Katikkiro asisinkanye abakozi ba Gavumenti ya Kabaka
Katikkiro ng'Asisinkana n'abakozi ba Gavumenti ya Kabaka, abagambye bino wamanga;1. Okubeera abayiiya mu mirimu gyabwe.
2. Okusaamu Ekitiibwa mu baakama babwe wabula si kubatya. Abakuutidde okwongera okuwulizanganya ku bifa ku mirimu gyebakola n'ababatwala.
3. Okusoma n'okugoberera ebiwandiiko by'Obwakabaka nga Enteekateeka Namutaayiika bwerambika okusobola okubiteeka mu nkola.
4. Okwekulakulanya ng'omuntu n'okwesaamu ekitiibwa ng'omuntu era ng'omukozi wa Ssaabasajja Kabaka.
Asembyeyo ng'abaagaliza obuweereza obulungi mu Gavumenti ya Ssaabasajja!
