Ngabi Ennyunga (Bushback Antelope)

Totem | |
---|---|
Akabbiro | |
Clan Leader | |
Estates | |
Ssaza | |
Omubala Clan (motto) | |
EBYAFAAYO BY’EKIKA KY’ENGABI ENNYUNGA MU BUFUNZE
Ebyafaayo ebitotono ku Kika n’entandikwa y’Omuziro n’Akabbiro
Mubiseera nga Ssekabaka Kintu tannaba kubeera Kabaka wa Buganda, ebyaalo ebyetolodde olusozi Buddo mu Busiro, kwekwabeeranga abataka abaweerezanga Kabaka wabwe. Kigambibwa nti, mubiseeraebyo waaliiwo omuvubuka eyali azaalibwa omu kubataka b’okumitala egyetoolodde olusozi Naggalabi mu Busiro. Omuvubuka ono yali ayitibwa Mulamba Teyeeramba. Omwana oyo yali mulunzi wa mbuzi ku ttale, okwo kweyayongera ekitone kye ekyobuyunzi. Ekyo kyekyamusobozesanga okuyunga embuzi ezo buli lwezaafunanga obuvune. Oluvannyuma Mulamba ekitone kino yakituusanga ne kubantu abamaenyekanga, era nga emirundi mingi abasibako akannyo okusobola okukwasa amagumba awamu. Olw’obuyunzi obwo, Mulamba yafuna n’erinnya erya Muyunga.
Mulamba nga akuze yasenga ku mutala Kitala nagwo oguli mu Busiro. Eyo gyeyazaalira omwana ow’obulenzi gweyatuuma Ntegezinfambye (Zinfambye). Ono yye yali muyizzi era yazaala omwana gweyatuuma Kiriggwajjo naabala. Kiriggwajjo era nga amanyiddwa nga Mukyondwa, yazaalibwa ku mulembe gwa Bbemba era naye yali muyizzi nga kitaawe. Amaka ga Kiriggwajjo gaali ku mutala Kisozi okumpi n’olusozi Naggalabi mu Busiro, mu ggombolola ya Ssabagabo Nsanji. Kiriggwajjo yali musajja omuyizzi era kigambibwa nti olumu yali agenze okuyigga, engabi eyitibwa entoloogo n’emuttira kukizigo. Engabi eyitibwa entoloogo y’eyo etamera mayembe era ebeera nkazi. Abaana ba Kiriggwajjo olwamanya nti Engabi yali esse kitaabe, olwo nebalayira nti “Alibalaba bazzeeyo okulya engabi, wadde okugiyigga.” Okuva olwo, Engabi n’efuuka omuziro gwabwe ate ggwo omulimu gwobuyunzi ne guba akabonero kaabwe akalala mululyo lwabwe. Okuva olwo abaana n’abazzuku ba Mulamba tebaddayo kulya yadde okuyigga engabi. Wano omuziro gw’Engabi Ennyunga wegwatandikira.
Kiriggwajjo yafa ng’amaze okuzaala abaana era mubaana be mwalimu ayitibwa
Birimumaaso/Balimunsi. Awaka Kirigwajjo yalinawo ente ng’eyitibwa Bakuseera era ente eno bweyazaala, Balimunsi ebiseera ebyo yali mulenzi muto nga omulimu gwe awaka, gwali gwakulunda nnyana. Abantu abalaba Balimunsi nga alunda akate ako kuttale nga bamwogerako nti “akaana k’ennyana.” Enjogera eno yeyavaamu erinnya ekkulu ennyo oluvannyuma eryafuuka Kannyana.
Balimunsi yeyasikira kitaawe Kiriggwajjo era ye Kannyana eyasooka. Nokutuusa kati Omukuklu w’ekika ky’Engabi Ennyunga ye Mutaka Kannyana. Kiriggwajjo amanyiddwa nga Mukyondwa ye Jjajja w’Ekika ky’Engabi Ennyunga.
Emabegako eyo Mulamba bweyayunganga abaafunanga obuvune, mu kuyunga kuno yeeyambisanga eddagala lyeyanoganga ku kaddo akayitibwa akakumirizi keyajjanga ku ttale. Mu kakumirizi omwo Mulamba mweyagattanga amulusu ge, olwo nalyooka ayunga abamenyese era nebawona. Akaddo kano abamu bakayita akayeeyo anti keyambisibwa nga olweyo. Akayeeyo bwekeyambisibwa nga eddagala, olwo nga kafuuka akakumirizi. Awo ennono y’okuyunga w’eva okusimba amakanda mu kika kino. Akakumirizi ke kabbiro k’ekika Ky’Engabi Ennyunga.
Nazzikuno nga abaganda basimba nnyo akatittiriri akayitibwa akakumirizi mu mpya zaabwe. Omuntu awoomerwa nnyo ennyama y’engabi era kyava agiyigga. Naye olwokuba nga akakumirizi kajiwoomera nnyo, ebyokugiwalanya ebyerabira n’ejja okulya ku kaddo kano.
Omubala gw’Ekika ky’Engabi Ennyunga
Aboogera ebyekika bagamba nti, mu biseera ebyedda waaliwo omuzzukulu mu lulyo luno nga ayitibwa Katadde, eyali omusajja wa Kabaka Bbemba nga atuula kumutala Kitala mu Busiro. Kigambibwa nti Kabaka oyo yaleegesa engoma ye n’agituuma erinnya Kitaase era nagikwasa omuzzukulu oyo. Olwo naye nakazibwako erinnya ly’engoma eyo. Katadde ku ngoma eno kweyakubanga omubala mungeri yokuwaana Kabaka. Omubala ogwo gwagamamba nga nti: “Katadde agamba, Katadde, kakube okamenye, Katadde, Abayunga tunakayunga, Katadde”. Ebigambo bino byakwata n’olulyo leonna omubabiro, okukakkana nga bifuuse eby’engombo mu ngeri y’omubala gwekika. Omubala ogwo kati gugamba nti: Kakube ; okamenye; Abayunga tunakayunga. Yunga Yunga” Kitasse ly’erinnya ly’engoma enkulu mu kika kino era okwo kwebakuba omubala.
Abawanuuza kuby’Omutaka Kannyana bagamba nti entalo ezaagwawo mu budde obwo, nga
Kintu alwanyisa Bemba e Buddo, ze zawaliriza Balimunsi Kannyana okudduka okuva e Kisozi mu Busiro nasengukira ku mutala gweyatuuma Butuulo, mu Mawokota. Ng’ ali ku Butuulo Kannyana yayongera okugaziya olulyo lwe era yafunira ku mutala guno ezzadde ddene. Omwana wa Kannyana omukulu ye Bwende. Eryo erinnya liva mukigambo Wende, ekitegeeza entebe , oba awabeera abantu, oba yitawo ekyalo, era kiyinza okutegeeza obutuulo. Nolwekyo erinnya Bwende liva mukigambo Buwende. Naye munjogera ennyangu, lyatulwa Bwende. Kyova olaba nga obutaka bwa Kannyana buyitibwa oba buli kukyaalo Bwende.
Ebyafaayo bitulaga nti Mutaawe owe Nandwagudde mu Busujju, yakwata mutabani we Muyiga namuweereza eri Kannyana mu Mawokota. Omwana ono kigambibwa nti Jjumba ow’Enkima, Omutaka w’Ebunjakko mu Mawokota yamunyaga. Kannyana yalina mutabaniwe omulala ng’ayitimbwa Mukulu kigambibwa nti naye Jjumba yamunyaga bombi nabatwala abawongere olusozi lw’Abenkima oluyitibwa Ssali, oluli e Bunjakko mu Mawokota. Olusozi Ssali lwa jijja oba luyite olwazi. Kigambibwa nti olusozi luno lwasenguka okuva ku Kizinga Bunjakko okuli obutaka bwa Jjumba ne ludda mu nnyanja Nalubaale . Abawanuuza bagamba nti bwelwaali lusenguka lwagenda n’ebintu bingi ebyali biluwongeddwa. Awo bbo abawanuuza ebya Kannyana webagambira nti “Olusozi Ssali lwagenda n’abaana ba Kannyana.”
Enneeyisa ya Jjumba nejjoogo kigambibwa nti byakosa nnyo Kannyana Omutaka we Butuulo mu Mawokota naye yali agumye n’asigala kubutaka bwe. Kyokka ekiseer kyatuuka ekyokuleeta Omulangira Kimera. Mu budde obwo Ssekabaka Ccwa Nabakka mweyabulira, kale Obuganda nebusigala ttayo. Mubazira abalondebwa okugenda okukima Omulangira Kimera e Kibulala mu Ssingo (olwo Kibulala kyali Bunyoro nga w’ewaali embuga y’Obukama bwayo), Jjumba e Bunjakko yeyabakulembera. Omulangira Kimera yali ajja mu Buganda afuuke Kabaka era atuule ku Namulondo. Omulangira Kimera yajja ne mukulu we omunnabbeere ayitibwa Nsamba.
Ssekabaka Kimera bwagundira ku ntebe y’Obwakabaka, yakwata mukulu we Omulangira Nsamba n’amukwasa Jjumba amutwale ku butaka bwe e Bunjakko. Naye mbu bwebaba bagenda, kwekusanga Omutaka Kannyana ow’Engabi Ennyunga. Kigambibwa nti Nsamba kwekusalawo abeere awo ku Butuulo, mu Mawokota. Okuva olwo Nsamba teyadda mu Lubiri olwo nafuuka “abatabuuka ssanga.”
Obutaka bwa Kannyana Jjumba yabwawuzaamu n’awaako ne Nsamba. Olwo Kannyana n’asigaza oludda ne Nsamba naye n’atwalako oludda. Naye nti oluvannyuma ne batakkaanya era nga bayombayomba buli kadde. Kannyana yamanya nti tayinza kusobola lutalo olwo nga akyajjukira bulungi olunyaga Jjumba lweyamunyagamu natwala n’abaana be. Mubulumi obungi Kannyana yava ku Butuulo, naye nga “abuwanda lulusu”, olwokuyigganyizibwa Nsamba ne Jjumba. Awo ekyalo ekyo wekyafunira erinya erya BUWANDA. Na buli katai Omutaka Nsamba yasigala okwo. Kinajjukirwa nti, Nsamba ye mukulu wa Ssekabaka Kimera, nnyabwe Namasole Wannyana bw’abazaala. (Wannyana wa Nsenene era muzzukulu wa Mugalula e Kisozi Ggomba).
Kannyana asengukira ku bizinga bye Ssese
Nga Kannyana n’abantu be bagobye mu bizinga bye Ssese, basenga ku kyalo Kannyana kye yatuuma Bwendero. Okwo ku Bwendero, kweyakuba obutaka bwe obuggya. Ngabakalidde ku butaka bwe Bwendero, beyongera mumaaso n’omulimu gwabwe ogwobuyunzi era n’okuyigga. Abazzukulu abamu bayiga okuluka obutimba bwe by’enyanja era nebayiga n’okubajja amaato.
Kannyana ku Bwendero yalwako nnyo, naye oluvannyuma yafunirako ekizibu ekyamuviirako okusenguka nate. Mu bazzukulu be abaali e Ssese, mwalimu omu ayitibwa Mubuya eyali omuvubi. Olumu omuvubuka ono, yayagala okuwasa, bazadde b’omuwala baamusalira ente esinga obunene ku Ssese. Mubuya ne banne baalowooza nti, baabasalira nvubu. Olwava eyo nga bagenda ku giyigga. Tebaalwa nga basiba migwa, envubu bweyagwa mu mutego gwabwe, nga batandika kugisika. Eby’embi envubu yabasinza amaanyi okukkakkana ng’ebasudde mu nnyanja. Bonna ne bafiira eyo e Buziba.
Kitaawe w’abaana bano eyali ayitibwa Mulenga muganda wa Kannyana, bwe yategeera ekyo, n’agenda ewa Kannyana n’amutegeeza nga bwe yali avudde mu kika ky’Engabi
Ennyunga,ng’azze mu ky’Envubu. Okuva olwo ekitundu ky’ezadde lya Kannyana ekyo ne kidda mu Nvubu.
Oluvannyuma, kino kyeraliikiriza nnyo Kannyana, era n’asalawo asenguke ave ku kizinga. Yasitula kiro n’abantu be yogaayoga ng’ali ku Bwende mu Buddu na buli kati. Yagobera ku mwalo Namirembe, eryato Kannyana mwe yawungukira liyitibwa Nabwende (Nabende).
Bwende kiri mu muluka gw’e Kitunga mu ggombolola ya Ssaabagabo Kyannamukaaka, Buddu. Obwo bwe butaka obukulu obw’ekika ky’Engabi Ennyunga.
Mu kika kino mulimu Amasiga 8:
Essiga Obutaka Essaza Alitwala
1. Bwende - e Bwende - Buddu - Christopher Wamala
2. Ngoga - e Mayanja - Buddu - Peter Bazimba
3. Kamiiru - e Buwunde - Buddu - Joel Ssekabanja
4. Ssonzi - e Ssonzi - Buddu -Major Wasswa
5. Kapuupa - e Lubumba - Buddu - Aden Kyabukasa
6. Namuyimba - e Kibaale - Kkooki - Joseph Kyagulanyi
7. Mugenyi - e Lwanda - Kkooki - Mourice Mukasa
8. Kyabukasa - e Kyabukasa - Buddu - Emmanuel Wamala
Mumasiga gano, essiga lya Bwende mwemuva abalya Obwakannyana. Era Obwakannyana bwa nsikirano mu lunyiriri lwabwe olulina obutaka e Kyambogo mu ggombolola Kyannamukaaka. Kannyana talina mulimu gwonna gw’akola ku Kabaka butereevu oba mu Lubiri okuggyako abazzukulu b’omu kika kino.
Gino gye mirimu gy’ekika
1.Okukanda (massage). Kino kikolebwa ng’omuntu funye ekimenyomenyo mu mubiri oluvannyuma lw’okukola ennyo emirimu gamba: okuyigga, okudduka. Ffe tukanda Kabaka.
2.Okuyunga. Omuntu ng’amenyese eggumba oba ng’anuuse oba ng’akyuse, ab’ekika kino ffe tumuyunga n’awona era ffe twayunga ente ya Ssekabaka Kintu.
3.Okuyonda emiyondo. Ffe tuyonda emiyondo n’emigwa gy’abambowa ba Kabaka gye beeyambisa mu mulimu gwabwe.
4.Olubugo olubikka ku Majaguzo. Ekika kino, ffe tukomaga Ekikunta ekibikka Eŋŋoma z’Obwakabaka enkulu eziyitibwa Mujaguzo.
Ekika ky’Engabi Ennyunga kino kyaddamu okutongozebwa Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 nga 17 February, 2005. Omukulu w’ekika aliwo kati ye Mutaka Kannyana Daniel Kiwana.
Amannya agatuumibwa mu kika
Olw’okubanga ffe Abayunga tuva mu jjajja waffe omu, tutuuma amanya ge gamu. Okuggyako erinnya erya Kannyana erituumibwa omukulu w’ekika yekka; tusobola okutuuma amannya amalala gonna.
Kannyana afuna erinnya lino ng’amaze okusikira oyo abadde Kannyana.
Abalenzi Abawala
1. Bwende
2. Ssebwende
3. Ssebende Nnabende
4. Mutaawe Nnamutaawe
5. Kakadde
6. Ssekkadde Nnabakadde
7. Ssekyondwa Nnakyondwa
8. Mukyondwa Nnabakyondwa
9. Mukyonzi
10. Muyunga Nnabayunga
11. Mijumbi Nnamijumbi
12. Talaga
13. Mujunza
14. Kabanja
15. Ssekabanja Nnakabanja
16. Kiwana
17. Kikapwa
18. Balimuttajjo
19. Ssonzi Nnassonzi
20. Kyabukasa
21. Kamiiru Nnakamiiru
22. Kapuupa Nnakapuupa
23. Ngoga Nnangoga
24. Mulamba Nnamulamba
25. Luttaakumwa
26. Lubandi Nnalubandi
27. Kagubaala
28. Kitasse
29. Mirembe Nnamirembe
30. Basubwa
31. Muleeyi Nnamuleeyi
32. Migiira Nnamugiira
33. Lugembo
34. Luyigga Nnaluyigga
35. Kyabayinda Nnabayinda
36. Kinsambwe
37. Namuyimba
38. Mugenyi Nnamugenyi
39. Luyombo Nnaluyombo
40. Kisuule Nnakisuule
41. Ssenkaali
42. Ssemmambya
43. Mwero
44. Kyamwero Nnamwero
45. Musanje Nnabasanje
46. Aliddeki
47. Teyeeyunga
48. Nyanjetta
49. Ssemuyonjo
50. Kitasse
51. Mujjansi
52. Kanwagi Nnakanwagi
53. Ssemuyonjo
54. Muganzi Nnamuganzi
55. Bayinda Nnabayinda
56. Kakaayira
57. Bannanze
58. Matovu Nnamatovu
59. Ssekanwagi Nnakanwagi
60. Teyeeramba
61. Tebasubwa
62. Migga Nnamigga
63. Karyamaggwa
64. Bakuseera
65. Kirimutuzzi
66. Kyaluzzi Nnakyaluzzi
67. Ssemugenyi Nnamugenyi
68. Ssemuddu
69. Sseruyigga Nnaluyigga
70. Kassamitala
71. Ssennyanja Nnannyanja
72. Ssebayinda Nnabayinda
73. Ssebikindu Nnabikindu
74. Nsibambi
75. Muwemba Nnabawemba
76. Ntanda.
Amannya amalala mangi agatalagiddwa wano naye nga gatuumwa mu kika kino.
Wadde ng’amannya gano wammanga, oluusi gasangibwa mu kika kyaffeeky’Abayunga naye si ga nnono, wabula ga Basambaganyi, bazzukulu b’omutaka Nsamba e Buwanda.
1. Lubega Nnalubega
2. Nsamba Nnansamba
3. Bweteme Nnabweteme
4. Muwonge Nnamuwonge
5. Yiga Nnayiga
6. Mulindwa Nnamulindwa
Kannyana alina aba masiga bano wammanga era n’emituba gyabwe ejikyamanyiddwako.
Essiga lya Bwende
Omutaka atwala essiga lino ayitibwa Chrisopher Wamala obutakabwe buli Kyambogo Buddu. Lino lye ssiga omuva Kannyana.
Emituba egiri mu ssigga lya Bwende:
Mutuba
Agutwala
Embuga y’Omutuba
Malikaani
Leo Mbulonjawule
Kibalama – Tanzania
Aliddeki
Charles Lwanga
Mmanzi – Kabonera Buddu
Muyinza
Bayunga
Nattita – Kalungu buddu
Kangalabwa
Paulo Lubega
Kiweesa – Kyamulibwa Buddu
Tebajjanga
Iflaimu Muwonge
Kabiji – Bukomamsimbi
Kiwana
Lubega Ssebende
Bbotera – Kabuwoko Buddu
Ennyiriri eziri mutuba gwa Malikaani:
Lunyiriri
Alutwala
Embuga
Mutunzi
Bwemijja - Kabula
Balimuttajjo
Kizigo - Kyanamukaaka
Ennyiriri eziri mu Mutuba gwa Kangalabwa:
Lunyiriri
Alutwala
Embuga
Bombombokka
Abdalaziizi Bombo
Kiweesa - Buddu
Muwonge
Ssalongo Eriasa Muwonge
Nabusanke - Ggomba
Matovu
Abdul Matovu
Kyannamuli - Buddu
Kadari
Kyambala – Kalungu
Ssaddala Nume
Ennyiriri eziri mu Mutuba gwa Kiwana:
Lunyiriri
Alutwala
Embuga
Buganga
Bosco Ssewannyana
Botera - Buddu
Makula
Vincent Matovu
Matale - Buddu
Mpologoma
Ronald Mutaawe
Kawuuwa - Buddu
Essiga lya Ssonzi
Omutaka atwala essiga lino ye Major Wasswa obutaka bwe buli Ssonzi – Kooki
Emituba egiri mu Ssiga lya Sonzi:
Mutuba
Agutwala
Embuga yo Mutuba
Kitali
Ellemegilido Muyunga
Kijumba/Kifampa
Kwezi
Yakobo Matovu
Kagongere
Kikanduse
Abudu Mugenyi
Lwannambogo/Byakabanda
Kannabutongo
Joseph Matovu
Kanoni – Rakai
Kagolo
Yusufu Waswa
Vvuma Lwankoni
Magambo
Yusuf Mukasa
Ngono Kabira
Muyijjo
Lukolo – Kyanamukaaka
Ssemukasa
Mutaawe Mundu
Lugala – Kyaddondo
Tabula
Akamada Muyunga
Nsese – Kifamba
Essiga lya Kyabukasa
Omutaka atwala essiga lino ye Cardinal Emmanuel Wamala. Obutaka bwe buli Kamaggwa – Kalisizo Buddu
Emituba egiri mu ssiga lya Kyabukasa:
Omutuba
Agutwala
Embuga
Mutale
Kigenya – Kasaali
Ssendijja
Baziri Kyamera
Bbale – Kalisiszo
Mirembe
Vicent Kyamera
Kamaggwa
Wantate
Leonard Kiwanuka
Kigenya
Tebajjanga
Kabiji – Butenga
Kunsantala Kulya
Paulo Nkalubo
Mitete
Essiga lya Kapuupa
Omutaka atwala essiga lino ye Aden Kyabukasa. Obutaka buli Lubumba Kyannamukaaka.
