Njovu (Elephant)

Totem | |
---|---|
Akabbiro | |
Clan Leader | |
Estates | |
Ssaza | |
Omubala Clan (motto) | |
EKIKA KY’ENJOVU
EBYAFAAYO EBITONOTONO EBIKWATA KU NTANDIKWA Y’EKIKA KY’ENJOVU.
Ebyafaayo ku ntandikwa y’ekika ky’enjovu birimu enjuyi bbiri; Ebiwandiike n’ebiwanuuzibwa.
1.EBIWANDIIKE :
Jjajja w’ekika ky’enjovu ye SSESSANGA.
Ssessanga, yajja ne Kintu nga yeeyali omukwasi w’amafumu ga Kintu n’engabo ye. Kintu nga akubye e Kibuga e Nnono, Busujju, yawa musajjawe Ssessanga ekifo ku kyalo Ntonyeze, Bussujju.
Ku Ntonyeze, Ssessanga kweyazaalira omwanawe Mukalo ne bagandabe abalala. Ssessanga bweyafa, omwana we Mukalo yeeyamusikira. Kabaka cwa Nabaka, yeeyayasimbira Mukalo Omutuba e Kambugu, Busiro naava e Ntonyeze. Okuva olwo, Obutaka bw’ekika ky’enjovu buli Kambugu.
(a) OBUKULEMBEZE BW’ENNONO; [ENNYIRIRI Z’OMUKASOLYA N’AMASIGA]
Mu kika ky’enjovu, mulimu Abataka ab’ennyiriri z’Omukasolya / ez’etuukira obutereevu ( Baganda ba Mukalo abaamuyiimirira mu mugongo ng’asikira kitaabwe Ssessanga] zeezino 7 n’obutaka bwabwe:
1.Olunnyiriri lwa Kinviirewo e Kambugu , Busiro (Luno, mwemuva abalya obwa MUKALO)
2.Olunnyiriri lwa Kayaaye e Ntonyeze, Busujju
3. Olunnyiriri lwa Mulyanga e Bulenga, Busiro
4. Olunnyirir lwa Kannantebya e kiteezi, Kyaddondo
5. Olunnyiriri lwa Kasiiwukira e Kyambizzi, Kyaddondo
6. Olunnyiriri lwa Bijugo e Kitegombwa, Kyaddondo
7. Olunnyiriri lwa Katagaliko e Kalemba, Bugerere.
(b) AB’AMASIGA MU KIKA KY’ENJOVU : (Bano beebana ba Mukalo beyazaala 8 n’obutaka bwabwe):
1.Kikomeko e Luubu, Mawokota
2. Ggulu e Busaabala, Kyaddondo
3. Kakembo e Zzirannumbu, Kyaddondo
4. Ntambi e Lubya, Kyaddondo
5. Ssebanyiiga e Kyaz Kojja, Kyaggwe
6. Ssentomero e Zzinga, Kyaggwe
7. Ssemakadde e Mpuku, Kyaggwe
8. Ssemambo Ssebuufu Ssewandigi e Buligi, Butambala
Ennyiriri ezo Ennangira n’Amasiga mwe mwaava Ekika ky’enjovu.
Ennyiriri Ennangira zaazaala Empya e nkulu mu Nnyiriri ezo.
Amasiga gazaala Emituba, e Mituba gizaala e Nnyiriri ne zivaamu Empya.
Omutaka Mukalo aliko kati ye we 18 okuva kuyasooka. Ye ; SSAALONGO DAVID SILVESTER SSESSANGA.
Obutaka buli: KAMBUGU, BUSIRO,
(c) EMIRIMU GY’EKIKA KY’ENJOVU MU LUBIRI:
1.Obusmba bw’ente: Gukolebwa Omutaka Ssensalire owe Kawoko, Busiro, mutabani wa Ntambi e Lubya. Ente gyasumba eyitibwa Mugumba.
2. Okuvuba e nkjje Walulenzi : Gukolebwa Ssempyangu mutabani wa Ggulu e Busaabala. Ezo, z’enkejje ezaalula abaana ba Kabaka.
3. Okukuba akadinda : Gukolebwa kuva mu Ssiga lya Ssemambo Ssewandigi e Buligi, Butambala
4. Obukomazi : Gukolebwa Katale owe Ssunga, Buddu; mutabani wa Kikomeko e Luubu.
5. Ekitongole e Kiryanga : Ekiwanika ebikozesebwa mu Lubiri.
(d) Ba Kabaka abaazaalibwa abakyala ab’Enjovu :
1. Kagulu Tebucwereke
2. Jjunju
3. Ssemakookiro
4. Muteesa I.
(e) AMANNYA AGATUUMWA MU KIKA KY’ENJOVU :
AG’ABASAJJA;
Ssemambo, Kakembo, Ssessanga, Galabuzi, Ssemakadde, Batte, Ssetyabule, Ndagayi, Ssegujja, Lukoda, Ssezooba, Ssenteza, Ssembajja, Sserubula, Ssebanyiiga, Ssozi, Ssekimpi, Ssedyabane, Makonzi, Sserubula, Mbazi, Kibombo, ,Kikomeko, Ntambi, Ssensalire, Ssenyomo, Ssebyayi, Kirwana n’amalala.
AG’ABAKAZI :
Nnassanga, Nnanteza, Nnakate, Nnassozi, Nnagujja, Nnamugenze, Nnantambi, Ndibalwanya, Nnamaato, Nnakandi, Nnabakembo, Nnakakembo, Nnabisinde, Nnabitalo, Nnamakadde, Nnabinene, Nnabatte, Nnakayiga, Nnabwato, Nalubula, Nnalwanga n’amalala.
Ebirala ebiwanuuzibwa ku ntandiikwa y’Ekika ky’enjovu:
Abalala bagamba nti, e kika kino kyasibuka mu musajja, KIBAYA (Eyakazibwako eya Musunku olw’ebyoya ebingi byeyalina ku mubiri gwe). Kibaya ne mukazi we baazaala abaana; Ssegujja ne Nagujja. Bazzaako okuzaala e Njovu (kikulekule) era baaweebwa ekilowoozo , Batte ekikulekule ekyo. Kkyokka, abaana (Ssegujja ne Nagujja) bwebaawulira ekiteeso ky’okutta n’okusuula muganda waabwe Wanjovu, baamujjawo ne bamukweka gyebaamuweeranga amata.
Nagujja bweyafumbirwa, baasaba bba abakkirize babudamye muganda waabwe ku Buko era naye nakkiriza. Oluvannyuma lw’ebbanga, enjovu yafa ne bagibaaga ne bajjijjako eddiba nebagibamba nga bakozesa e MMAMBO. Wano, weewaava erinnya SSEMAMBO erituumwa ennyo mu kika kino.
Erinnya BATTE Nalyo kkulu nnyo mu kika kino kubanga litujjukiza abaaleeta ekiteeso ; Batte e Njovu.
Enjovu bwebaamala okugijjako eddiba, ne bagikaza ne gufuuka OMUKALO.
Erinnya MUKALO ery’omukulu ow’Akasolya k’abeddira e Njovu we lyava.
JOSEPH NDAGAYI MUTAAWE
KATIKKIRO W’EKIKA KY’ENJOVU