Nnaabagereka  Nagginda aguddewo Ttabamiruka w’Abakyala 2024,  abakubirizza okukola ennyo

Bya Ronald Mukasa

Lubiri- Kyaddondo

Nnaabagereka Sylvia Nagginda aguddewo mubutongole Ttabamiruka w’Abakyala owa 2024 naakubiriza abakyala okubeera abakozi okusobola okutumbula embeera zabwe era bakulaakulane.

Nnaabagereka agamba nti abakyala bankizo kubanga abakola emirimu egy’enjawulo omuli ebyekikugu, eby’obufuzi okutuukira ddala mubitundu gyebawangalira.

Ono wabula yenyamidde olw’abantu abakozesa omutimbagano n’ebyuma bikalimagezi okuvvoola n’okutyoboola abalala nebamaliriza nga bakosezza abantu abawerako awatali kufaayo nga kino kivuddeko n’abandi okufuna endwadde z’omutwe.

“Wadde Tekinologiya mulungi naye tumukozesse bulungi nga twewala okukosa bannaffe” Nnaabagereka bw’annyonnyodde.

 Nnaabagereka Nagginda yeebazizza abantu ab’enjawulo abayambye okutumbula embeera z’abakyala mu Buganda ne Uganda awamu n’okulaba nga omukolo gw’omwaka guno gubaawo.

Kinajjukirwa nti Ttabamiruka w’omwaka guno ategekeddwa Minisitule y’Ekikula ky’Abantu mu Buganda nga  ayindira wansi w’omulamwa ” Abakyala bankizo mu nkulaakulana eyanamaddala.”

Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Ekikula ky’Abantu n’Amazzi, Owek. Hajjati Mariam Mayanja Nkalubo yebazziza bannamikago okusingira dala Minisitule ey’Ekikula ky’Abantu mu Gavumenti eyawakati olw’okuyamba ku nteekateeka eno.

Ye Omukungu wa Minisitule y’Ekikula ky’Abantu mu Gavumenti Eyawakati,  Angella Nakafeero yeebazizza Olukiiko oluteesiteesi  olw’okuteeka essira mu kutumbula embeera za bakyala n’ abaana abawala.

Nakafeero asabye abakyala okuwa abaana abawala omukisa okugenda mu maaso n’emisomo nga baweebwa emirimu emisaamusaamu basobole okuba nebiseera ebibasobizessa okweyongerayo n’emisomo gyabwe.

Ono yeebazizza Nnaabagereka olw’okuteekateeka Ekisaakaate  kyagamba nti kiyambye nnyo mukubangula abaana  mu Buganda.

Omukolo guno gwetabiddwako abakulembeze ab’enjawulo     okuli; Minisita wa Tekinologiya mu Gavumenti eyawakati  Owek Joyce Nabbossa Ssebugwawo, Minisita Amis Kakomo,  ababaka abakyala aba Palamenti n’abakungu abalala bangi.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *