Mutima (Heart)
Totem
Akabbiro
Clan Leader
Estates
Ssaza
Omubala Clan (motto)
Ekika Ky’omutima
Omuziro
Omuziro gw'Abayanja Mutima. Abamu balowooza nti mutima gwattaka naye sikituufu. Kino kirabikira ne kukabonero kaffe a k'Omutima. Omutima guno guba gwa nsolo so sigwa muntu oba gwakirime ng'abasinga bwe balowooza.

Akabbiro                     
Okumala ebbanga ddene, abasing baali bamanyi nti akabbiro k'Abayanja nnyonyi Nnyange. Naye oluvannyuma kyakkaanyizibwako nti akabbiro k'Abayanja Mawowoolo.
Waliwo enjawulo wakati w'amawuggwe n'amawowoolo; amawuggwe gabeeraga muntu ate go amawowoolo ga bagansolo.

Obutaka
Obutaka bw'Abayanja buli Bulegeya Bbaale mu Ggombolola ya Kajeerero mu Buddu. Nga eno Jjajja ffe Nnamugera Kakeeto eyasooka asibukamu Ekika ky'Omutima gyeyabeeranga era ye wali n'ennyumba ye mweyabeeranga (Empuku).

w’akasolya
Owaakasolya aliko kati ye Nicholas Kasekende omusomesa omutendeke, nga akolera kitongole kya Tekinologiya mu Ssettendekero lya Makerere. Amanyiddwannyo mu buyiiya nga akola ebyuma( T4T Mak IV incinerator) ebyokya kasasiro ava mu malwariro ne mu masomero naddala a g’abawala. Akola n’ebiwero ebyeyambisibwa abakyala nga bali mu nsonga,ng’abikola mu bitoogo.
Nnamugera Kakeeto sirinya wabula kitiibwa ekiweebwa omukulu w'e Kika ky'Omutima ogwa Bayanja. Omuzzukulu takkirizibwa kutuuma mwana we mannya gano gombi wabula asobola otuumako erimu; Kakeeto oba Nnamugera. Kino kiri kityo kubanga Nnamugera Kakeeto abeera omu yekka mu kika.

Omubala
"Ekifa mu nnyanja; omuvubi y'abika, olukka ennyanja nga n'enkanga, otta ento Kabaka n'atalya maluma. Beppo ddogo eririὴὴaana okuvuba, alitya ennyanja aliggya butiko.Gutujja, omutima gutujja, bwe gukutujjira ow'omukwano ozuukuka mu kawoza masiga." Omubala guno agukuba ayitibwa Kawuula era nga gukubibwa kumikolo gy'e Kika egy'enjawulo gamba okwabya olumbe, n'emirala.

For more information: http://mutimaclan.or.ug/omuziro%20n'akabbiro.html

Obutaka bwaffe
Ekituufu kiri nti Nnamugera Kakeeto eyasooka yali Kabaka. Nnamulondo ye yali Buddo. Katikkiro we yali ayitibwa Bbemba. Katikkiro ono yali mukambwe nnyo. Yatta abantu okutuuka lwe beetamwa, ne beekubira enduulu. Baayita omu ku balangira, eyalina amaanyi, Omulangira yajja ennyago ne zikekera.
Kabaka Nnamugera baamutemyako nti Omulangira azze bukula, eggye lyo alimalawo.Nnamugera yakwatamu byanguwa ng’akkirira e Munyonyo. Ng’akwata erimu kumaato g’empingu ya Kabaka ne baganda be abaasobola okugya mu lyato (empingu ya Kabaka). Abataagendera mu Mpingu, baakwata lya kulukalu. Abaakwata ery’okulukalu beeyawulamu ebibinja bibiri:
Abatonotono ba akwataly’e Bulemeezi ne bagoba kulusozi oluyitibwa Lusiba mu Ggomba, abasinga baddukira Buddu. Bano lwa kwebuzaabuza ne beeyita Abasagi abaava e Bunyoro. Ne batandika n’okwetuuma erinnya “LUSIBA” ne “NALUSIBA”. Eyo gyebaava mpolampola ne basaasaana mu Buddu.
Nnamugera Kabaka omunaanule bweyawulira nti bagandabe abaayita Olukalu batuuse e Butale-Buwunga, n’alagira basigale awokumpi ne Baganda baabwe abaali e Nakiyaga, Kasozi, Kafuluma ne Kyabbogo (Nalozaali). Awo Abasagi abaali boolekedde ery’e Bbaale beegatte kumukulu waabwe Nnamugera. Yabategeeza (Nnamugera) ng’eBbaale bwewali awafunda. Abasagi baasigala e Butale ne libeera ESSIGA LYABWE ngalyamuliraano n’amasiga amalala.
Amasiga gano okubeera amangi ate ngagamuliraano, kabonero akategeeza nti omulabe agezaako okulumba essiga erimu, aba akiguddeko.
Nga bali mu nnyanja, baasalawo okuddukira mu bizinga by’eSsese. Bwebaagoba e Ssese, ne balaba nga bali mu kabi kanene, singa omulabe waabwe anaabazingiriza kubizinga, ajja kubatta abamalewo, ne bakyusa bade kulukalu. Kwekuvuga ne bagoba e Bbaale, awali empuku ennene ngabasobola okulengerawonna mu bwengula bw’ennyanja- Ate waggulu w’empuku nga weetadde bulungi. Ku njuyi zombi omulabe gy’ayinza okufuluma nga balabayo bulungi. Kabaka Nnamugera omunaanule yabeera mu kifo ekyo okumala ekiseera kinene ngatalaba amulumba- Omulangira bweyamala okuwamba Nnamulondo ya Nnamugera eby’okuwondera Namugera n’abivaanko.
For more information: http://mutimaclan.or.ug/obutaka%20bwaffe.html
Amasiga n'Emituba mu Kika kyaffe
Oluvannyuma lwa Nnamugera Kakeeto ne baganda be ko n'abaana be okusenga e Bbaale, ekiseera bwekyayitawo Bbaale yatandika okufunda nga bagandaba Nnamugera, sibakyasobola kugyaayo. Nnamugera kwekusaba bagandabe bagende basenge mu bitundu ebitaliwala nnyo ne Bbaale, ye asigale n’abaana be e Bbaale.

Baganda ba Nnamugera baawulira bulungi mukulu waabwe kyeyali abalagidde okukola. Kati ge Masiga g’osanga:
EKIFO
OMUKULU
 
1
Kyabbogo
Lujaganya
Ebisingawo ku Lujaganya
2
Kyamuyimbwa
Kaseegu
 
3
Nakiyaga
Byuma
 
4
Namwanzi
Lunamunnyu
 
5
Ggomba
Kagolo
 
6
Bulonge
Lugaaju
 
7
Nkuke
Namuna
 
8
Kafuluma
Luswata
 
9
Nabugabo-Bbaale
Wanaana
 
10
Mabowa
Omukundi
Ebisingawo ku bakundi
11
Minyinya
Ddungu
 
12
Ssanje
Ndawula
 
13
Bugonzi
Yombo
 
 
Ate abaana ba Nnamugera abaasigala e Bbaale gy’Emitubagino:
EKIFO
OMUKULU
1
Bugaayi
Bwanika
2
Bulegeya
Mayiga
3
Buweesi
Kirangwa
4
Mbowa
Mukasa
5
Bwoga
Musoke
6
Misenyi
Kakeeto Abbulibwa
 
For more information:http://mutimaclan.or.ug/amasiga%20n'emutuba.html

Olukiiko Olukulembeze
Visit: http://mutimaclan.or.ug/olukiiko%20olukulembeze.html
ABAKULEMBEZE MU KIKA KY’OMUTIMA
               OBUKULU                          ERINYA                               OMUTUBA/ESSIGA               ENDAGIRIRO
1.            Namugera Kakeeto (47) Nicholas Kasekende         Kakeeto Abbulibwa          077-2891244
2.            Katikkiro                             Luberenga John Mary     Luswata                              070-1750257
3.            Dep. Katikkiro (1)             Ssaalongo Andrew Kaggwa Mayiga                          077-7913030
4.            Dep. Katikkiro(2) (Yawummula)   Michael Bwanika              Ddungu                077-2602461
5.            Dep. Katikkiro(3) Masaka Gerald Majella Lusiisira               Luswata               0752628636
6.            Omuwandiisi(Yafa)           LeocadiaNalusiba                            Kaseegu               077-2429132
               OmuwandiisiMubeezi      Nnaanywa Rosemary
7.            Omuwanika(Yafa)             Henry Kyasanku                               Luswata               077-2682372
8.            Owaabavubuka                 Mujuzi Richard                                 Luswata               0759939977
9.            Owaabakyala                    Marie Ssennyonjo                           Mayiga                 071-2435117
10.         Oweemizannyo                 BuzibwaLuswata                              Luswata               077-2405585
               OweemizannyoMubeeziMujuziKiteke Frederick   Lugemwa            078-2960502
11.         Munnamateeka(Yafa)      Gerald M. Ssensuwa                       Musoke                075-2501016
12.         Munnamateeka                Makeera Salim                                 Namuna               070-24496575
13.         Omukunziw’abantu(Yafa)              YosamuMukasa Mukasa                075-1047831
               Omukunziw’abantu                         Namujuzi Sylvia                Luswata               077-2849704             
14.         Omubaka mu Kyaggwe  Lugemwa Francis                            Byuma                  078-7031261
15.         Omubaka mu Kyaggwe  Christopher Musisi(Yafa)               Yombo                 071-2683737
16.         Omubaka mu Bulemeezim(Yafa)                YisaKirwana                       Mukasa                077-969269
(Kati Wassiga)
17.         Omubaka mu Bulemeezi(Yafa)    Bwanika Bbaale Kaseegu                              077-2551584
18.         Omubaka e Busunju        G N Lukwata                      Nakaziba
19.         Omubaka e Ssingo           KigayaazaWilliam             Ntambaazi                         075-4518713
20.         Omubaka e Mpigi            Issaka Mayanja                                                              077-2401555
(YagendawaNakirembeka)
21.         Oweebyobuwangwa        KayanjaNseetawaana(Yafa)Lunnamunnyu              077-5497211
22.         OweebyobuwangwaOmubeezi(Yafa)KasanvuDeogratiasYombo     077-2919824
23.         MubakaKalungu/KyamuliibwaMayanja Mauricio                                                             077-4365349
24.         MubakaSsembabule         Mazinga Joseph                Luswata                                             075-9404807
25.         MubakaKyotera Bwanika Peter                   Kyotera                                              078-2715235             
Emirimo gyaffe mu Lubiri
Ng’ekisoko ekimu mu mubala bwe kigambanti: “Otta ento Kabaka n’atalya maluma”, ffe tuli bavubi ba byannyanja bya Kabaka. Era ffetuggala omulyango Kkaalaala. Kino kikolebwa Abessiga lya Lugemwa Lugaaju ab’e Bulonge
Agamu ku mannya gaffe ag'ekikazi
Lusoboya
Nakuya
Namukasa
Nabbaale
Nakyajja
Namutwe
Nabbowa
Nalusiba
Namyalo
Nabikindu
Nalwoga
Namyeso
Nabikindu
Namata
Nantajja
Nabwanika
Namayanja
Nanziri
Nabwato
Namazzi
Nassaka
Nakake
Nambogo
Nayota
Nakakeeto
Namitala
Nnakalembe
Nakasula
Namujjuzi
Nnakayanja
Namayengo
Nanziri
Nandago
 
