Bya Ronald Mukasa
Bulange Mmengo
Obwakabaka bwa Buganda buweze okwongera okukwatagana ne Minisitule y’Ebyobulamu mu Gavumenti Eyawakati okusobola okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu Buganda ne Uganda bannansi basobole okulaakulana.
Okuwera kuno kukoleddwa Omumyuka Asooka owa Katikkiro, Owek, Prof. Twaha Kigongo Kaawaase n’abakungu ba Minisitule bwebabadde basisinkanye abavuzi ba Boodabooda okubabangula ku kirwadde kino mu Bulange e Mmengo ku Mmande.
“Bwotafa musujja, gusobola okukulemaza obwongo, okulwaza ekibumba, Ensigo oba okunafuya obutafaali bw’omubiri nabwekityo bulijjo genda muddwaliro okeberebwe ngofunye obubonero bwomusujja guno obutasukka ssaawa 24,” Owek. Kaawaase bw’ategeezezza aba Booda Booda.
Kawaase akunze abantu mu Buganda n’eggwanga lyonna okukozesa obulungi obutimba bw’ensiri okusobala okulwanyisa obulwadde buno.
Prof. Kigongo era yeebazizza Minisitule y’Ebyobulamu okuva mu gavumenti eyawakati olwokukolagana obulungi n’Obwakabaka mukawefuube w’okumalawo omusujja guno.
Hajji Kawaase era asanyukidde ekya bagoba ba bodaboda okwenyigira buterevu mukulwanyisa omusujja gw’ensiri kyoka naabasaba okugoberera amateeka g’oku nguudo okusobola okukendeeza ku bubenje obuviriddeko bangi okufa nabalala okufuna obulemu.
Owek Hajji Kawaase agamba nti Uganda okubeera nnamba 3 mu nsi ezisingamu omusujja gw’ensiri nga walina okubaawo ekikolebwa mu bwangu okutaasa embeera eno.
Ono era akubirizza abantu okwettanira okusimba ebimera ebigoba ensiri saako nokunyokeza akabaani munju zabwe biyambeko okukendeeza ku kirwadde kino.
Ono yeeyamye okwongera amaanyi mukulwanyisa omusujja gw’ensiri saako nokukunga abantu mu Bwakabaka okugenda okwegemesa endwadde eno nga gavumenti etandise kaweefube ono.
Kulwa Minisitule y’Ebyobulamu, Dr Daniel Kyabayinze ng’ono omuwandiisi Omuteesiteesi omukulu owa minisitule y’ebyobulamu Dr Dianah Atwine agamba nti yadde bataddewo enteekateeka ezenjawulo okulwanyisa omusujja gw’ensiri kyokka tewanabaawo kyamanyi kituukiddwako mu kawefube ono.
Kyabayinze agamba mukiseera kino omusujja guno guli waggulu naddala mu Buganda nga abantu abali eyo mu 6000 beebafa buli mwaka omusuJja gw’ensiri nga be bantu 14 abafa buli lunaku.
Ono asinzidde wano nalambulula ku nteekateeka z’okugema bannansi omusujja gwensiri nga bakutandika nebintu ebisinga okukosebwa omusujja guno mu mwezi gw’e 11 . Enteekateeka eno yakutandika n’abaana abato olw’eddagala erikyali ettono n’oluvannyuma bageme abantu abakulu.
Bbo abagoba ba Booda Booda beeyamye okuteeka mu nkola kawefube ono nga bamanyisa abantu bebaasaabaza obwetaavu obuli mukulwanyisa nokumalirawo ddala obulwadde buno .