
Bya Shafik Miiro
Kazo – Kyaddondo
Minisita avunaanyizibwa ku Gavumenti ez’ Ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki akubirizza Abantu abali mu buweereza bw’ Obwakabaka ku mitendera egy’ enjawulo okubeera abeetowaze era buli kyebakola bakikole n’ obumalirivu.
Obubaka buno, Owek. Kawuki abuwadde alambula kw’ eyali Omwami wa Kabaka ow’ essaza Kyaddondo, Owek. Tofiri Kivumbi Malokweza gwasanze mu makaage e Kazo mu Kyaddondo ku Lwokuna.
Owek. Kawuki asinzidde eno n’akubiriza abaweereza Kabaka okukikola n’obumalirivu, ategeezeza nti Owek. Malokweza ebbanga lyonna awerezza Kabaka we mu bwetowaze, obuvumu n’obumalirivu nga ne mu kiseera ng’awummudde era nga mulwadde asigadde akyawagira emirimu gy’Obwakabaka naddala okulungamya abakulembeze abalala.
Minisita Kawuki yebazizza Katonda olw’obulamu bwa Owek. Malokweza ne yeebaza n’abooluganda lwe olw’okumulabirira obulungi naddala mu biseera bino nga mugonvu, era amusabidde Katonda ayongere okumuwa obuwangaazi ng’agamba nti ono kyakulabirako kirungi eri abantu abalala naddala abakulembeze.

Eyali Kaggo, Owek. Malokweza asabye abaweereza Kabaka okukikola mu mazima awatali kwebulankanya mu mbeera yonna, era Mukyala we agamba nti bba wadde mugonvu, naye ayagala nnyo okuwulira n’okugoberera ebifa Embuga naddala mu mawulire ne pulogulaamu za leediyo ez’enjawulo.