Obwegassi bukulu nnyo mukugoba obwavu – Katikkiro Mayiga

Bya Ronald Mukasa

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro Charles Peter Mayiga akuutidde abantu ba Beene okukozesa obukozi era beegatte basobole okwegobako obwavu, bakyuuse embeera z’obulamu bwabwe n’Obuganda busobole okulaakulana.

Obubaka buno Kamalabyonna Mayiga abuyisizza mu Minisita w’ebyobulimi, obulunzi, obuvubi n’obwegassi, Owek.Hajji Hamis Kakomo abuwe  Bannabuddu ne Bannakyaddondo bw’abadde abatikkula Oluwalo ku Lwokuna mu Bulange e Mmengo.

Owek. Mayiga era asanyukidde ebituukiddwako mu bibiina by’obwegassi bukyanga bigunjibwawo wansi wa CBS PEWOSA SACCO nategeeza nga abantu bangi bwebaganyuddwa mu nteekateeka eno naakunga abalala okubyegattako.

“Bulijjo kakasa nga ku ssente z’ofuna okozesaako ebitundu 70 ku buli 100 olwo 30 obitereke oluvanyuma obisige okusobola okwongera ku nnyingiza,” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.

Ku lulwe, Owek Hajji Hamis Kakomo asabye abakulembeze ba SACCO zino okukolera emirimu gyabwe  mu bwerufu era baleme kukaluubiriza abaagala kwewola.

Owek. Kakomo asabye abeewola bulijjo okukozesa ssente zino obulungi ssaaako n’okuzizzaayo   zisobole okuganyula n’abalala.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n’Okulambula kwa Kabaka wamu n’Ensonga za Buganda Ebweru, Owek. Joseph Kawuki yeebazizza Obuganda olw’okwettanira obwegassi okulabira ku CBS PEWOSA kyagamba nti kigasiza abantu bangi ddala.

Owek. Kawuki asinzidde wano nalabula banna PEWOSA, okwerinda abaseketerezi abagala okufeebya Buganda nga banafuya Nnamulondo era nabakunga okubenganga.

Minisita Kawuki era akuutidde abaami obutasuula buvunaanyizibwa bwabwe wabula bakwatagane nebakyala baabwe basobole okukwatira awamu nga bakuza abaana baabwe.

Akiikiridde abakiise embuga era Omumyuka wa Kaggo Asooka Ronald Bakulu Mpagi, akunze abazadde okusomesa abaana emirimu gyebakola kibasobozesse okweyimirizaawo bwebakula.

Ono era alabudde obuganda okwerinda abatyoboola Nnamulondo bagamba nti balabe ba Buganda namba emu.

Bano bakiise embuga n’oluwalo lwa bukadde obusobye mu 21 era omukolo guno gwetabiddwako abantu mu biti ebyenjawuloa.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *