Ffumbe (Civet Cat)
Totem
Akabbiro
Clan Leader
Estates
Ssaza
Omubala Clan (motto)
ENSIBUKO Y’ERINNYA WALUSIMBI,N’ENTANDIKWA Y’EKIKA KYAFFE EKY’EFFUMBE.
 Ensikirano ze kika ky’Effumbe zatandikira ku jajja ffe Buganda Ntege Walusiri, oluvanyuma olyafuuka Walusimbi.
 
Jjajja ffe oyo yalina amannya amalala mukaaga,era nga ge ganno:
1.      Nnansangwa
2.      Wuuyo
3.      Laba
4.      Wanga
5.      Beene
6.      Walusiri.
 Jjajja ffe Buganda Ntege Walusiri Walusimbi, yawasa abakyala abaweerako,yadde nga basatu (3),bokka be basinga okumanyika,nga be banno wamanga:
1.      Kaddulubaale Nnakalaama Nnaalongo.
2.      Kabejja Bandi.
3.      Muwanika Nnassaza.  
Abakyala abo awamu n’abalala,bazaala abaana bangi ddala,naye nga mu bo banno be basinga okujjukirwa:
4.      Makubuya
5.      Kisitu Ntege
6.      Winnyi Wasswa.
7.      Kintu Kato
8.      Bukulu,
9.      Sebaganga 
10.   Ntende
11.   Nanngoma
12.   Lukidi
13.   Ssese
14.   Kkeya
15.   Ndimuwala
16.   Nansangwawo
17.   Muganwa
18.   Mbuubi
19.   Ndibuuliriza.
Jjajja ffe Buganda Ntege yayatikirira nnyo mu mulembe OMUWAWA,ensi n’etandika okuyitibwa Buganda, erinnya lye,na gunno gwaka.Bw’atyo yawangaala nnyo ku bwa Kabaka bwe e Lunnyo,wabula oluvanyuma yatambula n’agenda akuba olubiri e Busawuli okumpi ne Mende mu Busiro,gye yabeera okutuusa lwe yakisa omukono.Bwe yali tannaterekebwa,bamujja oluwanga ne luzibwayo e Lunnyo mu lubiri lwe oluberyeberye,nga na gunno gujjwa gye lukuumirwa,ate amagumba ge ne gaziikibwa e Busawuli mu masiro ge. 
 Jjajja ffe Buganda Ntege Walusiri Walusimbi yasikirwa mutabani we MAKUBUYA KKONGE WALUSIMBI ,eyasalawo okuteeka embuga ye ku kasozi akayitibwanga KISIRIKIKADDE, kakkano
BAKKA mu Busiro, Omusika wa Jjajja ffe Buganda Ntege Walusiri Walusimbi, Makubuya
Kkonge,bwe yakisa omukono,yaziikibwa ku kasozi Makubuya e Bakka mu Busiro,awasibuka OMUTUBA SSABALANGIRA KASOLO.Bwe gutyo ye yasikirwa Muganda we KISITU  NTEGE WALUSIMBI.
Ku Jjajja ffe ono mutabani wa Buganda Ntege Walusiri Walusimbi,kwetutandikira okweddira Effumbe.
Baano be baana ba jajja ffe KISITU NTEGE WALUSIMBI abamanyibwako beyazaala:
Abalenzi.
1.      Nazinkumywe( yeyamusikira
2.      Walusiri 3- Lwegula
3.      Waswa
4.      Fumu
5.      Bukulubwawadda (Nagaya)
6.      Kantuntu
7.      Kaweesa (Magunda)
8.      Sejjala (Sempala)
9.      Kyomwa
 
Abawala
1.      Nsinjo
2.      Nawanana
3.      Nabakka
4.      Nakisozi
5.      Zawedde
 
Oluvanyuma lw’okutega omutego,ogw’akwasa akasolo akaamuluma ku kisambi, n’akuba enduulu olw’obulumi.
Mutabani we omukulu MAKUBUYA KITAGENDA BUKULUBWAWADDA,yasooka okumutuukako,wabula n’annyoma akasolo era bwajjeregerera Kitaawe nti,” akasolo akatono kati ke ka kukabya amaziga,olimba Taata”.
Muwala we KIKUKU,ye   yajja n’ekibajjo ky’oluku, Mwannyina kye yakozesa okutta akasolo.
Omulenzi Ow’okubiri, KAWEESA NTEGE,naye yatuuka,era olwalaba ekiwundu kya Kitaawe,nanoga omuddo oguyitibwa AMAGUNDA, okusobola okujjanjjaba Kitaawe.
Omulenzi Ow’okusatu, Ssejjala,ye yajja na muguwa gwe yasiba mu kasolo okusobola okukawalaawala okukasula ku nsiko.
Abaddukiirize bajja bangi ddala era nga bakakkasa nti akasolo ako lyali Ffumbe,wanno Jjajja ffe Kisitu Buganda Ntege Walusimbi yayongera okukalaatira abantu bonna abaliiwo ,nti tewabanga mwana oba muzzukulu we addamu kuyiga,oba kulya Ffumbe. Okuva olwo Effumbe lyafuuka omuziro gwaffe.
 Akabiiro: Kikere ekya NAWAKKONYI.
Awo ekikere we kyafuukira Akabbiro k’ekika ky’Effumbe!
Omubala ye nvuga y’enngoma ekubibwa mu kika okutuukiriza ennono,n’obulombolombo bw’ekika,nga eyawula ebisoko n’ebika ebirala.
Omubala gw’ekika kyaffe gulimu ebisoko Bina(4).
1.      Galinnya – Galinnya e Bakka!
Jjajja ffe Omutaka atujjukiza nti buli ayagala okumulaba,okulya ebigaggu,alina kulinnya lusozi Bakka,awasangibwa embuga ye,era ye nsonga lwaki ab’Effumbe tuba n’okulamaga e Bakka ku butaka buli nkomerero ya mwaka,mu mwezi ogwa  Ntenvu,ddimansi 
Ey’okubiri, olunnaku olwa Wamunyenye,okutukira ddala ku lunnaku olwa Wanga,  
1.      Basengejja – BannywaOmwenge!
 
Lwaki olwo,Omutaka Mugema, ku mutala oguliraanye Bakka,n’aleega enngoma nga evuga,”Ssennya Enku,Twokye Ennyama”.Omutaka Walusimbi yasitukiramu nga eyatega ogw’ekyayi agende alye ku nnyama,wabula teyasangayo yadde akanyooka! Bw’atyo yavayo ssi musanyufu,era nga wayise ekiseera, Omutaka Walusimbi naye yaleega enngoma,nga ayongeramu ekisoko ekigamba,”Basengejja,Banywa Omwenge”. Omutaka Mugema olwawulira,n’akwata endeku ye,agende yenywere ku mwenge,wabula bwe yatuuka yo nga teri yadde enkanjja.Wanno   we wava n’olugero lw’ekiganda  olugamba nti,”Akufumbira ey’omutwe,omufumbira ya bigere,ne mwenkanya evumbe”.
1.      Kakozakoza,Tolikoza mu lw’Effumbe!
Ekisooko kino kyaleegebwa olw’ekigendererwa ky’okulabula bazzukulu ba Walusimbi okuba abegendereza baleme kuggwa mu mukwano kufumbirihannwa,kuba ekyo tekikiirizibwa wano mu Buganda!
 
5       * Kasolo ki, Ffumbe, × 3!
6       Enngoma eno yaleegebwa okusobola okujjukira olunnaku luli Effumbe lwe lyaluma Jjajja ffe Kisitu Buganda Ntege  Omutaka Walusimbi,kubanga yabuuza emirundi,n’emirundi,nga ayagala okumanya, n’okukakkasa kasolo ki akaali kamulumye,abali bakamanyi bamale bamutegeeze nti Ffumbe!
 
.ENTANDIKWA Y'AMASSIGA MU KIKA KY'EFFUMBE!
Entandikwa,n'entuuma y'amassiga mu kika ky'Effumbe yesigamizibwa nnyo ku buvunanyizibwa abaana abasatu abalenzi bwebakola nga akasolo kalumye kitabwe .era buli siga lyatumibwa erinya elyomulimu omwana wa kisitu bweyakola nga akasolo kamulumye ,abalenzi basaatu beyaziziikira amassiga.
Bukulubwawadda ye yafuka NAGAYA,ly'essiga ekkulu mu kika ky'Effumbe,olw'okugaya akasolo .
Obutaka bwe busangibwa BULEZA Kitooke Bakka mu Busiro.
Jjajja ffe kakkano ali mu kifundikwa ekyo ye KIGOZI LAMECA ELLY,nga Nagaya ow'ekkumi n'omunaana (18) mu kifundikwa ekyo!
1.      MAGUNDA e Lwanga e Mpigi Mawokota,
Lye Ssiga ery'okubiri,ekikolwa ky'okunoga AMAGUNDA ku ttala okusobola okujjanjjaba kitaabwe, Jjajja ffe KAWEESA NTEGE,kwe kufuna erinnya erya MAGUNDA!
Obutaka bw'essiga linno, busangibwa LWANGA,e Mpigi Mawokota.
Jjajja ffe olwa leero ali mu kifundikwa ekyo ye SSAABWE IRN PHILLIP NSIBAMBI!
1.      SSEJJALA SSEMPALA,
Lye Ssiga ery'okusatu, ekikolwa kya Jjajja ffe Ssejjala okujja n'omuguwa okusobola okuwalaawala akasolo akasule ku nsiko,kwe kufuna erinnya erya SSEMPALA.
Obutaka busangibwa BUGANGANYA,Bulamba,Kanyanda,mu Bulemeezi,
Jjajja ffe ali mu kifundikwa ekyo ye LUBWAMA MULIRAANO DAVID MUSISI!
EMITUBA EBIRI (2) EGY'ENKIZO;
1  * OMUTUBA GWA SSAABALANGIRA KASOLO,
Gunno gukolebwa EMITUBA egiweerera ddala kumi n'etaano(15),nga banno be baana ataziziikirwa masiga bo basigala mu busika bwa kitaabwe. 
Omutuba guno gwe guvaamu abalya obwa Walusimbi, Omukulu w'akasolya k'ekika ky'Effumbe,nga gwetuukira buteerevu ku kasolya,
Obutaka bwagwo busangibwa ku Kasozi MAKUBUYA e Bakka mu Busiro, Jjajja ffe ali mu kifundikwa ekyo nga omukumi  ye HAJJI ABDUL LUBWAMA MUSOKE!
2  * OMUTUBA GWA KAJOBA MUKASA KAWUNGU,
Guva mu Ssiga lya Magunda e Lwanga, Mpigi Mawokota,wabula nga gwetuukira buteerevu ku kasolya k'ekika ky'Effumbe,
Obutaka bwagwo busangibwa BUWUNGU Mawokota,
Jjajja ffe ali mu kifundikwa ekyo ye KAJOBA ARNOLD
 
Omutuba gunno gwe gutulobera okwetaba mu mato g'empaka mu bika bya Buganda.
EMITUBA EGIVA MU SSIGA LYA NAGAYA E BULEZA KITOOKE BAKKA BUSIRO.
Essiga lirina emituba asatu,mw'ebiri(32),era nga gye gino wamanga;
1.      Omutuba gwa KIMWA, e Buleza, Busiro.
2.      Omutuba gwa BANJWA,e Bumera, Busiro.
3.      Omutuba gwa SSENKUBA,e Sseeta, Bulemeezi.
4.      Omutuba gwa LUBAALE,e Lugeye, Busiro,
5.      Omutuba gwa LUBOOBI,e Bbiggo,mu Busiro.
6.      Omutuba gwa KATIKO,e Nampunge, Busiro.
7.      Omutuba gwa SSEKIJJULUNGA,e Kamuli,Bbika,mu Busiro.
8.      Omutuba gwa BUKULUBWAWADDA,e Kagaba,Mpigi, Mawokota.
9.      Omutuba gwa KANAALIRA,e Buyego,mu Bulemeezi.
10.   Omutuba gwa KIPPA,mu Kitooke, Bakka, mu Busiro.
11.   Omutuba gwa SSENKAABA,e Ggombe,mu Kyaddondo.
12.   Omutuba gwa BAKWERA,e Ggobero.
13.   Omutuba gwa KABBO,e Kkolo,mu Kyaggwe.
14.   Omutuba gwa NNYONDO,e Bbandwe.
15.   Omutuba gwa WOZAAMANGU,e Kasokoso,Kyaggwe.
16.   Omutuba gwa SSEFUUZI,e Kiwooko Bulemeezi.
17.   Omutuba gwa NASERENGA,e Kabuye, Bulemeezi.
18.   Omutuba gwa KATWE,e Buttu,Kyaggwe.
19.   Omutuba gwa MATOOMA,e Kabindula,mu Busiro.
20.   Omutuba gwa MAKUBUYA,e Ndogge, Ssingo.
21.   Omutuba gwa NAMUJJAGE,e Kimoggo, Busiro.
22.   Omutuba gwa SEBATENZE,e Kawolo, Kyaggwe.
23.   Omutuba gwa MUSAMIZI,e Ssemuto, Bulemeezi.
24.   Omutuba gwa LUTWAMA,e Namasuba, Bulemeezi.
25.   Omutuba gwa NAKYEWA,e Mifunya,Nakaseke,mu Bulemeezi.
26.   Omutuba gwa KATEEBE,e Buleza, Bakka mu Busiro.
27.   Omutuba gwa NNAMBAGO,e Kiggugu Bulemeezi.
28.   Omutuba gwa MBIDDEKYEKUTUMA,e Bunnwaya.
29.   Omutuba gwa MPEKE,e Sseguku.
30.   Omutuba gwa KIGUUMAAZA,e Kyambogo,Nakaseke, Bulemeezi.
31.   Omutuba gwa KYANGWE,e Ggangu, Bulemeezi.
32.   Omutuba gwa KADIBA,e Bugalaama,Ziroobwe, Bulemeezi.
EMITUBA EGIVA MU SSIGA LYA MAGUNDA E LWANGA,E MPIGI, MAWOKOTA:
2.      Essiga linno lirina emituba abiri,mw’esatu(22),era nga gye gino wamanga:
1.      Omutuba gwa KIYIMBA SSEBWALUNNYO,e Mpambire,Mawokota.
2.      Omutuba gwa KISITU KASAALI,e Busaali.
3.      Omutuba gwa SSNNOGA e Kisalalwe,Mawokota Kyebando,ekya Kyabaggu, Busiro. 4 * Omutuba gwa KAJOBA MUKASA,e Buwungu, Mawokota.
4.      Omutuba gwa KAFUMBE KAGOMBE,e Kizzi, mu Mawokota.
5.      Omutuba gwa SSENGENDO NKUGWA,e Masujju, Mawokota.         
6.      Omutuba gwa NNAWAMBWA,e Kkonge,mu Mawokota.
7.      Omutuba gwa SSENGENDO FFULU,e Nkumba,Ntebe.
8.      Omutuba gwa KALUMBA,e Bumoozi, Mawokota.
9.      Omutuba gwa NAGULAMBWA,e Buyima,mu Busiro.
10.   Omutuba gwa KIGUMBA,e Muwumbwe, Mawokota.
11.   Omutuba gwa SSENKAABA,e Bukulu.
12.   Omutuba gwa SETTEMU,e Lwanga, Mawokota.
13.   Omutuba gwa NAWALYANGA,e Ssazi, Busiro.
14.   Omutuba gwa KYALIKINYWA,e Kyoko,mu Buddu.
15.   Omutuba gwa SSERUKWAYA,e Kisalalwe, Lwanga Mawokota. 18  
16.   Omutuba gwa SSONKO SSERUKWAYA,e Lwanga Mawokota.
17.   Omutuba gwa SSENGENDO NTEGE JOGO,e Namulanda, Mawokota.
18.   Omutuba gwa KAYENGA,e Nkinga,Butambala.
19.   Omutuba gwa LUBOOBI,e Buvu, Busiro.
20.   Omutuba gwa SSEMUGOOMA,e Busaanyi.
21.   Omutuba gwa KALUMBA SSEMUGWERI,e Bumoozi.
 
EMITUBA EGIVA MU SSIGA LYA SSEJJALA SSEMPALA E BULAMBA,KANYANDA, BULEMEEZI:
 
 
1     * Omutuba gwa SSEKABIRA,e Mugomba.
2     * Omutuba gwa FFUMU,e Bubajjwe.
3     * Omutuba gwa MUGWANYA,e Mawale mu Bulemeezi.
4     * Omutuba gwa KATEMWE,e Mpwedde,Bbowa Bulemeezi.
5     * Omutuba gwa MUKOKA,e Ssekasi,mu Bulemeezi.
6     * Omutuba gwa WAMALA,e Buganganya, Bulemeezi.
7     * Omutuba gwa MAYAMBALA,e Ssenga,mu Kyaddondo.
8     * Omutuba gwa WANTE,e Kigozi Bulemeezi.
9     * Omutuba gwa MUJUMBULA,e Nnaama, Ssingo.
10  * Omutuba gwa KIRAALIRE,e Buganganya, Bulemeezi.
11  * Omutuba gwa BBUMBA LUKIZA,e Kalyankoko,mu Busujju.
12  * Omutuba gwa KIYIMBA SSEKASI,e Ssembwa.
13  * Omutuba gwa SSEKABIRA,e Mugomba.
14  * Omutuba gwa NTEGE BBUMBA AWAKULENNUME,mu Maggwa Bulemeezi.
15  * Omutuba gwa KABOTONGO,e Kagembe,mu Bulemeezi.
16  * Omutuba gwa MUWANGA BATINDA,e Kammanje,mu Bulemeezi.
17  * Omutuba gwa SSENKIMA BAYIZZI,e Buganganya, Bulemeezi.
18  * Omutuba gwa MUKODO,e Nakukuba, Kyaggwe.
19  * Omutuba gwa SENKU.
 
EMITUBA BAGANDA BA  OWOMUTUBA KASOLO, Abamufura  SSAABALANGIRA KASOLO,E MAKUBUYA, BAKKA BUSIRO:
 
1     * Omutuba gwa  KASOLO,e Makubuya, Bakka,mu Busiro.
        •                              Omutuba oguvaamu abalya obukulu bw’ekika ky’Effumbe, Omutaka Walusimbi,mwalondebwa,
2     * Omutuba gwa WANKOKO,e Kiromo Bulamba.
3     * Omutuba gwa NAKINSIGE,e Zzirannumbu, Kyaddondo.
4     * Omutuba gwa DDENZIBBI,e Ssekatuba Kabamba mu Bulemeezi.
5     * Omutuba gwa WAKIFUMBE,e Zzirannumbu, Kyaddondo.
6     * Omutuba gwa SSERUKWAYA,e Kawumu,
7     * Omutuba gwa NSOBYA,e Bakka Busiro.
8     * Omutuba gwa KIGOZI GUWAATUDDE,e Gganda, Busiro.
9     * Omutuba gwa SSOZI SSEKIZIMU,mu Busiro.
10  * Omutuba gwa SSETTIMBA,e Kiwawu Busujju.
11  * Omutuba gwa MUSALENNYOKA,e Bbaale mu Busiro.
12  * Omutuba gwa MUGULUMA WALUSIMBI,e Gganda mu Busiro.
13  * Omutuba gwa KIYIMBA WALUSIMBI,e Zzirannumbu Kyaddondo.
14  * Omutuba gwa KIRIMANNYI BYOTO,e Bakka Busiro.
15  * Omutuba gwa MAKUBUYA,e Bakka mu Busiro.
 
AGAMU KU MANNYA AGATUUMIBWA MU KIKA KY’EFFUMBE,
Abaana Abalenzi:
 
1       * Aligaweesa
2       2   * Akugoba
3       * Bakka (Lusozi)
4       4   * Battamyaga
5       * Balimire
6       6   * Baamutemawa
7       * Banaalya(Lugero) 8 8   * Baamunoonya
9       * Basomba
10    10 * Basajjamivule
11    * Byoto
12    12 * Bulamba
13    * Buganda
14    14 * Balintuma
15    * Balyokwabwe
16    16 * Balimwogerako
17    * Banjwa
18    18 * Bitambulirwa
19    * Birikoomwogezi
20    20 * Buzimuulu
21    * Bbombokka
22    22 * Bbumba
23    *Bukulubwawadda 24 24 * Kibalizi
25    * Kirabira
26    26 * Kyaligamba
27    * Ddenzibbi
28    28 * Ffumu
29    * Gafuma
30    30 * Galikuntugu
31    * Gaasaaka
32    32 * Ggolola
33    * Kaweesa
34    34 * Kafumbe
35    * Kalumba
36    36 * Kasolo
37    * Kaggyo
38    38 * Kaseegu
39    * Kabamba
40    40 * Kabwagu
41    *Kabandamaggwa
42    42 * Kabalangasi
43    *Kalyamaggwa(Lugero)
44    44 * Katonokeewaza
45    * Kantanyi
46    46 * Kalanguka
47    * Kakonge
48    48 * Kaziro,
49    * Lubaale
50              50 * Nnyininsiko
Abaana Abawala:
1       *  Nawoolidda
2       2   * Woommoyogwe
3       * Ssizaakutenda
4       4   * Ntabadde
5       * Nsinjo
6       6   * Nawakkonyi
7       * Nawanana
8       8   * Nnattimba
9       * Wozaako
10    10 * Nnambi
11    * Muzadde
12    12 * Nnakabira,
13    * Nnakigozi
14    14 * Nakabiri
15    * Nnakalembe
16    16 * Nakafumbe
17    * Nnabingi
18    18 * Nnabicu
19    *Nnamammonde(Luzzi)
20    20 * Nnaluboobi
21    * Nnalubuubi
22    22 * Nalukobyo
23    * Naluwungwe
24    24 * Namakobe
25    * Nnannozi
26    26 * Nantaba,
27    * Nnalubaale
28    28 * Nnaabayego
29    * Nabikoni
30    30 * Nabitalo
31    * Nnabalamba
32    32 * Luwedde
33    * Mbatudde
34    34 * Mbejjo
35    * Mannyogaseka
36    36 * Bamutiira
37    * Kikukku
38    38 * Nnabakka (Luzzi)
39    * Kinnawunge
40    40 * Namirembe
41    * Nanteza
42    42 * Nnakisitu
43    * Zzawedde
44    44 * Nnabbumba
45    * Nnandyose
46    46 * Kiribaganya
47    * Nnampanga
48    48 * Nnakku
49    * Nnampala
50              50 * Nnabaggala
EMIRIMU GY'ABEFFUMBE KU KABAKA:
1 * Jjajja ffe Omutaka Walusimbi,Y'akuza omulangira alindiridde okubeera  Kabaka.
Omulangira nga tannatuula ku Nnamulondo.
*   Okuwa Kabaka mukazi we  owensikirano Nnakku.
*   Y'akuutira Omulangira okulamula obulungi  Obuganda,nga batudde mu nju Bujjabukula.
*   Kiwukyeru ya yalirira ekiwu Kya Kabaka.
*   Jjajja ffe Nagaya,y'akulembera 
Omulangira nga agenda ewa Nnakku mu Kitooke okukola omukola gw'okusimba ekitooke
Manyagalya,nga awanjagira Nnamugereka akirize okuwa Obuganda emmere ku mulembe gwa Kabaka ono omuggya nga bwe gwali eri abo abamusooka.
 
Era Jjajja ffe Nnakku yatema evvunike okutegeeza Obuganda okudda ku mirimu singa ekyoto Ggombolola kiba kiziikidde nga Obuganda bufunye Kabaka.
*   Jjajja ffe Magunda ye musazi w'emisango egiba gijjulidde okuva ewa Kabaka.
*   WAMALA musige mu Lubiri,era Mumbowa.
*   Jjajja ffe KAJOBA MUKASA KAWUNGU,
Y'atala Kabaka ejjoba,era y'avunannyizibwa okukima emmandwa ya Lubaale MUKASA e Ssese, Y'awa Jjajja ffe Walusimbi, olutabaalo lw'awa Kabaka.