw’azaala, nga batya okuboolagana. Nga balowooza nti bwe banaamusikiza omwana we yennyini, oluvannyuma walibeerawo okuboolagana. Naye Akalombolombo k’owoluganda okusika ng’abaana weebali, Kabaka Mukaabya Muteesa I (1856-1884) ye yakadibya”. Kyokka abeddira Ŋŋaali bwe baaba balonda ow’Akasolya, Akalombolombo ako ke bakyagoberera, nabuli kati.
Obukulu bw’e Kika kya Ŋŋaali ssi bwansikirano. Maweesano alondebwa mu bazzukulu abava mu bajjajjaabwe abasatu: Mpabuka, Mbowa Kabbaggobe ne Musunsu. Omukulu we kika bw’afa, abakulembera Amasiga ga Ŋŋaali bonna ekkumi n’omukaaga (16), batuula ne beerondamu gwe balaba ng’anaasobola okutambuza ekika kyabwe obulungi nga basinziira ku bisaanyizo ebikulu bitaano, era bye bino:
1. Obujjumbizze omuntu oyo bwazze alaga mu nsonga z’ekika naddala okwetabanga mu nkiiko z’ekika ssaako okukola emirimu gy’ekika emitongole.
2. Obusobozi n’obumanyirivu mu kukulembera abantu.
3. Obwagazi bw’alina eri ekika kye nga bweyolekela mu kwewangayo okukolerera ekika awatali: Kulinda kutumibwa, okulagirwa oba okusuubira akasiimo oba empeera.
4. Obuzaale bwe buteekwa okuba nga tebutankanibwa.
5. Essiga lyakulembera liteekwa okuba nga tebalikaayanira.
Mu b’Amasiga bwe mutaba asaanidde; omukisa guweebwa omuzukkulu yenna mu kika alina ebisaanyizo ebisooka ebina ebimenyeddwa waggulu.
Buzooba bwe Butaka bw’abeddira Ŋŋaali kubanga Maweesano eyasikira Malechu we yassa embuga ye era we yaziikibwa. Bo bajjajjaabe tebaatuuka Buzooba era ssi we baaziikibwa. Kisaanye kijjukirwe nti olw’ebiyigannyizo ebingi ssaako okwekweka mu bika ebirala bajjajjaabwe bangi abakulembera ku kika kya Ŋŋaali abatajjukirwa era abatayogerwako.
Eky’okulabirako; mu mirembe gya Kabaka Ssemakokiro (1767-1814) baayiganyizibwa nnyo, Kabaka bwe yalagira nti Ab’ennyonyi bonna banyagibwe oluvannyuma lw’ekinyonyi ekiyitibwa Kimbagaya okugwa ku nnyumba ye eyali ku lusozi Kitende we yali akubye ekibuga. Mu bbanga eryo abeddira ennyonyi bangi nnyo battibwa, n’obutaka bwabwe ne bubaggibwako. Abaawonawo kwe kudduka, abamu ne beekweka mu Bika ebirala. Awo nno we waava enjogera egamba nti: “Okinsombedde, Kimbagaya yakisombera Balama”.
Mu kiseera ekyo ab’eddira Ŋŋaali baalina jjajjaabwe Misinde eyali omusajja eŋŋwaŋŋuli era enjasabiggu mu kulwaana, mu kumeggana ne mu by’amagero ebirala bingi. Ekyo kyaleeteranga abantu ab’emiziro emirala okukwatirwa aba Ŋŋaali obujja obuyitiridde ne batuuka n’okubitebyeka nti aba Ŋŋaali beekuluntaza olw’omuziro gwabwe okuba n’engule.
Ekiwendo bwe kyagwawo, kajjampuni n’abalagala mu bbwa. Ekyo kyaletera aba Ŋŋaali okutiira ddala okuvangayo mu lwatu ne beeyogerako oba okulannya e Mbuga. Na buli kati, bakyalina amankwetu. Kubanga emikolo mingi egikwata ku Buganda tebatera kubaayo bangi. N’abatono abo ababaayo tebatera kweyogerako mu lujjudde. Jjajjaabwe oyo Misinde olw’obuzira bwe; yaweebwa omutuba mu ssiga lya SSEKISONGE.
