Bya Ssemakula John
Nakisunga – Kyaggwe
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka basabiddwa okwewala okuwuliriza abasekeeterera Obwakabaka nga beefuula ababwagala n’okumanya byonna ebibukwatako.
Obubaka buno Ssekiboobo yabutisse Omumyuka we Ow’okubiri, Mw. Katende Fred mu bubaka bwawerezza abakungubazi mukuziika omwana wa Owek. Matovu Vincent ku kyalo Mwanyangiri mu Ggombolola ya Mutuba I Nakisunga mu Kyaggwe ku wiikendi.
Ssekiboobo ategeezezza abakungubazi nti kirungi okuwuliriza amawulire agava embuga gokka kubanga Obwakabaka bulina abwogerera so si bannakigwanyizi kuba ebigendererwa byabwe byakwawula mu bantu ba Beene.
Ono era akubirizza abantu okukola ennyo naddala emirimu egibayamba okuvaamu ensimbi ng’okulima emmwaanyi, okulima emmere emala awaka nti kya nkizo nnyo okusobola okugoba obwavu n’enjala mu maka gaabwe.
Ssekiboobo asaasidde nnyo ab’enju eyo naddala oweek. Matovu Vincent olw’okuviibwako omwana waabwe era n’asaba gavumenti eyongere amaanyi mu bujjanjabi naddala obwa kkookolo.
Okuziika kuno kwetabiddwako abaami ba Kabaka ab’ Eggombolola, ab’Emiruka, Abatongole wamu n’abaweereza okuva ku ssaza wamu ne ku Ggombolola.