Olukiiko lukakasiza ebisaawe omunazannyirwa emipiira gy’Amasaza

Bya Ssemakula John

Kyaddondo

 Olukiiko olutegesi olw’ empaka z’ekikopo ky’ Amasaza eky’omwaka 2024  ka ‘Masaza Committee’ kalambudde ebisaawe nekakasa ebyo ebituukanye n’omutindo okuzannyibwamu emipiira gino.

 Mu bisaawe ebirambuddwa, e  Buvuma, e kisaawe kya Magyo kyekirambuddwa, Bugerere yakukozesa  Ntenjeru , so nga mu ssaza Kyaggwe  Lugazi- Najjembe ne Bishop Ss Mukono byebirambuddwa,  ate e Buluuli ekisaawe kye  Kakooge kyekirambuddwa.

E Bulemeezi ekisaawe kye Kasana kyekirambuddwa,  Buwekula ekya Mubende PTC ate Buddu sports Arena e Kitovu yeyalambuddwa.

Mu birala, e Ssese ekisaawe kye Lutoboka kye kigenda okukozesebwa,   Butambala ekisaawe kya Kibibi Secondary kyekirambuddwa, Gomba yakukozesa Kabulasoke PTC yerambuddwa, so nga Mawogola yakukozessa  kisaawe kya Mawogola Ssaza Grounds e Sembabule.

Mu ssaza Mawokota,  ekisaawe kye Buwama kyekirambuddwa , Kyadondo  yakuzannyira ku Homsidallen,  Busiro ezannyire e  Sentema, Ssingo ekozese  Mityana Ssaza Ground ate  Busujju ebeere ku Kakindu Parish.

Kkooki ebisaawe bibiri byegenda okukozesa nga kuno kuliko ekya  Rakai PTC ne St. James – Kyotera, so nga essaza  Kabula yakukozesa ekisaawe kye Lyantonde.

Ssentebe w’olukiiko oluddukanya empaka zino Sulaiman Ssejjengo asabye  Abaami b’Amasaza n’obukiiko obuddukanya emipiira ku masaza batereeze obutonotono obubalagiddwa ng’empaka zino tezinatandika.

Empaka za Masaza ga Buganda zitandika,  nga 22nd June 2024.

Tags: No tags

Add a Comment

Your email address will not be published. Required fields are marked *