Emituba egiri mu Ssiga lino:
Mutuba
Agutwala
Embuga
Buzigi
Jamada Lukanika
Misanvu - Kibinge
Munyagwa
Lubega Elinasan
Kamuzinda - Buddu
Tasobola
Lubega
Nabinene
Ngabona
Lwanga
Kyenumba - Kirumba
Ennyiriri eziri eziri mu Mutuba gwa Buzigi:
Lunyiriri
Omukulu wo lunyiriri
Embuga
Nkwanga
Jamada Lukanika
Mbiriizi
Mutuba
Henry Yiga
Kikaaya
Kyawemba
Kamya
Kimanya
Kinsambwe
Twha Kinsambwe
Kayunga - Mawogola
Mwereza
Mustafa Muwereza
Kyankole - Butenga
Yiga
Kabale - Mutale
Mukasa
Kikungwe - Kitanga
Ennyiriri eziri mu Mutuba gwa Munyagwa:
Lunyiriri
Omukulu wo lunyiriri
Embuga
Kalyamaggwa
G. Mutaawe
Kindu
Salongo Bukenya
Nyendo
Ennyiriri eziri mu Mutuba gwa Ngabona
Lunyiriri
Omukulu wo Lunyiriri
Embuga
Kalifaani Kalyamaggwa
Kyango
Essiga lya Kamiiru
Omutaka atwala essiga limo ye Yosia Joel Ssekabanja. Obutaka buli Kkindu – Buddu
Emituba egiri mu ssiga lya Kamiiru:
Mutuba
Agutwala
Obutaka
Makayu
Yosiya Ssekabanja
Kibiri - Kyaddondo
Misunsa
Muyunga Sulaiman
Kaboyo - Buddu
Tamuzadde
Katigondo - Buddu
Kasumba
Gwayambadde
Lutaakumwa
Essiga lya Ngoga
Omutaka atwala Essiga lino ye Peter Bazimba. Obutaka buli Kayanja Buddu
Emituba egiri mu Ssiga lya Ngoga:
Mutuba
Agutwala
Obutaka
Kakyondwa
Umaru Ssennoga
Kyotera
Lwakalinda
Petero Bazimba
Mayanja – Kannabulemu
Kyabayinda
Namuyimba Anatoli
Kabaale – Kakuuto
Muyimba
Mutaawe Mulisio
Ssanje
Ssendikaddiwa
Minziiro – Kannabulemu
Essiga lya Namuyimba
Omutaka atwala essiga lya Namuyimba ye Joseph Kyagulanyi. Obutaka buli Kisaka – Kibaale
Emituba egiri mu Ssiga lya Namuyimba:
Mutuba
Agutwala
Obutaka
Mwera
Joseph Kamulali/Alex Wamala
Kannabulemu
Ssebwato
Mikidaadi Sserwanga
Konge – Kyaddondo
Baziwaane
Paulo Mutaawe
Kanoni – Buddu
Nanjuuba
Tomas
Nkenge
Gamyuse
Kabira
Lugembo
Abdul Magidu Mutaawe
Ssanje – Kakuuto
Essiga lya Mugenyi
Omutaka atwala e Ssiga lya Mugenyi ye Maurice Mukasa. Obutaka buli Lwanda Kooki
Emituba egiri mu Ssiga lya Mugenyi:
Mutuba
Agutwala
Obutaka
Muwanga
Kaswa- Bukoto
Ssekyoya
Kannabulemu
Katomera
Kibulala – Mawogola
Nnyumba
George Nnyumba
Lwanda
George Matovu
Bukoto
Bayitanomugumu
Mukasa Bayita
Kasango – Bukoto
Dr. Abaasi Mukyondwa Kabogo
Katikkiro w’Ekika Ky’Engabi Ennyunga
17th December, 2021