Kkobe (Air Potato)
Totem
Akabbiro
Clan Leader
Estates
Ssaza
Omubala Clan (motto)
KKOBE KU MUTIMBAGANO GW’OBWAKABAKA 2021
 
Ebyafaayo ebitonotono ku Kika ky’Ekkobe n’entandikwa y’Omuziro n’Akabbiro
Ekkobe mmere ebala ku kimera ekyerandiza kyokka ku kitooke oba ku muti. Emmere eno edda yayambanga nnyo mu njala anti eyinza n’okumala emyezi omukaaga oluvannyuma lw’okukungulwa nga teyonoonese.
Ekkobe lirimu ebika bibiri: waliwo eddene eriyitibwa Nakatudde; n’akatono akayitibwa Nakakaawa.  Abagalya bagamba nti Nakakaawa likaawa ng’erinnya lyalyo.  Naye nga mu kweddira tewali njawulo nti nze neddira Nakatudde oba Nakakaawa.
Ekyavaako okweddira Ekkobe
Mu binyumizibwa n’ebiwandiikiddwa kigambibwa nti, olwali olwo jjajjafe Nsereko Kalamazi ne yeegatta ku Ssekabaka Kintu batabaale Bemba. Bajja batambula okuva e Buvanjuba bwa Uganda mu kitundu ekyali kiyitibwa “Ggwe”, mu kiseera kino kiyitibwa Samia Bugwe, baabo mu Bugisu gye yasanga omuwala gwe yeegomba n’ayagala amuwase.
Ekiseera kyatuuka jjajjafe Nsereko ne banne ne bagenda okweyanjula ku buko.  Baba batudde ku maliba nga babagabula ebittafuttafu wansi w’omuti, ekkobe ne liva waggulu ne limukuba mu kiwalaata n’awanamira ku lujjuliro n’ayisibwa bubi nnyo anti lyamuleetera okuswala!  Bwatyo kwe kugamba nti, “okuva leero abaana bange n’abazzukulu tewabanga alya ekkobe”.  N’okuva olwo, ekkobe nerizirwa era ne lifuuka omuziro.
Kigambibwa nti, omuwala gwe yali ayogereza yali ayitibwa Namboozo, oluvannyuma eyafuuka Nambooze.  Namboozo bwe yazaala omwana omulenzi, Nsereko n’amutuuma Male, ekitegeeza nti, “amakobe tugamale okugalya.”  Omwana owookubiri n’amutuuma Busuulwa nti, “amakobe tugasuule.”  Ate owookusatu yatuumibwa Ssebuliba, nga yejjukanya amaliba kweyali atudde ekkobe limale limukube.  Omwana omulala yamutuuma Nambooze okumubbula mu mukazi Namboozo gwe yali agenze okwogereza.
Jjajjafe ono Nsereko nga bali ne Kabaka Kintu oluvannyuma lw’okutta  Kabaka Bemba Musota, eyali aliisa Abaganda akakanja, yasooka kusenga ku mutala gwe bayita Kanyanya mu Busujju, okuliraana Magonga.  Oluvanyuma yasaba mukamaawe Kintu n’amuwa ku mutala Buzimwa okwali baganda be Gubiri, Kakulukuku ne Nalugunju, abaali bafugibwa Omunyolo Kasamu Nayiko gwe yagobako.  Eyo y’emu ku nsonga eyamusabya omutala Buzimwa oluvannyuma kwe yasinziira okulumba era n’atabaala Abanyolo abalala abaali mu bitundu ebiriraanye Teketwe kati Buwama mu Mawokota.
Kigambibwa nti, Nsereko yali mujagujagu mu kkubo lyabwe nga  badda okuva e Buvanjuba nga bayitidde e Ssese, era nti ku Kabaka Kintu ye yasookanga okuddamu buli kintu ekyabuuzibwanga.  Noolw’ekyo ekigambo mu Lussese “KWAMA” ekitegeeza okusooka oba kwaniriza kyamubatizibwa, bwatyo Nsereko olw’obwangu bwe yalina mu buli kintu ne bamuyita “Namuyama” oluvannyuma n’afuuka Namwama. Nsereko ono era yaweebwa omulimo gw’okunonanga ku Lubaale Mukasa e Ssese. Kabaka yamubuuzanga nti omugenyi wamuyama?  Nti yee Ssebo, “omugenyi namuyama (namwaniriza).” Era Namuyama – Namwama kwe kwava n’erinnya ly’ekifo Buwama awali embuga y’Abekkobe.
Akabbiro k’Abekkobe ‘Kkaama’, nga mmere ya mu ttaka, eya kyemeza, efaananamu endaggu.  Edda ‘Kkaama’ yalibwanga okw’enjala, era naye akozesebwa nnyo mu kwejjanjaba okw’ekinnansi naddala mu by’okuzaala.  Erinnya ‘Kkaama’ liva ku ‘kaama’ ako akalina okukuumwa- anti bwe baabanga bamusima mu nsiko okw’enjala baakikolanga ‘mu kaama’ (mu kyama) abalala baleme kuwulira.
 
Okuzaala kwa Nsereko
Jjajjafe yazaala abaana bangi okusukka mu kkumi, era mubo abaamanyika ennyo bebano:
 
Namukangula ono yali muyizzi kkungwa ku Ssekabaka Kintu. Bwebayigganga embogo nga yazigobera ku kizigo.  Ono naye yajja ku Buzimwa, kyokka ye teyazaala era bweyafa mugandawe Nankule kwe kumusikira.
Lwabiriza oyo ye yali Kawuuta wa Ssekabaka Kintu era ye yasigala Magonga ono ye yazaala Lwabiriza eyagenda n’omulangira Kalemeera e Bunyoro.  Oluvanyuma Kabaka Kintu yamuwa ettaka e Katoolingo mu Busiro era n’aweebwa omulimo ogw’okubanga entaana z’abalangira awamu n’okuwekula akaba ku njole ya Ssekabaka. 
Mabingo Magere ono ye yabajjanga olunyago lwa Ssekabaka Kintu omwawangwanga effumu Kintu lye yafumisanga empeewo okwavanga eddiba eryakolwangamu enkanamo ya Ssekabaka Kintu e Magonga. Bwatyo n’afuuka muwanzi w’amafumu ga Kabaka Kintu e Nnono Magonga oyo ye teyavaayo.
Kiragga ono jjajjafe Nsereko gwe yafuula Kitaawe ne mwanyina Nabwami n’abamenyerako “OLUKANDA” ng’amaze okuzaala abalongo “Kayongo ne Male” abakuumibwa  Omutaka KYANA e Ttiribogo Mawokota jjajja w’ekika era omukulu w’olunyiriri lw’Akasolya omuva ba Namwama.
Sikyemanywa Ssekkonge ono yeyasikira jjajjafe Nsereko Namwama.
Walubandwa – Kabengwa n’ono yali muyizzi nnyo naye yajja ku Buzimwa n’abalala era kwe yafiira.
Nakanyakaali ono ye yazaala Kakinda e Jalamba, ne Mukooge e Ggolo, Mawokota.
Kayiwa, Busuulwa, Bukulu n’abalala.
 
Bwe kityo Buzimwa kyafuuka obutaka obukulu obw’Abekkobe obusangibwa mu Ggombolola ya Ssaabagabo Muduuma ku Luguudo lwe Mityana Mailo 22 okuva e Kampala.  Eyo Bannamwama abasinga obungi gye baazikibwa ne bazzukulu baabwe.
Embuga enkulu eya Nnamwama eri Buwama mu Ggombolola ya Musaale ku Luguudo lw’e Masaka. Era eyo jjajjaffe Nsereko Kalamazi Nnamwama omubereberye tutegeezebwa nti gye yabulira mu lusozi Teketwe.
Jjajjafe ono yalina effumu lye eritaamuva nga mu ngalo lye yalwanyisanga nga liyitibwa “MAZINA GANDIGITA”.  Jjjajjaffe Nsereko ng’ali ku Buzimwa yalwanirako entalo nnyingi nnyo, era n’alumba n’Abanyoro abaalinga ku mitala Teketwe, Kayenje, Misindye awamu ne Kyabadaaza ng’agaziya Buganda.
Olutalo olwasembayo yalwanyisa ennyiriri bbiri, olumu ye mwene mwe yali lwayita Kayenje ne Misindye.  Yagendanga akuba engoma nga evuga nti “Tagobwa”.  Ate olunyiriri olulala lwayita Kyabadaaza, luno lwe lwakulemberwa omwana we Kabengwa.  Kabegwa olw’okuba yayagalanga nnyo embwa, ye yali akyusiza ku ngoma ya kitaawe eyiye kye yavanga evuga nti “Embwa ekooye, gireete erye eggumba.  Ye omukazi leka eyo.”  Olwo nno omubala gw’Abekkobe nga gugenda gukula.
Nsereko ng’amaze okugoba Abanyolo ku Teketwe (Buwama), ate nga talina kisulo kiri kumpi na nnyanja kye yava asaba mukamaawe Kintu afune w’ayinza okuvanga amangu okukwata eryato okunonanga ku Lubaale Mukasa e Ssese.  Awo kwe kwejjulura n’ava e Buzimwa n’asenga e Teketwe.
 