For more information: http://mutimaclan.or.ug/amannya%20gaffe%20ag'ekikazi.html
 
Agamu ku mannya gaffe ag'ekisajja
Babbi
Kannambubi
Kyewubya
Musikangabo
Ssendege
Bachwengo
Kansere
Kyoma
Musoke
Ssendikwanawa
Bacwengo
Kanuuwa
Lubebbe
Musuuza
Ssendyowa
Bagandanswa
Kanyamayiswa
Luberenga
Mutojja
Ssenkumba
Bakasambe
Kanyana
Lubyayi
Muyimansi
Ssensuwa
Bakiika
Kasajja
Lugaaju
Mweruka
Sseremba
Bakyayita
Kaseegu
Lugemwa
Mwezangabo
Sserubbo
Batugudde
Kaseero
Lujaganya
Nabbaga
Sserubidde
Bazongere
Kasekende
Lujje
Naganga
Sseezi
Bbaale
Kasendwa
Lukambuzi
Nakatanga
Ssiyomba
Bijanjalo
Kasigwa
Lukyayo
Nakirembeka
Tekirya
Bijjoga
Kasirabo
Lusambya  Lusiba
Naluma
Vvule
Bijoga
Kasole
Lusiisira
Namugera
 
Bijogo
Kasugga
Luswata
Namuna
 
Busa
Kasula
Lutebuka
Namuna
 
Buzigi
Kasunsula
Lutontoma
Namunobe
 
Buzigyi
Kaswaza
Lwamunda
Namwanzi
 
Bwanika
Katabalwa
Lyazi
Nattuuma
 
Bwebale
Katemba
Magulumangu
Ngabotekyaza
 
Bwegombe
Katigye
Makubire
Njulungu
 
Bwenyibwankumbi
Katongole
Malege
Njulungu
 
Bweyinda
Kayanja
Malimbo
Nkwanzi
 
Byekwaso
Kayikuya
Mandwambi
Nsambya
 
Ddingiro
Kayima
Masajjage
Nsejjere
 
Gatunulajjo
Kayirembo
Masogero
Nsiko
 
Kabaalu
Kibakaye
Maswenku
Nswanswa
 
Kabikaye
Kibbula
Mawulizi
Nyondo
 
Kabiswa
Kibulaamazzi
Mayanja
Rujigija
 
Kabongo
Kibulabuguzi
Mayiga
Rukaaka
 
Kacucuula
Kiddu
Mayika
Serwaninda
 
Kadoma
Kigo
Mayinja
Ssaabaddu
 
Kafuluma
Kikambi
Mitala
Ssaabagwira
 
Kagolo
Kikayira
Mugera
Ssagala
 
Kagwisa
Kikuttu
Mugumbya
Ssajjabi
 
Kakeeto
Kirangwa
Mujjuzi
Ssebadduka
 
Kakimbi
Kirugge
Mukasa
Ssebakumba
 
Kakolongo
Kisawuzi
Mukwaba
Ssebbowa
 
Kakondeere
Kiseke
Mulamago
Ssebisiki
 
Kalamazi
Kisomose
Mularira
Sseburiba
 
Kalanzi
Kitijje
Mulyante
Ssebwato
 
Kalinzi
Komungabo
Mulyazzaawo
Ssebwira
 
Kannamayiswa
Kyebaakola
Museesa
Sseggwanyi
 
 
For more information: http://mutimaclan.or.ug/amannya%20gaffe%20ag'ekisajja.html
Ebisingawobisangekuhttp://mutimaclan.or.ug/