Nnaabagereka alaze  okutya ku bulwadde bw’omutwe obweyongedde, basonze ensimbi okubulwanyisa

Nnabagereka Sylivia Nnagginda Luswata alaze obwennyamivu olw’obulwadde bw’emitwe okweyongera mu bantu n’ategeeza nti kyekyamuwaliriza okubulangirirako olutalo era naawera okubulinnya ku nfeete.

Obubaka buno Nnaabagereka abuweeredde ku Serena ku Lwokuna akawungeezi ku kijjulo kyeyatese okusonderako ssente ezinayamba okulwanyisa ekizibu kino wansi w’enteekateeka etuumiddwa ‘The Queen’s Ball.’

Nnabagereka agamba obulwadde bw’emitwe bungi ate obusinga ku bwo tebumanyiddwa kale nga kisaana okubulwanyisa n’omukono ogw’ekyuma.

Wano wategeerezza nti kitongole kye ki Nnabagereka Development Foundation kyeteefuteefu okukwatizaako ebitongole ebirina enteekateeka z’okuyamba abalina obulwadde bw’emitwe mu nsonga z’obujjanjabi , okubabudaabuda n’okukakasa nti nabo bafuna ebintu ebibayamba okweyagalira mu bulamu.  

Ono era asabye abantu okwewaayo okulwanirira abalina obulwadde bw’emitwe okulaba nga nabo banyumirwa obulamu bw’ensi bwatyo neyebaza buli abatambudde naye mu nteekateka eno.

Nnaabagereka yeebazizza  bannamikago ababadde naye mu nteekateeka ez’enjawulo ezikyusizza obulamu bw’abantu nategeeza nti buli muntu wa ddembe okumwegattako mu nsonga ezitali zimu zawomyemu omutwe okulaba nga akyusa obulamu bw’abantu bulongooka.

Ye  Katikkiro Charles Peter Mayiga atenderezza nnyo Nnaabagereka olw’okuvaayo n’alwanirira abalwadde b’emitwe wamu n’okulwanyisa obulwadde bw’emitwe nagamba nti entekateeka eno egenda kuzibula abantu amaaso ku bulwadde buno.

Mukuumaddamula agamba bannayuganda bangi tebalina kyebamanyi ku bulwadde bwa mitwe nga ate eky’ennaku naabo abalina byebamanyiiko ebitono ate ebisinga bamanyi bwa bulimba.

Okusinziira ku Owek. Mayiga obwongo bwa nkizo nnyo kubanga ebintu by’omubiri byonna kwebyetooloolera era bwebufuga  omuntu mu kusalawo ekirungi n’ekibi.

 Ekijjulo kino kyetabiddwako abantu ab’enjawulo okuva mu Gavumenti eyawakati nga bakuliddwamu omumyuka wa Sipiika wa Palamenti, Rt Hon. Thomas Tayebwa, Omukubirizza w’olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Omulabirizi w’e Namirembe Rt Rev. Moses Bbanja awamu n’abakungu abalala.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *