Oluwalo
  • By Buganda Media Centre
  • 12 September, 2023
  • Bulange-Mengo

MUWEEREZE ABANTU N'OBWENKANYA - SSAABAWOLEREZA WA BUGANDA.

Ku lwa Katikkiro, Oweek. Christopher Bwanika yatikkudde ba Mmeeya b'Ebibuga n'ekitongole kya Ssuubiryo Zambogo SACCO Oluwalo olusobye mu bukadde 16.

Mu bubaka bwe, yeebaziza nnyo ba Mmeeya olw'emirimu egy'enjawulo gyabakoze mu kusitula omutindo gw'ebibuga byaabwe, ayongeddeko okubasaba okubeera abeerufu mu buweereza baabwe.

Ssaabawolereza era akubiriza Abakulembeze ba Gavumenti ya wakati okukolagana obulungi n'Abaami ba Kabaka mu ntambuza y'emirimu kubanga abantu be baweereza be bamu.

Oweek. Bwanika era akubiriza abantu okwongera okugula emigabo mu Ssuubiryo Zambogo SACCO gy'agambye nti bwekataligirya ejja kufuuka Bbanka y'Obwakabaka.

Oweek. Kazibwe Israel, Minisita w'Amawulire Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka ku lw'Oweek. Joseph Kawuki akubiriza ba Mmeeya okwongera okujjumbira enteekateeka ya Luwalo lwaffe wamu n'okunyweza enkolagana n'Abaami ba Kabaka ku mitendera egy'enjawulo.

Hon. Florence Namayanja, Mmeeya wa Masaka City yeebaziza enkolagana ennungi eriwo wakati wa Buganda n'abakulembeze ba Gavumenti ya wakati era asiimye nnyo Ppookino olw'enkolagana gy'alina n'abakulembeze be Masaka evvuddemu ebibala ebingi naddala enkulakulana y'ekibuga Masaka.

Hon. Walukagga Mathias aweze okwongera okuwagira emirimu egikolebwa mu Bwakabaka n'okukunga abantu okujjumbira enteekateeka ya Luwalo lwaffe.

Oweek. Balikuddembe Joseph, Ssentebe wa Bboodi ya Ssuubibiryo Zambogo SACCO aweze okwongera okutuusa empeereza ennungi eri ba Mmemba ba SACCO n'okuwagira emirimu gy'Embuga.


Posted by Buganda Kingdom