Bya Shafik Miiro
Mengo – Kyaddondo
Oweek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo Omumyuka Asooka owa Katikkiro asisinkanye akakiiko k’ebyatekinilogiya ‘ICT Commission’ akakulemberwa Muky. Paula Musiitwa.
Akakiiko kamwanjulidde ebbago ly’ennambika y’ebyatekinologiya mu Bwakabaka wamu n’ebbago lya nnamutaayika w’ebyempuliziganya eby’omutindo mu Bwakabaka 2023-2028. Akakiiko era kakubanganyiza ebirowoozo ku nteekateeka enatambulizimbwako emirimu eya 2024/2025.
Akakiiko kano kajja kusisinkana akakiiko k’olukiiko lwa Buganda nga 21/05/2024 okutunula mu mirimu gye kakola, oluvannyuma kajja kusisinkana baminisita ba Kabaka bonna ne ba Ssenkulu b’ebitongole by’Obwakabaka okufuna ebiroowozo byabwe ku mabago agali mu kukolebwa wamu n’ennambika ey’okukuuma ebyama by’abantu n’ebitongole, etunuuliddwa okukugira ebyama by’abakozi n’ebyebitongole okusasaana.
Oweek. Kaawaase yeebaziza nnyo Ssentebe w’akakiiko ne ba mmemba olw’omulimu gwe bakola, gw’agambye nti gusigaddeko ebikolebwa bitono okusobola okwanjulibwa eri Kabineeti ya Ssaabasajja.
Akakiiko kano kabaddemu n’abakiise abalala okuli; Mw. Male Vincent, Muky. Nagawa Teddy, Mw. Kawooya Sulaiman ne Muky. Joweria Mbejjo.