
Bya Samuel Stuart Jjingo
Jjalamba – Mawokota
Obwakabaka busaasidde nnyo Ven. Canon Godfrey BK Buwembo n’abooluganda lwe olw’okuviibwako Nnyabwe Mary Nabulya Nassozi, ono aziikiddwa e Mitala Maria Jalamba mu Mawokota.
Obubaka bw’Obwakabaka Katikkiro abutisse Omumyuka we Owookubiri, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa, tenderezza omugenzi olw’okuteekateeka obulungi abaana be okuli ne Rev. Buwembo gw’agambye nti wa mugaso nnyo eri Buganda ne Uganda.
“Tetulina kubuusabuusa nti ekifaananyi mwe tukulabira tukulabira kati nga Canon, kyava ku ngozi. Tumwebaza olw’okukungunjula obulungi n’ofuuka omukozi ate omuntu awa abantu aba buli nzikiriza ekitiibwa,”
Katikkiro. Rev. Fr. Viatori Muvunyi nga yakulembeddemu okubuulira asabye abantu okukolera bantu bannaabwe ebintu ebirungi nga bakyali ku nsi basobole okuyingira Obwakabaka bwa Katonda.

Okuziika kuno kwetabiddwako abakulembeze ab’enjawulo okuva mu Bwakabaka ne Baminisita ba Kabaka abawummuze okuli; Owek. David Kyewalabye Male, Owek. Ritah Namyalo, Owek. Gasta Lule Ntake, Omuk. Simon Kaboggoza, Omuk. Daniel Ddamulira, IGG Hon. Betty Kamya, abakulembeze b’edddini ab’enjawulo nga bakulembeddwamu Omulabirizi w’e Namirembe Rt. Rev. Moses Banja nabalala.