Mwettanire Okwegemesa Endwadde – Katikkiro

 

Mwettanire Okwegemesa Endwadde – Katikkiro

Kamalabyonna wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga, akunze abantu muggwanga okwettanira okugemebwa omusujja gw’enkaka basobole okugwetangira.

Katikkiro agamba nti obulwadde buno bukosa nnyo ekibumba era buviirako abantu bangi okufiirwa obulamu bwabwe.”Omuntu asooka kuba mulamu nalyoka akola emirimu egizimba eggwanga” – Mayiga

Mukuumaddamula bino abyogedde afuna empiso emutangira okufuna omusujja gw’enkaka wamu ne mukyala we, era yeebazizza nnyo abasawo okuva mu ddwaaliro e Mengo abagenze Embuga okumugema n’omukyala wamu n’abakozi ba Kabaka abakolera mu Bulange.

Akulembeddemu abasawo okuva ku ddwaaliro e Mengo Sister Kibuuka Prossy agamba nti kikulu nnyo omuntu yenna okwegemesa omusujja gw’enkaka okusobola okugwetangira, ayongeddeko nti obumu ku bubonero bw’omusujja guno okuli okweruukirira omubiri, omusujja ogw’olutentezi n’obulala, tebulabikirawo nga abantu bangi bagenda okutuuka mu ddwaaliro ng’embeera essajjuse.

Kibuuka agamba nti omusujja guno gusaasanyizibwa nsiri nga gusobola okutambuzibwa okuva ku muntu omu okudda ku mulala era nga gusinze kusaasanira nnyo mu bitundu eby’obugwanjuba bw’Eggwanga.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *