• By Our Reporter
  • 28 August, 2023
  • Bulange, Mengo

Ebiteeso By'Olukiiko

Olukiiko lwa Buganda olutudde enkya ya leero lusembye era neruyisa Ebiteeso 5 bino wammanga; 

1. Olukiiko lwebazizza Ssaabasajja Kabaka olw'okululambika obulungi mu nsonga ezijjudde amakulu bwe yali aggulawo Olutuula lw'Olukiiko olwa 31. 

2. Olukiiko lusabye Bajjajja Abataka abakulu ab'obusolya okufuna okulambikibwa okuva ewa Ssaabasajja nga tebanabaako nsonga zonna zaakwekulaakulanya ze beenyigiramu wamu n'okulaba nga Ssaabataka abalung’amya ku nsonga zonna ez'Olukiiko lw'Abataka.

3. Olukiiko lwe bazizza Kabaka olw'akaweefube gwa kulembeddemu mu myaka 30 ow'okuzza Buganda ku ntikko, omuli okutumbula eby'obulamu, okutumbula  eby'obulimi, n'omutindo gw'embeera z'abantu mu bulamu obwabulijjo 

4. Olukiiko lusembye nti ensonga enkulu ennyo mu kwogera kwa Ssaabasajja Kabaka zongere okuteesebwako mu bukiiko bw'olukiiko obw'enjawulo.

5. Olukiiko lwe bazizza nnyo Kabaka olw'okulonda baminisita abaggya mu Bwakabaka bwa Buganda, era lwe bazizza nnyo abawummudde olw'ettofaali lye batedde ku kaweefube ow'okuzza Buganda ku ntikko.
Posted by Buganda Kingdom