Ngabi Ensamba (Antelope)
Totem
Akabbiro
Clan Leader
Estates
Ssaza
Omubala Clan (motto)
ENGABI KU MUTIMBAGANO                                           
EKIKA KY’ENGABI
Ekika kye Ngabi kyekimu ku bika by’aBaganda ebimanyiddwa era kiri mw’ebyo ebisinga obugazi. Akulira ekika kino y’ Omutaka Nsamba ng’atuula ku mutala Buwanda mu Saza ly’eMawokota, Ggombolola ya Musaale Buwama ate omuluka gwa Mumyuka. Nsamba aliko ye Lubega Magandazi II Aloysius Lukonge
Nsamba Magandazi II Lubega Lukonge Aloysius
Nsamba owa 31
Okuviira ddala ku Nsamba Lubega Lukonge ayogerwako nga Nsamba omuberyeberye, bano wammanga be bakalya Obwa Nsamba mu nsikirano yaabwe.
1.    Nsamba Lubega Lukoonge.    
2.    Nsamba Muyomba I.
3.    Nsamba Kaawa.
4.    Nsamba Kyaki.
5.    Nsamba Ssebyala.
6.    Nsamba Mbazzi.
7.    Nsamba Bbombokka.
8.    Nsamba Kinene Bukenya.
9.    Nsamba Wobusungu.
10.  Nsamba Bussoomu.
11.  Nsamba Muyomba II
12.  Nsamba Kagugube.
13.  Nsamba Matovu.
14.  Nsamba Kikubo.
15.  Nsamba Luwenda.
16.  Nsamba Kayoga.
17.  Nsamba Baluleeta I
18.  Nsamba Kaluuma.
19.  Nsamba Kasozi I
20.  Nsamba Nseko.
21.  Nsamba Katalo.
22.  Nsamba Kyobenga.
23.  Nsamba Nkolo.
24.  Nsamba Kamoga I
25.  Nsamba Sseguya. **
26. Nsamba Masengere Kinnanisi.
27. Nsamba Yozefu Magandaazi Baluleeta I ( …….-1910)
28. Nsamba Irera Lubega Mukaaku (Yeyasooka okuba omukulu w’ekika kye Ngabi kyona eyasooka) 1910-1943)
29.  Nsamba Antonio Kasozi II (1943-1972)
30.  Nsamba Yozefu Kamoga II  (1972-2017)
31.  Nsamba Aloysious Lubega Magandaazi II (aliko kati)
NB. ** Nsamba Seguya obwa Nsamba yabukuuma mu biseera byentalo zeddini anti Nsamba Kamoga (24) yagaana okusilamuka nadduka, olwo Seguya nasigala nga akuuma obwa Nsamba. Nsamba Kamoga I yafa ngadda ebuwanda . Seguya teyanyegenya kuva kubukuumi okutuusa naye lweyafa olwo mutabani wa Nsamba Kamoga I , Masengere nalyoka a tuuzibwa ku bwa Nsamba.
Mu masooka ab’eNgabi abamu tebaavanga mu NSAMBA wabula buli lulyo nga lwetwala lwokka.  Ssekabaka Daudi Ccwa 11 eyazaalibwa ab’eNgabi ye yalagira bakkojjaabe okwegatta awamu bafune obukulembeze abwawamu. Kino kyateekebwa mu nkola mu mwaka gwa 1927 endyo z’abeddira e Ngabi bwezaatuula ne bakkiriziganya Nsamba okuba omukulu w’ekika kyabwe. Okuva olwo okutuusa wano jjo ly’abalamu ku mulembe Omutebi Nsamba yabadde atwala abeddira eNgabi bonna mu Buganda era Nsamba Yileera Mukaaku Lubega ye Nsamba eyasooka okuba Nsamba atwala abe’Ngabi bonna awamu mukitole.
ENSOLO GY’EBAYITA ENGABI
Engabi nsolo ya mu ttale nga bweba ekuze bulungi yenkana ennyana. ENgabi ennume erina amayembe nga ssi manene nnyo era nga ssimawavu nnyo nga kumutwe geesimbye bwesimbi. Engabi oluusi eba n’oluyina mubulago nga lweru. Engabi ewomerwa nnyo obuti obuyitibwa ejjerengesa obusangibwa ku mbubuto z’ebisaka n’ebibira oba. Engabi emanyiddwa nnyo nti tesavuwala era kuno ndowooza kwekwava nenjogere ya ‘kyebonere ng’amasavu geNgabi’ olwobutalabilabika. Abayizzi baginyumyako ngensolo eteri nyangu mu kuyigga.Kunsonga eno kwekwava nokugereesa nti ekitimba ekikadde tekukwata Ngabi, anti bw’ekigwamu ekiyuza nekiyitamu neyeyottera.
 
Engabi etandikwa etya okuyitibwa engabi
Kino kyogerwako mugeri zanjawulo ng’esooka kigambibwa nti abayizzi baayigga akasolo ne bakeegabanya bulungi awataali buzibu bwonna.  Bwebamaliriza okugabana abamu kwekutandika okugamba nti akasolo kano ketwasse kagabika, anti buli omu yafuna. Bayongera okuyigga  nokutta banne bakasolo kali akagabika. Olwokuddiŋananga olunye ebigambo kagabika  awo erinya ngabi we lyatandikira nga lisalibwako munjogera eya KAGABI n’olvannyuma neyitibwa eNgabi.
Engabi efuuka etya omuziro
1. Kiwanuuzibwa nti waliwo jjajja ffe omuberyeberye eyayigga obusolo mu ttale nga n’obugabi tebubuzeemu. Olumu bwe yalya ennyama y’engabi yayisibwa bubi nnyo era mbu naalwala nnyo n’okuyubuka n’ayubuka yenna omubiri. Olwa kino ekya mutuukako kye yava alagira abantube n’abolugandalwe obutaddiranga kulya nyama ya Ngabi. Okuva kwolwo abaana ne bazzukulu be tebaddayo kukomba ku nnyama ya Ngabi okuva olwo engabi nefuuka muziro gye bali na buli kati.
2.Abandi bakinyumya nti edda kumulembe gwa Ssekabaka Muwawa jjajja ffe abeNgabi yagenda okuyigga ng’ali nebasajjabe nebakooyerayo nnyo ne basalawo okubaako we bawumulirako okumpi n’akasaka. Bwe baali bakyawumuddeko ensolo n’efubutuka emabega w’obusaka obwali bulinanye okumpi ne we baali bawummulidde ne dduka ng’ebolekedde n’omusinde omunene ddala. Bafuna okwekanga kungi nnyo olw’omusinde gweyakuba anti ekyekango bakigamba nti tekimanya muzira. Mukwekanga kuno nga buli omu adduka okutaase obulamu enkutu/eddiba lya Jjajja waffe welyaseeseetukira n’okugwa nerimugwako obwererebwe nebulabika era nasonyiwala nnyo eri basajjabe beyali nabo. Ensolo eno ng’emaze okubulilayo Jjajjaffe  kwekubuuza bassajja be nti eyo yye bannange ebadde nsolo ki?  Bamutegeeza nti yali Ngabi era kino kyamukola bubi nnyo anti engabi yali emuswazizza nnyo eri basajjabe olw’okulaga obwererebwe gyebali. Yavumirira ekisolo ekyo nagattako okukiyita ekyekivve nnyo, eky’ekisiraani era kibi nnyo. Okuva kwolwo yalagira abaana, n’azzukulu ne basajjabe obutaddagayo kuyigga oba okulya eNgabi obulamu bwaabwe bwonna. Okuva ku muyigo ogwo e Ngabi n’efuuka omuziro gwaffe  nabulikati.
AKABBIRO  kab’eNgabi   JJERENGESA
Ejjerengesa butiiti nga busangibwa ku mabbali gebibira, embirabira oba ku bisaka. Engabi ebuwoomerwa nnyo nga bwotedde (Laba ekifaananyi).
Ejjerengesa nga bwelifaanana
OMUBALA
Omubala gwaffe abasambaganyi ogusinga okukozesebwa guvuga nti:
“KKALIKUTA KALIKUTANDA NEKAKUTWALA MUB’ENGABI ABASAMBAGANYI”
Omubala omulala guvuga nti “KAKKU KAKKUTADDE; TADDE KAKKU” gono gwa Nsamba yekka
Omukubi w’omubala omurungi nebwatayogera kilala kyonna okujjako okwamira, eŊŋoma yennyini omukubi asobola okugyatuza ebigambo ebiri mumubala era abawuliliza nebamannya mubala gwakika kki oguba gukubibwa essawa eyo.
Mukusooka omubala gwab’eNgabi gwavuganga “ Kaabula kata Nsamba alye obwa Kabaka” envuga yagwo yataputibwa ekifuula nnenge abasakirizi ekintu ekyali kiretera abengabi emirerembe. Okwewonya munsonga eyo kwekwva okukyusa envuga y’omubala guno.
Nsamba Lubega Lukonge y’ani?
Nsamba ye mutabani wa Wanyana omuberyeberye nga yamuzaala mubbawe eyasooka ng ayayitibwanga Lukonge ate mubbeera wa Ssekabaka Kimera anti bombi Wannyana yabazaala nga Kimera yadda ku Nsamba. Ewa Kabaka Wunyi Nsamba yali mwana mujjanannyina. Ono mu lubiri nga kizibu nnyo okumanya nti teyali mwana wa Kabaka ye ate ng’oyinza otya okwetantala okuboola abaana bo mulubiri okujjako nga wali oyagala kwezaalira bitukula makaayi byazalira ku ttale. Wannyana mukutwalibwa e Bunyoro olubuto lweyagenda nalwo bwe yaluzaala omwana yali wa bulenzi era yamutuuma erinnya lya Lukonge ng’e rinnya lino lyeyamuwa lyeryali erya baawe  Kabaka Wunyi gwe yamujjako.
Ate erinnya erya Nsamba yalifuna atandise okutambula. Omwana Lukonge maama we Wanyana ya mwagala nnyo, nga bwekitera okubeera kubaana abaggulanda mu bakadde baabwe. Olw’omukwano ogwo yamwambazanga ebikomo n’okumusiba endege ku maguluge. Bwe yatambulanga nge endege n’ebikomo bivuga oba nga bikola amaloboozi amalungi ekyasanyusanga ennyo omwana Lukonge nababalala abalinga waali abato nabakulu. Olw’essanyu eryo yayongeranga okusamba era neera ate mbu bwe yatandika okwogera ngabamubuuza kyakola nga ye abaddamu nti “Nsamba” era mukuddangamu kuno erinnya erya Nsamba weryatandikira olwo erya Nsamba nerimukalirako ddala na buli kati.
Erinya e lya Lubega yalifuna olw’enjogera egamba nti yali wa lubega lulungi olwaddibwako omulangira (Kimera) omwana w’omulangira Kalemeera (omutikkiza nkumbi) eyali asindikiddwa Kabaka we’ Buganda okukola ekibonerezo olwo musango gwe yali awayiriziddwa. Kino ssikipya anti abantu bafunnye amannya era negabakalirako ddala ate nabagafunnye nebageyagaliramu nnyo. Nekujjajjaffe Nsamba bwe gwali anti erinnya eryatandikirizibwa mubyokusaaga lyafuuka kkulu nnyo mukika kyaffe eky’eNgabi.  Ete erinnya erya Lubega yalufuna olw’okuba bamwogerangako ng’owamabega amalugi agaddibwako omulangira. ( Lubega lulungi olwaddibwako omulangira).
Nsamba ava mu Lubiri lwa Kabaka Wunyi
Wannyana omwa Kabaka Wunyi yafumbamu akabanga, naye mu bbanga eryo n’omulangira Karemeera we yatuukira ewa kitawe omuto Kabaka we Bbunyoro. Yali asindikiddwa kitaawe, Kabaka w’eBuganda akole ekibonerezo ekyali kimuteekeddwako olw’obutajja ku kitaawe liiso buli weyaddanga. Ebyembi nga binajja omulangira bwe balabaganako ne Wannyana baagwa mu mukwano era okukakkana nga Wannyana afunye olubuto. Okutya eri bombi kwali kwa maanyi anti nga bwe bimanyika waaliwo n’okufiirwa obulamu bwabwe bombi.  Wannyana ensonga eno yagibuulirako mukwano gwe Mulegeya ate era ng’ono yali nfanfe wa Kabaka Wunyi era ngayamubumbira n’ensuwa awamu  n’ebibya. Okumanya nti Mulegeya yali mukwano nnyo gwa Kabaka; Kaaka yamweyabizaanga awatali kwekeka kwonna era nga bawabuligana mu bingi olw’omukwano n’okwesigaŋŋana kwe baalina. Mulegeya bweyabuulirwa ekyali kituusewo naye yeekanga wabula yasalirawo amagezi aganawonya ababiri bano obukambwe bwa Kabaka. Omulangira Kalemeere yye yamulagira agende asiibule Kabaka era amutegeeze nti addayo eBuganda. Kino yalina okukikola mubwangu ddala ebirala bimugwe nkoto. Omulangira naye bweyakola nagenda ewa Kabaka Wunyi namusiibula. Kunsonga yeemu yayiiya era nasala amagezi agokuwonya Wannyana obutaloza kubukambwe bwa Kabaka. Mulegeya yagenda ewa kabaka Wunyi namulimba nti yalina ensonga enkulu ate nga ya kyama gye yalina okumutegeeza mu bwangu. Yakkiriza okumusisinkana era wano kwe kumilimba nti omulubaale yali amuyise namulagira  amugambe (Kabaka) nti bwaliwulira nga mukaziwe omu alina olubuto naye nga ssi lwamulubiri lwe tamokolangako kabi konna mbu olwo Kabaka lwaliwona ebizibu ebyandimujjidde mubwakabaka bwe nti era bwalikola ekyo yali wakuwangaala nnyo. Yayongerako  n’okumutegeeza nti ‘era omukyala ono amujjanga mu lubiri nomuzimbira ebweru walwo. Nti ate omwana gw’alizaala tomuttanga wabula bamutwalanga nebamusuula mubirombe eyo gyalifiira. Ekyo bwekilikolebwa oliba owonye ebizibu ebyandijjidde obwakabakabwe. Byonna ebyamubuulilwa munywanyiwe yabikkiriza okubituukiriza bukolokolo era nasuubiza okubissa munkola ng’obudde butuuse.
Nga wayisewo akabanga, Kabaka yakitegeera nti Wannyana yeyalina olubuto era ekyaddirira kwekulagira  nafulumizibwa olubiri nga bweyali yategezebwa munywanyiwe Mulegeya. Kabaka era Wannyana yamuzimbira ennyumba ebweru w’olubiri nga Mulegeya bwe yamutegeeza era teyamukolako kabikonna. Wannyana ng’ava mu Lubiri nemutabani we Nsamba yagendanaye. Bwatyo Nsamba Lukonge bweyava mu Lubiri lwa Kabaka Wunyi.
 Olubuto lwa Wannnyana bwelwazalibwa lwali lwa mwana wa bulenzi. Olwazaala omwana Kabaka nalagira abambowa nebamutwala mangu ago ne bamusuula mu kirombe awasimibwanga ebbumba eryabumbwangamu ensuwa nga Kabaka Wunyi bwe yalagirwa omulubale. Ekirombe omwana gye yatwalibwa kyali kimu kwebyo Mulegeya gyeyasimanga ebbumba mweyabumbanga ensuwa z’embuga. Mulegeya omwana yamukukusa namujjayo namukweka ewuwe munju.  Muka Mulegeya yalina omwana omuto gweyali ayonsa n’olwekyo okufuna owokumuyonsa tekyazibuwala. Anti bombi y’abayosezanga wamu bweyajjangako owuwe n’azaako owa Wannyana (Omulangira Kimera) oba okubayonsa mu mpalo okutuusa omwana lw’ebaakula. Omwana wa Mulegeya eyayonsebwanga mumpalo n’omulangira Kimera ye Katumba. Omulangira Kimera yalwawo nnyo okumanya nti maama wakatumba ssi yeyali amuzaala.Olwokuba abaana ba Wannyana Kimera ne Nsamba ba kulira ewamu n’abaana ba Mulegeya kyabaletera okuba ob’omukwano ennyo n’okukolera awamu.
Ebinnyonnyoddwa waggulu bikuleetera ekibuuzo kino,nti ddala nekumulembe guno tukyalina abantu abemmizi nga Mulegeya?
OLUGENDO OLW’ATUUSA NSAMBA EBUWANDA
Katumba, Nsamba yasooka kumukumira Lubowa mu bitundu by’e Nakigalala(Nazigo) era wano weyazaalira n’omwana we Bikwaya Ng’akyali wano yatemererwa eggambo eri Kabaka Kimera nti yali ategeka okumutabaala naye bino Nsamba bweyabiwurira nabibuulira Katumba era kwe kumuganba basenguke beyongereyo Kabaka bamubeere wala. Ekyali kivaako obuzibu, gwali mubala ogwaligugamba nti “Kabula kata Nsamba alye obwa Kabaka.” Bwebaava ennakigalala bakwata  lidda ku nnyanja era bayitila buzindeere, (ekitundu kino kirilanye nawali ekisaawe kyennyonyi ekipya ekye Ntebbe.) wano wewasangibwa obutaka bwa mutabani we Nfuufu obwasooka anti kati bwadda Kasizi  Babenga mu Butambala.   Wanno bamalirawo ddala ebbanga  nazalirawo nabaana abawera. Wano Katumba weyaweera mutabaniwe Jjumba ogw’okulabirira Nsamba ye watali. Okuva wano basaabala nebagenda mu biziinga bye Ssese. Bwebaatuuka e Ssese bamalayo ebbanga ate gebaava nebasoma baabo Ddumu ekiri kuludda oluliko Bukakakta. Neeno kulukalu babeerayo okumala ekiseera era gyebaava ne bawunguka okukakkana nga bagobye ku kizinga Bunjakko ekiri mu saza Mawokota. Nsamba eno gyeyeyitanga abana be abamu basigalanga eyo  okugeza Ssemaganda yasigala Ssese mubizing, Kalwanyi ye yasigala Ddumu ate abalala batambula ne nebasensera mu buddu era nebafunamu nubutaka bwabwe nabuli kati gyebuli
Ku kizinga   Bunjako baaberako ddala ebbanga eriwera n’okukifundako ne batandika okukifundako. Amawulire gekizinga Bunjakko okufunda nga Jjumba ne Nsamba tebakya gyako bwe gaatuka eri Kabaka Kimera kwekulagira Nsamba awungulwe atwalibwe ku lukalu ekyakolebwa. Ng’atuuse kulukalu Jjumba yamuwerekerako namutuusa mu kiti kya Jjumba era wano webayawukanira Jjumba naddayo ebunjakko ate ye Nsamba neyeyongre mu maaso. Nsamba bweyatuuka ku mutala Buwanda mu kifo ekiyitibwa Lukonge, nayagalawo nnyo era n’ansenga awo. Wano we yakuba embuga ye nabulikati wewali embuga  ya Nsamba enkulu. Mu kifo kino yasangawo olwazi olwafuuka olwebyafaayo mu kika kye’ Ngabi.  Kiwanuzibwa nti Jjajja ffe oyo teyafa wabula yabulira kulwazi okwo ne mukaziwe. 
Nga atuuse e’Buwanda,y’asindiika mutabaniwe Wamala Muwonge  nalya omutala e’Jjalamba era nakuba eyo embuga ye nabuli kati. Ate mutabani we Yiga yye n’aseenga e Ndiiraweru,nakuba embuga ye e Migamba nakyo ekiri mu Mawokota. Abaana ba Nsamba bano bombi tebayawukana ku kitaabwe mulugendo lwona okuviila ddala eBunyoro. Bamwawukanako ng’amaze kukkalira ku Buwanda.
 
NSAMBA OMUKULU W’EKIKA KY’ENGABI
Nsamba afuuka omukulu we’ kika ky’eNgabi.
Mu Buganda mu kusooka mwalimu endyo eziwerako nga naye zaabeddira eNgabi era nga bwe twalabye mu kusooka nti naye ku mulembe gwa kabaka Daudi Chwa eyali azaalibwa omuzaana owe Ngabi eyayitibwanga Evarine Kulabo “Maasombira” yalagira ba kkojjabe bekumekume babe n’akasolya kamu. Kino kyajjawo oluvanyuma lwa Kabaka okubasaba begatte wamu era wansi w’obukulembeze bumu.
Mu 1927 endyo zonna ezabeddira e Ngabi zaatuula ne zikkaanya nti Nsamba yaba  abeera omukulembeze wabwe erabo nebafuuka abakulu bamasiga nga geegatta kwago agava mu baana ba Nsamba.  Mukiseera kino Nsamba eyaliko yali Yileera Mukaaku eyali yakasikira kitawe Magandazi Yozefu. Okuva mubbanga eryo e obukulembeze bwe Ngabi bwatambula bulungi era bali omu mukika kino akimanyi bulungi nti obutaka buli Buwanda-mu Mawokota. Kino kyacuukamu ku mulembe gwa Kabaka Mutebi bwe yasiima natongoza ekika ekilala nga kyeky’Abakyondwa ekulilwa omutaka Kannyana.
E byalo bya Nsamba Kabaka teyabisolozangamu musolo. Nsamba te ya siiganga  baana ba bulenzi mu Lubiri lwa kabaka.Ate abawala mukusiigibwa ewa Kabaka basiigibwanga bayisibwa mu kika kya Nkima ng’omutaka Jjumba ye yabutuusanga ku Kabaka. “Amanya amaganda ne nnono zaago, ekya M.B. Nsimbi olup. 283”
Okwawukanako kwekyo Namasole Evirine Kulabako “Maasombira” okusiigibwa mu lubiri yayita mu kikka kya Ŋŋonge nga n’okutuka ku Kabaka Mwanga yayita ku Namasole Bagalayaze ow’eŊŋonge. Nsamba edda nga talaba ku kabaka.
Obwa Nsamba bwa nsikirano era Nsamba bw’afa an’amusikira abikka akabugo. Enjole yabadde Nsamba eba etwalibwa okuziikibwa, ng’eno omusika akolwako emikolo gy’okumutuuza ku bwa Nsamba. Entebe y’obwaNsamba tesulirawo nga njerere. Edda ng’omutaka Kasujja Lubinga yasumika Nsamba naye enkola eno yakyusibwamu  nga Nsamba Antonio Kasozi asikira kitaawe Yireera  Mukaaku olwo Ssabalangira Muyomba kwekutandika okusumika Nsamba. Ensonga yokusumika Nsamba yeyaleetera obwa Ssabalangira mu Ngabi okuba obwensikirano kubanga singa bwali bwakulonda bulonzi natalina kifundikwa yandibulidde ate nekibera kizibu okusumika nga talina kifundikwa.