Obululu bw’ Ebibinja by’Omupiira gw’Amasaza bukwatiddwa

Bya Musasi Waffe

Bulange –   Mmengo

Olukiiko olutwala empaka z’Omupiira gw’Amasaza lusisinkanye abakulembeze ba ttiimu z’Amasaza ku Bulange e Mengo wakati mu kwetegekera empaka z’omwaka guno.

Ttiimu zikutte  obululu bw’ebibinja bya ttiimu nga bwe zigenda okutunka era luyisizza n’amateeka aganaagobererwa mu mpaka z’omwaka guno.

Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek. Robert Serwanga   akubirizza buli akwatibwako okugoberera amateeka, okusobola okuteekawo empaka ennungi zinyumire bonna abagoberera.

Owek. Sserwanga akuutidde abakulembeze n’abawagizi okunnyikiza ensonga y’empisa okusobola okulaba ng’ekiruubirirwa ky’empaka kivaayo bulungi. Asuubiza abantu okulaba enteekateeka ey’enjawulo omwaka guno, era akunze abavujjirizi, bannamukago n’abantu ab’enjawulo okuwagira empaka zino.

Ye Ssentebe w’Olukiiko lw’empaka z’omupiira gw’Amasaza, Sulaiman Ssejjengo ategeezezza nti omupiira gatambuzibwa ku nnyingo 3; Omuzannyo, Obukulembeze ne bizinensi era akubirizza bonna abakwatibwako okugoberera byonna ebirambikibwa olukiiko ne Minisitule okusobola okuteekawo empaka ennungi.

Ebibinja bisengekeddwa bwe biti;

GROUP A BULANGE

1. Bulemeezi

2. Buddu

3. Kyaddondo

4. Buluuli

5. Butambala

6. Bugerere

GROUP B MASENGERE

1. Mawokota

2. Buvuma

3. Kabula

4. Busunju

5. Ssese

6. Busiro

GROUP C MUGANZIRWAZZA

1. Gomba

2. Buweekula

3. Ssingo

4. Kyaggwe

5. Kkooki

6. Mawogola

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *