Bya John Ssemakula
Kampala – Kyaddondo.
Buli mwaka ekitongole ky’Ennono n’Obulambuzi kitegeka Empaka za Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda era zino zeetabwamu amasaza gonna 18 nga gaweereza abawala basatu okukiikirira buli Ssaza, n’Omwaka guno abawala abasoba mu makumi 30 ne beetaba mu mpaka zino ezaakomekkereddwa nga 31/05/2024 ku Hotel Africana mu Kampala.
Kyaddondo empaka zino yaziwangula mu 2022, mwana muwala Omuzira Ngo Nabulya Sydney Kavuma kw’olwo ye yawanika bendera, teyakoma awo n’awangula n’engule ya Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Uganda yonna, ate bwe yakiikirira Uganda ku mutendera gw’Ensi yonna, n’afuna engule y’okusinga banne mu kubeera n’ekitone mu mpaka ezaali e Malaysia.
Ku mulundi guno, Mwana muwala eyeddira Ekobe, Namale Kisha Ruth ow’emyaka 22 ye yakize banne bw’atyo n’asitukira mu ngule ya Nnalulungi w’Ebyobulambuzi mu Buganda 2024 era n’akwasibwa ekirabo ky’emmotoka n’ebirabo ebirala. Ono yaddiriddwa Zalwango Miriam okuva e Buddu, ate Bisoboka Ruth Mitchell n’akwata eky’okusatu.
Nnaabagereka Sylvia Nagginda wano waasabidde abazadde okwongera okwagazisa abaana baabwe eby’Obuwangwa n’Ennono zaabwe baleme kubuukira gwe bayita omulembe ate nga bakoppa biva mu bazungu. Maama era asiimye nnyo Empaka zino, z’agambye nti ziyamba okuyigiriza abaana obuwangwa bw’Eggwanga lyabwe ate n’okuwa omwana omuwala omukisa okulaga obusobozi bwe awatali na kukulembeza bulungi nga bwekyalinga edda. Bino byonna abitadde mu bubaka bw’atisse Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu ne Woofiisi ya Nnaabagereka amukiikiridde ku mukolo guno.
Minisita w’Obulambuzi, Oweek. Dr. Anthony Wamala yeebaziza nnyo bonna abakoze ekisoboka okulaba ng’omukolo gutegekeddwa nga mulungi ddala, era ategeezeza nti Obulambuzi ligenda kufuuka ettaala lya Buganda naddala mu kaweefube w’okugizza ku ntikko, wano waasabidde buli omu okuwagira eby’obulambuzi mu ngeri ez’enjawulo okulaba nga bikula, era asuubiza nti empaka zino zibadde ziggya kifu ku maaso wabula abantu basuubire ebinene era ebyenkizo ate mu biseera ebijja.
Omutaka Augustine Kizito Mutumba, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Asiimye nnyo enteekateeka y’Empaka zino era agamba nti abaana bwe bayigirizibwa Obuwangwa n’Ennono zaabwe nga bakyali kibayambako okukula nga bamanyi obuvo bwabwe, asabye abawala okukimanya nti bonna bawanguzi kubanga okutuuka obutuusi ku mpaka ez’akamalirizo si Kya muzannyo era abasabye okutuukiriza obuvunaanyizibwa obubasuubirwamu.
Ssenkulu w’ekitongole ky’Ennono n’Obulambuzi, Omuk. Albert Kasozi yeebaziza nnyo abantu okujja mu bungi okuwagira abaana abawala, amasaza gaabwe naye okusingira ddala okuwagira eby’Obulambuzi. Yeebaziza abavujjirizi b’Empaka z’omwaka guno abakulembeddwa Kaynela Farms era n’asaba abantu okwongera okuwagira n’okujjumbira eby’obulambuzi.
Omukolo guno oguleesewo ebbugumu ery’amaanyi ku Hotel Africana guyindidde mu Nile Hall era gwetabiddwako ba Minisita ba Kabaka n’aba Gavumenti eyawakati, Abakulu b’Ebika, Abaami b’Amasaza, Abakungu abalala bangi ddala, n’abawagizi b’abaana abalala ababadde bavuganya abaggyidde ddala mu bungi.