Kibe (Fox)

Totem | |
---|---|
Akabbiro | |
Clan Leader | |
Estates | |
Ssaza | |
Omubala Clan (motto) | |
1.0 EBIFA KU KIKA KYE KIBE
OMUZIRO : KIBE
AKABBIRO : MPIRI (KIKA KYA MUSOTA OMUKAMBWE)
OBUTAKA : WANTAYI MU KYAGGWE
OWAKASOLYA : MUYIGE OMUBALA :
i) Kibe, kibe kimaze okulya kyekubye ensiko. ii) Kyasanku, bakuzaala wa? Wambo gwe.
iii)Kabaka bwanywa, anywa Nvuba. iv)Muyige bwakwana, gwakwana amalirira Muyige waddalu, waddalu.
1.1 AMASIGA (CLAN ELDERS) GALI KUMI N’ATAANO (15) WABULA AGALIKO AKAMUNYEENYE TEGAKOLA MUKASEERA KANO
NO.
ESSIGA
OBUTAKA
1
Ttaka
Wambogwe - Kyaggwe
2
Semakubire
Kigaya - Kyaggwe
3
Gwampa
Buwampa - Kyaggwe
4
Mugerere
Namubiru - Kyaggwe
5
Muwooya
Namukono - Kyaggwe
6
Kiggo
Kkoba - Kyaggwe
7
Luvuma
Masa - Kyaggwe
8 ⃰
Sembuya
Kikoma - Kyaggwe
9 ⃰
Bugudde
Kakotero - Kyaggwe
10
Kyoto
Mpirivuma - Kyaggwe
11
Mpasa
Wakibe - Kyaggwe
12
Kayemba
Salye - Kyaggwe
13
Kalinge
Kisasi - Kyaggwe
14⃰
Bwogi
Ganjo - Kyaggwe
15
Mbugayamunyoro
Muluyobyo - Kyaggwe
1.2 EMIRIMU GYE KIKA KYE KIBE MU BWAKABAKA Gino gyemirimu gyekika kye Kibe ewa Kabaka:
1. Seruti (Chief Brewer): Omusenero wa Kabaka).
2. Mbugayamunyoro (Brewer): Musenero wa Naalinya.
3. Kalinge (drumer): Yaakuba engoma ewa Kabaka gyebayita entamiivu.
4. Katatta: Ono yakima ebikozesebwa okuva ewa Ssabassajja Kabaka okuzimba enyumba ya Kabaka Kintu ennono.
1.3 EBIFA KU NTANDIKWA Y’EKIKA KYE KIBE
1.3.1 Lwaki tweddira Kibe?
Jjaja ffe eyasooka yali muyizzi. Lumu bwe bagenda okwandaaza, embwa’ze nezireeta ensolo eyefaananyirizaako nga embwa ey’awaka. Bweyagiraba n’agamba abaana be nti, “Tetujja kulya kisolo kino, sikulwa nga tulya embwa ey’omunsiko, tukileke tetukirya, oba kiba, kibe”Okuva olwo nebatandiika okweddira ekisolo ekyefaananyirizaako embwa nga ky’ekibe.
1.2 ENSIBUKO YAFFE, N’OBUTAKA BW’EKIKA KYE KIBE
Abe kibe badda nnyo wano mu Buganda. Ssekabaka Kintu yatusanga Magonga mu Busujju, era waliyo ne Jjajaffe omulala eyayitibwanga Nkoola Ziwunga eyabeera nga e Jjeza.
Bwetwagenda okutabaala Buvuma, omukulu w’ekika kye Kibe yeyali omugabe nagamba bassajjabe nti, “bwemutuuka emitala, muyimirize okugulu kumu, bwebanabalaba bajjakulowooza nti, muli balema”. N’olwekyo buli abaavanga mu lyaato nga bayimirizaako okugulu kumu. Olwo Abavuma nebagamba nti; “obwo obusajja obulema mu bulinde buwere, tubutte.”Amaato bwegagoba ettale, bonna nebayimiriza amagulu abiri olwo Abavuma ne badduka abandi ne battibwa. Okwo kwe kwaava enjogera egamba nti, “Bulinde buwere bwawanguza Buvuma”.Olwo eyali omugabe w’eggye era nga ye mukulu wekika kye’kibe nayitibwa Muyige, kubanga yakozesa ekigambo nti “Muyige” kyembagamba ng’addumira basajjabe.
Bwetwamala okuwangula Buvuma tetwadda mabega, twaasigala ku Kizinga e Nyenda. Kumulembe gwa Ssekabaka Kimera twaava e Nyenda ne tukomawo ne tugoba ku Mwaalo e Kigaya mu Kyaggwe ne tugolomola elyato lyaffe. Era omwaalo ogwo ne guyitibwa “Golomolo” kubanga wetwagolomolera elyato lyaffe. Olwo omwami wa Kabaka ayitibwa Mwanje, bwe yatulaba natutwaala Embuga natwanjulayo netuweebwa ebyaalo; Wantayi, Golomolo, Jjirikiti ne Wambogwe.
Omulangira Ssemakokiro Bweyali atabaala mukulu we Jjunju, yatusanga Wantayi ne tumwegattako nga Muyige yamuwa e’kyokunywa era weyasinziira okulaba enyanja. Lwaali lumu, Muyige nakyaama ku bbali n’alaba ekitungulu bweyakimenyamu, n’alaba nga kirimu omuwulenge, n’akiteeka mu mawa oba empomerezo. Omulangira Ssemakokiro naamugamba nti; “mulenzi ggwe, nga oli mujoozi eby’okunywa byange obitaddemu oluti!’ Naamuddamu nti; “Mukama wange ssi luti, luseke”. Bweyanywesa, yagenda okulaba nga luleeta bulungi, naamusiima nti; “amagezi gosaze malungi”. Bweyaddayo okumuyita, yamuyita nti; “Seruti, leeta ebyokunywa byange”, anti Kabaka tanywa mwenge nga bakopi.
Bwebamala okuwangula olutalo, Ssekabaka Ssemakokiro, musajjawe Muyige
yamuwa gwa busenero era yamubuuza nti; “Onobukolera wa?” Namuddamu nti “Buikwe, wetwayita nga tujja”. Olwo ebye Wantayi nabireka awo nagalare!.
Ekyo kyazinggamya nnyo ekika kubanga ye Muyige yalowooza nga Busenero. Yayagala nnyo Kabaka we kubanga bwe babeera nga, balya ebitafutafu. Era era kwekwaava ekisoko kyomubala gwaffe okuvuga nti; “Kabaka bwaanywa, anywa nvuba”, era mu mbiri z’obwakabaka mwabeerangamu enyumba z’abasenero. Okuva olwo obutaka bwa jjajaffe n’ebulekebwaawo ttayo, era kati Buganda Land Board yabuwa Namasole Sarah Nattoolo owe Lukuli owa Muteesa. Tugezaako okubulondoola n’okubununula nga tuli n’omukubiriza wa Bataka wamu ne Buganda Land Board naye, tewanavaayo kalungi.
Bitegekeddwa:
Ekakkalabizo ly’ekika kye Kibe