ABANTU BA BUGANDA BALINA OKUDDAMU OKUNYIIKIRA OKULIMA N'OKULUNDA.
Bannakyaggwe bakiise embuga n'Oluwalo lwa bukadde obusoba mu 28
Minisita w'Amawulire, Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka Oweek. Israel
Kazibwe Kitooke ku lwa Katikkiro Charles Peter Mayiga yaatikudde
bannakyaggwe Oluwalo.
"Tosobola kubeera mu Maka ga Musajja muganda nga tolinaawo Nkoko, nga
tolinaawo Mbuzi, twabanga n'Enkoko enganda, Twetaaga tuddeyo tufunvubire
tusimbule n'amaanyi okulaba nga Buganda tudda maaso" - Oweek. Kazibwe.
Ku lw'Obwakabaka era asabye Abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo
okulambika abantu ba Kabaka ku Mawulire amatuufu agafa embuga baleme
kuwuddiisibwa abo abeenonyeza ebyabwe.
Oweek. Joseph Kawuki Minisita wa Gavumenti z'ebitundu ku mukolo guno ye
asibiridde bannakyaggwe entanda yakunyweza mpagi Buganda kwe yazimbibwa
olwo Buganda lwejja okugenda okudda ku Ntikko.
Omumyuka wa Ssekiboobo Oweek. Rashid Kanaakulya ku lwa Ssekiboobo ne
bannakyaggwe aloopedde Katikkiro bannakigwanyizi abongedde okwesenza ku
ttaka ly'Obwakabaka awatali kuyita mu mitendera mituufu nga ekimu ku
bisoomoozo ebibabobbya omutwe e Kyaggwe.
Omukolo guno gwetabiddwako Abatongole, Ab'emiruka, Abakulembeze okuva mu
gavumenti eyawakati, bannbyanjigiriza n'Abaana b'amasomero.