ERINNYA MAWEESANO LITONGOZEBWA
Erinnya Maweesano lyatongozebwa okuba ery’omukulu w’ekika ky’abeddira Ŋŋaali kubanga mu byafaayo by’Ekika, yatambuza bulungi nnyo emirimu gy’e Kika. Y’eyaasinze okuzaala ab’amasiga abasinga obungi.Ye mukulu w’Akasolya eyabanga era n’aziikibwa ku butaka e Kaabaana Buzooba. Yayatiikirira nnyo mu mulimu gwa bajjajjaabe ogw’okuweesa: Amafumu, enkumbi, enkato, obwambe, emiwunda, embazzi, n’ebirala. Anti erinnya Maweesano lyava mu kuweesa.
Maweesano ng’amaze okukkalira mu bukulembeze bw’ekika oluvannyuma lw’okusikira Malechu, yatandikirawo okukumaakuma bazzukulu be. Yafuba nnyo okulaba nga baakulembera baba bakozi nnyo. Baalya ebibanja ku mitala mingi egyetoolodde Buzooba nga: Kajuna, Migamba, Bulenge, Butenzi, Mbira, Buyaga, Naruzaali, Buwanga, Bukakkata, Luvule, Kalinga, Kasaka, Kitabyama, Bakijjulula, Kiweesa, Kyamabaale, Kikonge, Kakunyu, Nkoni, Kajjumba, Kiryankuyege, Kassunga, Mazinga, Kiyumba, Nyendo. Wammaggwe, olubalama lw’ennyanja Nabugabo ne Nalubaale ne balwefuga. Awo we baasinziira ne basaasaanira ebitundu bingi eby’essaza Buddu n’awalala.
Abantu bano baalima ensuku nnyingi ezigudde akaleka; mwe baasimbanga emituba olw’emigaso gyagyo enkuyanja naddala okuyimbulangako ebitentegere ebikomagibwamu embugo ezaayambalibwanga, ezeebikkibwanga, ezaakolanga entimbe, ezaaterekanga omuliro (enfuuzi) ezaaziikibwangamu abafu, n’emigaso emirala nfaafa. Era baalimanga emmere eyoomu ttaka nga balugu, kyetutumula, nandigoya, ebikongo, muwogo, lumonde n’ amayuuni.
Buzooba n’ebyalo ebirala ebyetoolodde ennyanja Nabugabo ne Nalubaale, byali bikwatiridde ebibira ebyakula ne biwola. Omwo mwebasimanga eddagala, kaama; era mwe baanoganga amatungulu, amabungo, amatugunda n’amakobe. Amakobe ga bika bibiri: Waliwo ekika ekiyitibwa “Nakakaawa”. Mukikula kyalyo liba ttono ate nga likaawa. Waliwo n’ekika ekiyitibwa “Nakatudde”. Lino liba ddene okusinga ku nakakaawa ate nga lyo terikaawa. Ate “Essinzi” ly’ekobe erigudde wansi ne limererawo.
Era mu bibira ebyo mwebaatemanga emiti: Egy’okuzimbisa; okukolamu ebivuga eby’ekinnansi ng’eŋŋoma, engalabi, n’okubajjamu amaato mwe bayiisizanga omwenge n’ag’okuvuba ku nnyanja. Era mu miti egyatemwanga mu bibira ebyo, Jjajjaffe Maweesano mwe yeebajjira eryato eryali eddene ennyo ng’era ggumu nnyo; mwe yawungukiranga okugenda e Bubembe mu bizinga by’e Ssese ewa Lubaale Sserwanga Mukasa omwana wa Wannema; n’ewa Lubaale Kyoto e Bukasa ne mu bizinga by’e Ssese.
Eryato eryo, Maweesano yalituuma ‘Kataliwa’ (Erinnya Kataliwa lituumwa abaana ab’obuwala nga lyabbulwa mu lyato lya Maweesano; erinnya ‘Sserwanga’ okutandika okutuumibwa mu kika kya Ŋŋaali lyatuumibwanga abaana abalenzi abawongerwanga Lubaale Sserwanga Mukasa ow’e Bubembe, ate era mu ngeri yeemu n’erinnya Kyoto lyatuumibwanga abaana abalenzi abaabanga bawongeddwa Lubaale Kyoto ).
Mu bibira ebyo mwe baasenyanga enku n’okukimangayo amazzi, okuttangayo enswa ensejjere ezibuuka mu ttumbi, ssaako okuyiggirangayo. N’olw’ensonga ezo ennyingi ezaabatwazanga mu bibira, Abasenja kwe kuzuulayo empuku gye baatuuma Kaabaana.
Empuku eno makula. Anti ngazi nnyo. Esobola okugyamu abantu abatudde nga kikumi. Mu biseera eby’entalo, gye baakwekanga: Abaana, abakazi n’abasajja abakadde oba ab’obulemu. Mu biseera eby’emirembe, abakazi gye baalekanga abaana ne bagenda okukola emirimu. Empuku eyo yaganja nnyo, era n’eyitibwanga akafo k’abaana; oluvannyuma ne yitibwa ‘Kaabaana’.
Empuku eno eri ku katunnumba, ate ku lubuubuto lwayo olw’eky’emanga, waliwo oluzzi, ng’amazzi gaalwo gava mu jjinja ne galyoka gakulukuta. Bw’ogenda ogoberera gye galaga, gakolera ddala omugga omunene ate emabbali w’oluzzi olwo we lusibuka, kiwanuuzibwa nti waalingawo ekitooke nga bwe kissa okw’omwezi, liba ttooke ate nga bwe kissa okw’enzikiza eba mbidde.
Ng’ovudde mu kibira, awaalinga embuga ya Maweesano okumpi ne we yaziikibwa; awo waaliwo ekiggwa nga kiyitibwa KYAMUGAGALA. Mbu omwo na mwo mwalimu omusambwa nga gutambulira mu musota.
OKUWEESA
Omulimu gw’obuweesi gwe gwaviirako omukulu w’ekika kya Ŋŋaali okuyitibwa MAWEESANO; gwe gwetooloolerwangako okwetaasa, okugaziwa n’okukulaakulana kwa Buganda. Kubanga Abaweesi baweesanga ebyuma bya ngeri nnyingi. Baweesanga amafumu, emiwunda n’obusaale ebyasobozesanga Abaganda okuyigga ensolo ezaavangako amaliba g’okwambala n’ennyama y’okulya; okwekuumanga; okutabaalanga, omwava okugaziya Buganda.
Baaweesanga enkumbi ezaabasobozesanga okulima emmere. Baaweesanga obwambe obunene abasajja bwe baakozesanga emirimu egitali gimu nga okuyimbula emituba omwakomagibwanga embugo z’okwambala n’okwebikka. Baaweesanga obwambe obutono n’ensolobyo abakyala bye baakozesanga okutegeka emmere. Baaweesanga empiso zebaatungisanga embugo. Baaweesanga enkato zebaalukisanga ebibbo.
Baaweesanga ensamba ezoomu bulago ezaayambalibwanga olw’obuyonjo, n’okwawula Obwami obw’Ebitongole. Baaweesanga endege ezaasibibwanga ku magulu g’abaana abato era n’ezabakazannyirizi. Baaweesanga embazzi ezo: Okutemesa emiti, okwasa enku, okubajjisa amaato agasaabaza abantu ku nnyanja, amaato mwe baasogoleranga omwenge, ebinu, n’emmanvu.
Baaweesanga ebide ebisibibwa mu bulago bw’embwa nga zigenda okuyigga. Baweesanga ebyuma ebiyitibwa ensinjo ezaatemanga ebyuma binnaabyo. Baaweesanga ennyondo ezaaweesezanga ku mayinja agaayitibwanga “Amayijja”, okwo Omuweesi kw’aweeseza.
Ku mirembe gya Kabaka Nakibinge (1440-1490), abaweesi kwe baafunira ennyo ekitiibwa n’etutumu, kubanga baaweesa buli ngeri y’ebyuma byonna eby’okulwana n’abalabe baabwe. Mu budde obwo, ebyuma baasakanga bisake okuva e Bunyoro era olw’okubeera n’ebyuma ebitono, Kabaka Nakibinge bwe yali ng’alwana n’abalabe be, amafumu gaamuggwaako n’atandika kulwanyisa emmuli, mukazi we Nannono ze yamusongoleranga, n’alwanyisa ezo, era n’awa ne basajja be.
Kabaka Mawanda (1740-1760) yasenza Omunyoro erinnya lye Kakonge, n’amuwa ekyalo Namumira, n’abeera omwo ng’afukuta amatale kubanga amayinja g’e Bukunja ku lububuuto lw’e nnyanja Nalubaale, galimu ebyuma bingi.
Ekitabo ekiyitibwa EMPISA Z’ABAGANDA, kigamba nti Kabaka Jjunju (1780-1797) bwe yawangula Obuddu, awo n’alyoka afuna abaweesi baayo bangi, abamanyidde ddala okufukuta n’okuweesa. Mu biseera ebyo, mu buli Ssaza mwabeerangamu omukulu w’Abaweesi.
Walukagga ow’Akasimba ye yakuliranga abaweesi bonna aboomu Buganda. Obutaka bwe buli Kibugga mu Butambala. Wamala ow’Engeye, oyo ye yafuganga Abaweesi b’e Ssingo. Bamungiriza ow’Emmamba, oyo ye yafuganga Abaweesi b’e Kyaggwe. Nankyama ow’Olugave, oyo ye yafuganga Abaweesi b’e Bulemeezi. Sserugooti ow’Emmamba, oyo ye yafuganga Abaweesi b’omu Busiro. Kayiwa ow’Ekkobe, oyo ye yafuganga Abaweesi b’e Mawokota. Mutagubya ow’Ente, oyo ye yafuganga Abaweesi b’e Buddu. Obutaka bwe buli Nkenge okumpi ne Kyotera. Abaweesi baabeeranga ba ddembe, nga tebakwatibwa mu kiwendo, era akabonero kaabwe; buli muweesi yayitanga n’ennyondo entonotono mu mukono gwe, okwo kwe baamulabiranga bw’ali Omuweesi.
Oluvannyuma lw’okunnyonyola obukulu obwabanga era obukyali mu kuweesa; kati kitegeerekese bulungi nti abeddira Ŋŋaali baakola kya magero okusalawo okuyita jjajjaabwe Omukulu w’Akasolya kaabwe erinnya eriva mu mulimu ogwettendo era ogutagooka gwe baakolanga.
Ennono y’okuweesa mu kika kya Ŋŋaali era eyongera okweyolekera ku mannya g’amasiga abiri; erya Byoto Kintu eriri e Butenzi mu Buddu n’erya Kyoto eriri e Kyanika Kakooge mu Buluuli; n’erinnya Zabuuma anti amannya ago gonna gakwatagana na kuweesa.
OMUBALA
Olw’obulungi n’obugazi bw’empuku ye Kaabaana, Maweesano ne bazzukulu be baatandika okugibeerangamu. Maweesano yagituuma erinnya KAABAANA olw’ensonga nti abaana baagibeerangamu bulungi, omusana ne bwegwayakanga gutya nga tegubatuukako yadde enkuba nga tebakuba. Awo nno empuku eyo n’eba nga ye Kaabaana Omulezi w’Abaana. Abeddira Ŋŋaali beesiimye okuba n’ekijjukizo ky’empuku ba jjajjaabwe mwe baabeeranga anti n’ebyawandiikibwa Ebitukuvu na byo biraga bulungi ng’empuku bwe zaakozesebwanga mu mirembe egy’edda.
Kiwanuuzibwa nti mwalingamu ENGO, naye nga tebakolako kabi konna!!! Awo nno ne balowooza nti engo eyo gwe musambwa gwabwe ogubakuuma. Kigambibwa nti na buli kati engo eno ekyalira abeddira Ŋŋaali mbu era bannamukisa bagiraba. Ekibira ekyo kyonna ekirimu empuku eyo, na kyo kyakazibwako erinnya erya Kaabaana. Okwo kwe kwava Omubala gw’abeddira Ŋŋaali akukubibwa nti: “Tudde, Tudde e Buzooba, mu Kaabaana mulimu Engo, bampe Omuggo Nnewerekere, bwendi wa Ŋŋaali mbuuse, mbuuse”.
Amakulu gali nti: Tudde e Buzooba anti bwe butaka; mu Kaabaana anti ye mpuku Abasenja gye baazuula ne batandika okugibeerangamu ne bazzukulu baabwe; mulimu engo anti y’Engo eyajjanga n’ebasanga mu mpuku, naye n’etabakolako kabi konna; Bampe omuggo nneewerekere, anti olw’okuba abeddira Ŋŋaali baali bamaamidde emitala gyonna egyetoolodde ekibira kiri ekyatuumibwa Kaabaana; banyweranga omwenge emitala n’emitala.
Obudde bwe bwabazibirirangako nga tebanadda ka, baatandikanga okwelaliikirira okuyita mu kibira ekyo Kaabaana; kwe kusaba omuggo. Bwendi wa Ŋŋaali mbuuse; asabye omuggo yalabanga tebagumwanguyizaako, nga atambula tasiibudde! Naye bwe waayitangawo akaseera, be yalinga anywedde na bo nga batandika okwebuuza nti eyasabye omuggo aluwa?! Ko abanywi abalala nga baddamu nti nga bwali wa Ŋŋaali abuuse!
Kiwanuzibwa nti Engo eyo teyakomanga ku kubeera ku mpuku wokka ne mu mpuku mwokka; kigambibwa nti era yalambulanga n’ab’eddira Ŋŋaali abalala abaabanga mu bifo ebirala. Mbu era omutaka bwe yafanga, Engo eyo yalabwanga ku lumbe ekiro! Olw’okuba abantu baagyekanganga, baatandika okutya okukanganga banaabwe nga bababuuza nti engo mugirabye?! Ne basalawo okubuuzanga bannaabwe nti: EKINTU mukirabye oba MWAKIRABYE?! Eyo n’eba ensonga ey’okubiri abeddira Ŋŋaali kwe baava okwetuuma erinnya lya “KINTU ne NAKINTU”.
OBUWANGWA BWA BASENJA ABEDDIRA ŊŊAALI
Ekiseera nga kiyiseewo, nga abantu tebakyasula mu mpuku ey’e Kaabaana yadde okubeerangayo; abeddira Ŋŋaali n’abebika ebirala baagendangayo, nabuli kati bakyagendayo okusaba bye baagala, naddala abo abaabanga babuliddwa okuzaala.
Omuntu eyagendanga okusaba oluzaalo yafukamiranga mu maaso g’empuku n’asaba nti, “Ayi Kaabaana OMUCHWEZI, nkusaba ompe omwana. Nawasa omukazi, naye sirina mwana. Kale nnaakola ntya bwotonnyambe?” Kirowozebwa nti oboolyawo, empuku eyo Abachwezi be baagisamirirangamu. Ate era Abasenja n’Abayaga abali e Buyaga ne Bugangazzi mu Bunyoro boogerwako nga abaava mu luse lw’Abachwezi. Ate ng’abeddira Ŋŋaali beeyita Abasenja Abeddira Ŋŋaali. Noolwekyo kyandiba nga Kaabaana Omuchwezi wa mu buwangwa bwabwe.
Eyabanga agenze okusaba oluzaalo oba ekintu ekirala kyonna, yatwalangayo: Ekita ky’Omwenge omuganda, amagi g’enkoko, emmwaanyi, n’ensimbi. Ssaako n’okukumayo ekyoto. Enku ze baakozesanga mwabangamu akasaana, akasaanuula emikisa, omugavu n’omuzzaŋŋaanda.
Kizira okutwalayo enku ezivudde ku mutuba, gasiya ne muwogo. Abantu bano baayokerangayo ennyama n’amatooke ku Kyoto ekyo ne babirya, n’omwenge ne bagunywa. Naye nga tebookerayo byannyanja yadde okufumbirayo emmere n’enva. Abamu baatwalangayo enkoko n’embuzi ne babyanjulayo nga basabiramu bye baagala mu maaso g’empuku n’oluvannyuma ne babita ne bisigalayo nga biramu. Ababa baagadde okusulayo, nga basasirayo essubi eriyitibwa Kalenziwe, si kika kirala kyonna.
Nga tebannagenda ku mpuku, nga basooka ku kiggwa Kyamugagala awaalinga olukindu n’emiti emirala, nayo baakolerangayo emikolo gye gimu nga gye baakoleranga e Kaabaana; ssaako n’okukola obweyamo nga bagamba nti: “Bwendifuna kye nsabye, ndireeta ekita ky’omwengen’embuzi okwebaza”. Nabuli kati, abantu bagendayo olw’ensonga ez’enjawulo. Bo bennyini ze beemanyidde.