Omutaka Omukulu w’Akasolya, Obutaka, Emibala, Amasiga n’Emituba
Omutaka Omukulu w’Akasolya ayitibwa Nnamwama
Obutaka buli Buzimwa mu Muduuma, Mawokota ate Embuga neeba Buwama mu Mawokota nga bwe binnyonnyoddwa waggulu mu byafaayo.
Omubala:  Kasonzi, mulwadde asinda.  Omukazi leka eyo, embwa gireete. Bampadde ggumba, luma okwo.
 
Amasiga n’Emituba
Amasiga
No
Essiga
Obutaka
Essaza
1
Namukangula
Bongole
Mawokota
2
Lwabiriza
Katoolingo
Busiro
3
Kawuma
Wassozi
Mawokota
4
Kakinda
Jjalamba
Mawokota
5
Kabengwa
Bulumbu
Busiro
6
Kaseenya
Buseenya
Butambala
7
Wanda
Misindye
Mawokota
8
Busuulwa
Nkozi
Mawokota
9
Kayiwa
Buyiwa
Mawokota
10
Olunyiriri lw’Akasolya
Buzimwa
Mawokota
 
 
Emituba
 
Ssiga lya Namukangula
 
 
No
Omutuba
Obutaka
Essaza
1
Muwemba
Kizigo
Mawokota
2
Ggubiri
Buggweera
Mawokota
3
Mabiriizi
Kkimbo
Ggomba
4
Nkugubitu
Buzzibazzi
Ggomba
5
Musuuyi ???
Bbongole
Mawokota
6
Jjagwe
Bukama
 
7
Ssenyondo
Kisimu
Kyaddondo
 
 
 
 
 
Ssiga lya Lwabiriza
 
 
No
Omutuba
Obutaka
Essaza
 
Emituba ginoonyerezebwako
 
 
 
 
 
 
 
Ssiga lya Kawuma
 
 
No
Omutuba
Obutaka
Essaza
1
Kasajjankata
Kyambala
Buddu
2
Mununku
Mazzi
Busiro
3
Ssebuguluse
Kijjo Bukoba Kalega
Kyaggwe
4
Mugogoonya
Najjeera
Kyaddondo
5
Kigyoma
Kaaso
Kyaddondo
6
Lusoboya
Ntooke
Bugerere
7
Kasolo
Nazigo
Bugerere
8
Kibugo
Kyangatto
Bulemeezi
9
Balukanzeeko
Ngalonkalu
Bulemeezi
10
Mpedeke Busuulwa
Buwaate
Kyaddondo
11
Kasonko
Mindi, Kasawo
Kyaggwe
12
Kamwakabi
Kammengo Mutundwe
Mawokota
13
Ngulube
Nkasi
Mawokota
14
Maswanku Mabiriizi
Nsonga
Kyaggwe
15
Naluswa
Bunyiri
Kyaggwe
16
Kinaalwa Muzzanganda
Mitwetwe
Butambala
17
Muddembuga
Lugungudde
Busiro
18
Muteegana
Kikunyu
Butambala
19
Kambayaaya
Buwemula
Ggomba
20
Kinembe
Nsasi
Ggomba
21
Lusoboya
Ntooke
Bugerere
22
Sagala
Muge
Mawokota
23
Musuuyi ???
 