OMUSENJA SSERWANGA EYASULANGA MU KIBIRA KYE KABAANA
Olupapula lw’amawulire oluyitibwa: The New Vision olwafuluma ku Saturday, July 24, 1999; ku muko ogwe 16. Lwogera ku Patrick Sserwanga eyeddira Ŋŋaali eyamala emyaka nkaaga nga asula mu mpuku y’e Kaabaana, nga talya mmere nfumbe, tanaaba, tasenya, ng’ayambala lubugo n’ekutiya, nga tamwa kirevu wadde enviiri, era nga talina mikwano yadde okuseka oba okumwenya!
Yafa talina mwana; kigambibwa nti obulamu bwe bwonna teyaganza mukazi yenna era yali tayagalira ddala bakazi. Sserwanga yazaalibwa ku kyalo Buzooba, n’asomera mu ssomero lye Kajuna okutuuka mu kibiina eky’okuna, n’alyooka adduka mu ssomero eryo; n’ayingira mu kibira ekyayitibwanga Kiduduma omuli empuku y’e Kaabaana. Kigambibwa nti yaliko omusambwa Kaabaana era mbu ng’asobola okugaba obugagga, oluzaalo n’okukolima.
Yalina obwangu obusingira ddala obw’omuntu owa bulijjo; era nga alinnya emiti nga asinga n’enkima okutanda! Y’ensonga abantu kye baavaako okumutwaliranga eby’okulya ebyokye, ebibala, embugo n’ekkutiya eyo mu mpuku gye yasulanga, ne basabanga bye baabanga beetaaga. Sserwanga yafa mu mwaka gwa 2004 nga aweza emyaka nga kyenda; yaziikibwa ku kyaalo Lubanda ekiriraanye Buzooba ku kijja kya Yafesi Ssemmondo Nsiyaleeta.
Eddie Ssejjoba, Omukuŋŋaanya w’amawulire ga The New Vision ye yawandiika ebikwata ku Patrick Sserwanga. Eyo mu kibira awali empuku Kaabaana, Munnamawire yatwalibwayo Richard Nkunnyingi mutabani wa Eriya Kizza, muzzukulu wa Yafesi Ssemmondo Nsiyaleeta ate era nga wa luganda ne Patrick Sserwanga ayogerwako.
Omusenja Omutaka Muhamadi Zziwa Kantunsimbi owe Nalubudde mu Busiro nga ye w’Essiga lya Nsamompya mu kika kya Ŋŋaali, eyali omukozi mu Makerere University mu Faculity Of Technology agamba nti Kaabaana MUSAMBWA era mulongo. Mukyala we Nnaalongo, y’azaala abalongo Luwemba ne Naluwemba. Yalina ejjembe lye nga liyitibwa Namuzinda nga mukazi waalyo ye Nalukindu era litambulira mu Nsweera; nga ate ye Kaabaana atambulira mu Ngo.
Era ayongera n’annyonyola nti: “EKIGGWA kizimbibwa ku musingi gwa musajja aliko ebifundikwa ebiwera. Si nsonga ne bwataba musamize. Kasita aba nga alondeddwa era nga asobola okukuuma obulungi ekiggwa ekyo. Ne bwabeera omuvubuka, na kyo tekiriimu bukyamu bwonna, ekikulu kukuuma buvunaanyizibwa. Naye ekiggwa tekizimbirwa ku mukazi. Ate lyo ESSABO lyawukana nnyo n’ekiggwa. Essabo terizimbibwa ku muntu ATASAMIDDE. Terisosola oba mukazi oba musajja. Era lisobola okuzimbibwa awantu wonna.
Essabo terirondoola wa weryaali, naye ekiggwa kirondoola edda we kyali. Singa Ekiggwa ekyo kyakusengulwa wabaawo emikolo egikolebwa oku kisengula okuva ku mutala ogwo we kyaali. Ekiggwa kisengulwa nga waliwo ensonga enkulu. Okugeza ng’ekifo we kiri okugulwa, okusindiikirizibwa oba obutajjukirawo. Bwe kiba kinaasengulwa, awo we kiri, oba ku kyalo kwe kyali (bwe kiba nga ekifo kye nnyini tekikyajjukirwa); wateekebwawo ekita ky’omwenge ne kattamukago. Awo we kiri, oba we kyali, wajjibwawo ettaka ne watemwawo omuti ne bitwalibwa awapya. Omuti ogutemeddwa gutekebwa mu kasolya mu kitikkiro kye kiggwa ekipya ekiba kizimbiddwa.
LUBAALE
Eddiini nga tennajja, abeddira Ŋŋaali okufaananako n’ab’ebika ebirala bakkiririzanga nnyo mu mizimu, amayeembe, lubaale, emisambwa, emmandwa, abalongo, n’ebirooto. Kigambibwa nti ba lubaale baali bantu ddala wano mu Buganda abaakolanga eby’amagero ebisukkulumye kukutegeera n’obusobozi bw’omuntu nga bamaze okufa.
Abaganda olw’okusangibwa nga bakkiriza dda nti waliwo ebitonde ebisinga omuntu amaanyi n’obugezi era ebiyinza okuwonya oba okulwaza n’okutta abantu; y’emu ku nsonga kye baava bakkiriza amangu okusoma eddiini empya nga zizze. Ng’ey’Abayisiramu, ey’Abapulotesitanti ne y’Abakatuliki.
Kaakano, Abasenja abeddira Ŋŋaali mpozzi n’abantu abalala bakimannyidde ddala nti lubaale ssi Katonda akiririzibwamu abasomi ka babe Basiraamu oba abagoberezi ba Kristu. Ky’ekivaako Abasawo ab’ekinansi bwe baba bagaba eddagala egganda balaamiriza nti “KATONDA NGA AYAGADDE OJJA KUWONA, OBA OKUFUNA KY’OSABYE”. Baba tebategeeza lubaale Katonda ow’e Butonda mu Kyaggwe ab’Enjovu gye baali bakabona.
Lubaale Katonda yalina ebiggwa bisatu ebikulu: Namakwa; Buzu ne Bukule. Ebiggwa ebyo byonna byali mu Kyaggwe era buli awaabanga ekiggwa kya Katonda, Abaganda baayitangawo Butonda. Ab’Enjovu be baali ba kabona ba Katonda. Katonda teyalina kitaawe era naye teyazaala baana.
KABAKA DAWUDI CCWA YATONGOZA EKIKA KYA ŊŊAALI MU 1907
Aba Ŋŋaali baakolanga emirimu egy’enjawulo. Nga mwegyo mwe mwali: okukomaga, okuweesa, okuyigga, okulima, okuvuba, n’okubajja. Ebyo byonna baabikolanga olw’okwebeezaawo mu bulamu bwabwe obwa bulijjo. Nga Kabaka Jjunju (1780-1797) amaze okugatta Buddu ku Buganda, abeddira Ŋŋaali baali tebamaanyiddwa nnyo mu Buganda, newankubadde nga baakomaganga embugo z’Abambejja n’abaami ba Kabaka.
Kyokka ate oluvvannyuma lw’okumanyika, babalirwanga wamu n’Abennyonyi endala; nga bonna bakulemberwa Omutaka Kakoto Mbaziira Omukulu w’ekika ky’Enyange. Ng’Ekika kya Ŋŋaali kitwalibwa nga Ssiga. Ekyewuunyisa nga ne mu masiga agatuuka ku Mbaziira ow’ennyange oba Bugingo Kyeyune owa Nnakinsige; Ŋŋaali taliimu! Ekika kya Ŋŋaali okubalibwa ng’Essiga ly’Ennyange, na kyo kyandiba nga y’emu ku nsonga eyabalemesa okubaako omulimu omutongole gwe bakola mu lubiri ku Kabaka.
Mu byafaayo by’Abennyonyi, Sir Appolo Kaggwa yawandiika nti: “Abasenja be beddira Ŋŋaali, jjajjaabwe ye Malechu. Obutaka bwaabwe obukulu Buzooba ne Kikoma”. Ebyo byawandiikibwa mu kitabo ky’e Bika bya Baganda, ku lupapula 113.
Wano jjolyabalamu, Kabaka Dawudi Ccwa II K.C.M.G.(1897-1939) bwe yalya obwakabaka nga 8/8/1897; yalagira ebika byonna ebyali byekwese mu binnaabyo biddeyo mu nnono zaabyo. Mu 1907, ng’Omutakaa Biraze muzzukulu wa Maweesano ye mukulu w’Ekika kya Ŋŋaali; Erenest Kaggwa eyasikira Twalofune; yagenda ne yeeyanjula eri Ssabasajja Dawudi Ccwa II e Mengo mu Lubiri.
Erenest Kaggwa yategeeza Ssabasajja ng’abeddira Ŋŋaali bangi kubo; baali beekwese mu bika ebirala olw’ekiwendo ekyatta ab’enyonyi ku Mikookiro (1797-1814); ate n’okuyingiza abe Nnyonyi zonna ewa Mbaziira ow’Ennyange ku mulembe gwa Mwanga II (1884-1888). Yamujjirayo amazima n’amutegeeza nga bwe yeddira Ŋŋaali. Yayongera n’ategeeza Omutanda nti Obutaka bwabwe obukulu buli Buzooba; era balinako emisambwa gyabwe emikulu ebiri:
1 Ogutambulira mu Ngo nga gubeera mu Mpuku yaabwe eyitibwa Kaabaana.
2 Kyamugagala ogutambulira mu Musota. Ogwo omusambwa guli mu Lukindu.
Yayongera namunnyonnyola nti abakulu b’Amasiga mu Kika kya Ŋŋaali abamanyiddwa Omutaka Mbaziira bali basatu bokka:
1. Erya Luwemba e Buzooba mu Buddu.
2. Erya Namunga e Buzooba mu Buddu.
3. Erya Mulagwe e Buzooba mu Buddu.
Yamumalirayo nti Mpabuka ye jjajja w’Abasenja abeddira Ŋŋaali ow’oluberyeberye okuva ku Kabaka Kintu (1200-1230). Nti era aba Ŋŋaali bataka ba dda nnyo mu Buddu, baasibuka eyo mu Lusozi Masaba mu Bugisu. Okutuuka ku butaka e Buzooba, baayitira Kiyima e Mawogola, baabo e Kawoko mu Buddu, n’e Buculo ekiriraanye e Bwala e Masaka. Okuva awo, badda Mazinga; n’oluvanyuma kwekudda e Buzooba. Mu Budde obwo, Buddu yali ekyafugibwa Kabaka w’e Bunyolo.
Mpabuka bwe yafa, mutabani we Mutalengwa n’amusikira.
Mutalengwa yaddirirwa abataka abawerako abatamanyiddwa okutuuka ku Mbidde.
Mbidde bwe yafa, Malechu n’amusikira.
Malechu bwe yafa, Maweesano n’amusikira.
Maweesano bwe yafa, Bisobye n’amusikira.
Bisobye bwe yafa, Byakufumba n’amusikira.
Byakufumba bwe yafa, Twalofune n’amusikira.
Twalofune bwe yafa, Biraze n’alya obwa Maweesano.
Omubala guloma nti: “Tudde, Tudde e Buzooba; mu Kaabaana mulimu Engo; mumpe omuggo nneewerekere; bwendi wa Ŋŋaali mbuuse”. Kabaka bwe yamala okumuwuliriza obulungi; mu mwaka 1907 yasiima n’atongoza Akasolya k’ekika kya Ŋŋaali ok’omutaka Maweesano ng’Obutaka bwe buli Buzooba mu Buddu mu mwaka 1907.
Biraze bwe yafa, Ab’amasiga bonna baatuula e Buzooba nga 9 December 1956 bonna ne balonda Omutaka Erenest Kaggwa ava mu Ssiga lya Mulagwe okulya obwa Maweesano. Era baaweereza Ssabasajja Muteesa II (1939-1969) ebbaluwa eyamumwanjulira. Naye n’asiima n’amutongoza.
Awo e Buzooba ku Butaka, abeddira Ŋŋaali baalinawo yiika kkumi na ttaano; zaalabirirwanga Satulo Byantuuyo mutabani wa Najjakulya Ibrahim, muzzukulu wa Namunga. Ekyennyamiza, omusika wa Satulo Byantuuyo, omugenzi Ssaalongo Luwemba Crispus ettaka eryo yalyekomya! Era n’atundako ebibanja! Ekika bwe kyamukayanya ennyo; kwe kuwandiika endagaano egamba nti: “ Ekika akiwaddeko yika ttaano omuli ekiggwa n’agamu ku malaalo”. Yo empuku Kaabaana eri mu ttaka lya Kanisa ye Kajuna.