Buweekula?
24
Akukeera Mukeere
Galigatya
Kyaggwe
 
 
 
 
 
Ssiga lya Kakinda
 
 
No
Omutuba
Obutaka
Essaza
1
Kinyeenyambali
Jjalamba
Mawokota
2
Kaasaala
Butenga
Buddu
3
Kimote
Zzigoti
Busujju
4
Kinaalya
Nakulamudde
Ggomba
5
Kabiina
Bubiina, Buganga
Mawokota
6
Semukuutu
 
Kyaggwe
 
 
 
 
 
Ssiga lya Kabengwa
 
 
No
Omutuba
Obutaka
Essaza
1
Kalera
Bulumbu
Busiro
2
Lubinga
Kimazi
Bulemeezi
3
Semutaamala
Gayaza Kabubbu
Kyaddondo
4
Kaasigala
Bulumbu
Busiro
5
Tegaaliike
Lululumbu
Busujju
 
 
 
 
 
Ssiga lya Kaseenya
 
 
No
Omutuba
Obutaka
Essaza
1
Mujwiga
Kikunyu
Butambala
2
Ssebuliba Makamba
Buddo
Busiro
3
Kaseenene
Miggo
Ssingo
4
Nambago Ggombe
Bunnamwaya
Kyaddondo
5
Lugonja
 
 
 
 
 
 
 
Ssiga lya Wanda
 
 
No
Omutuba
Obutaka
Essaza
 
Emituba ginoonyerezebwako
 
 
 
 
 
 
 
Ssiga lya Busuulwa
 
 
No
Omutuba
Obutaka
Essaza
1
Buyimbwa
 
Bulemeezi
2
Ssekkonge
Lukooge
Bulemeezi
3
Namujaali
 
 
 
 
 
 
 
Ssiga lya Kayiwa
 
 
No
Omutuba
Obutaka
Essaza
1
Kalumandege
Buyiwa
Mawokota
2
Kengabaana
Bubajjwe
Bugerere
3
Alimpakitattansolosozi
Kiganda
Ssingo
4
Kannamwangi
Nyendo Maddu
Ggomba
5
Kyasiikaanirensozi
Kalezi
Busujju
 
 
 
 
 
Olunyiriri lw’Akasolya
 
 
No
Omutuba
Obutaka
Essaza
1
Bukaba
Mbaliga
Ssingo
2
Kavaavaagalo
Kayabwe
Mawokota
3
Kiragga
Katuuso
Mawokota
4
Kitemagwa
Magala
Mawokota
5
Magaja
Magala
Mawokota
6
Mukoogo
Ggolo
Mawokota
7
Mutumba
Kikoma
Kyaggwe (Bakenyi)
8
Muwakanya
Magala
Mawokota
9
Nabbumba
Magala
Mawokota
10
Nakatanza
Vvumba
Mawokota
11
Nalugunju
Tteketwe
Mawokota
12
Namateeka
Nkana Maggya
Mawokota
13
Nankolazzibi (Muwanzi)
Kiwumu
Busiro
14
Nkokonyoole
Kayanga Kitagobwa
Kyaddondo
15
Nkweyambye
Mbizzinnya
Mawokota
16
Ntaate
Mbizzinnya
Mawokota
17
Ssekweyama
Kiboga, Buwama
Mawokota
18
Ssebitere
Maggya
Mawokota
19
Ssebuliba
Lubanja
Ssingo
20
Ssekkonge (Sikyemanywa)
Butamba
Mawokota
21
Ssemwombwe
Kisaaliza
Busujju
 
 
Egimu ku mirimu gy’Ekkobe mu Lubiri lwa Ssaabasajja
Ow’essiga Kakinda, y’akinda olubugo olusumikibwa Omulangira ng’alya Obuganda (Obwakabaka).
Ow’essiga Lwabiriza e Katoolingo y’abanga entaana z’abalangira era ye yaggyanga akaba ku njole ya Ssekabaka.
Nnamwama ye yagobereranga Lubaale Mukasa e Ssese.
Abekkobe be bawanga amafumu ga Kabaka mu nnyago era bayitibwa bawanzi.
Wanda y’afuuyira Kabaka ekkondeere eriyitibwa Mwokoola alifuuyira wamu ne Makanga ow’Emmamba nga ye afuuwa erirye eriyitibwa Kawunde.
Abekkobe be bamu kubayizzi ba Kabaka okuyita mu w’Essiga Namukangula.
Omutaka Kutulako yaggulira Omulangira ekkubo e Kasenge nga agenda e Naggalabi okutikkirwa.
 
Amannya agatuumibwa mu Bekkobe:
 
Amannya gano mulimu agatatuumibwa mu buli Ssiga nolw’ekyo kikulu nnyo okwebuuza ku bakulu abakuzaala nga tonatuuma mwana linnya lyonna.
 
Abalenzi

Bakiranze
Balasa
Balimunsi
Bampigga
Bamwanjula
Bitalo
Bululu
Busuulwa
Byekwaso
Jjuuzi
Kabengwa
Kabizzi
Kaddu
Kasala
Katembe
Kateta
Kavavagalo
Kawuma
Kayiwa
Kayongo
Kaziro
Kibaya
Kibombo
Kibugo
Kigembe
Kikaawa
Kiki
Kimanje
Kinaalwa
Kirabira        
Kiragga
Kiregeya
Kironde
Kitemagwa
Kivumu
Kizito
Kkonde
Kkulanju
Kyambalango
Kyewalabye
Lukookera
Lule
Lwabiriza
Mabingo
Mabiriizi
Magaja
Magala        
Magoma
Makokwa
Male
Masanda
Mayengo
Mbiro
Mirundi
Misango
Miwanda
Mpaka
Mugubya
Mujwiga
Mukaddemwangu
Mukooki
Mulaalira      
Mulungu
Muluuli
Musuyi
Muteeweta
Mutumba
Muwakanya
Nabbumba
Nabbwaga
Nakanyakaali
Nakatanza
Nankalanguse
Nannyumba
Naayinda
Nkangufu
Nkayivu
Nnyago        
Nogoli
Nsereko
Nsozi
Ntanzi
Ntembo
Nviiri
Sikweyama
Ssebabi
Ssebatindira
Ssebitengero
Ssebuliba
Ssejjongo
Ssekamatte
Ssekiremba
Ssekkonge
Ssemagulu
Ssemagwatala
Ssematimba
Ssemiti
Ssemmombwe
Ssennyomo
Ssennyondo
Ssentumbwe
Sserukomaga
Ssettuba
Ssevvume
Ssewakiryanga
Ssikyemanywa
Tebakyagenda
Waakuze
Walubandwa
Wantaate
Zingobukeedo

 
 
Abawala

Balilaanye
Katana
Kiwaamaaso
Kiwabudde
Lwantanya
Mbatudde
Mbawadde
Nababi
Nabanoba
Nabikaajumbe
Nabitengero
Nabwami
Nabweggamo
Najjolo
Nakakaawa
Nakalembe
Nakamatte
Nakasinde
Nakatudde
Nakawuma
Nakayiwa
Nakibuule
Nalule
Nalwanga
Namale
Nambalirwa
Nambi
Nambiro
Namboga
Nambooze
Namboyera.
Nammembe
Nango
Nansereko
Nantege
Nantumbwe
Nassimbwa
Ndyona
Nnaamala
Ntabadde

Ekifaananyi ky’Omutaka aliko mu kiseera kino, amannya ge n’ebirala ebimukwatako
 
Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba
Ssaabasajja yasiima n’amuwa obuvaanyizibwa bw’okuba Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka b’Obusolya. Akulembedde Ekika ky’Ekkobe okuva mu mwaka gwa 2001. Musomesa wa Primary omutendeke, alina ddiguli esooka n’eyokubiri mu mbeera z’abantu n’okukulembera.  Akoledde mu Makerere University okutuuka ku mutendera gwa Senior Administrator era atuula ku nkiiko eziddukanya ebitongole.
Ennyungiro (Link) ku mutimbagano gw’Ekika: http://www.kkobeclan.com
 
Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba
Ssaabasajja yasiima n’amuwa obuvaanyizibwa bw’okuba Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka b’Obusolya. Akulembedde Ekika ky’Ekkobe okuva mu mwaka gwa 2001. Musomesa wa Primary omutendeke, alina ddiguli esooka n’eyokubiri mu mbeera z’abantu n’okukulembera.  Akoledde mu Makerere University okutuuka ku mutendera gwa Senior Administrator era atuula ku nkiiko eziddukanya ebitongole.
Ennyungiro (Link) ku mutimbagano gw’Ekika: http://www.kkobeclan.com